< עמוס 5 >
שמעו את הדבר הזה אשר אנכי נשא עליכם קינה--בית ישראל | 1 |
Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.
נפלה לא תוסיף קום בתולת ישראל נטשה על אדמתה אין מקימה | 2 |
“Isirayiri embeerera agudde obutayimuka nate. Bamwabulidde era tewali amuyimusa.”
כי כה אמר אדני יהוה העיר היצאת אלף תשאיר מאה והיוצאת מאה תשאיר עשרה לבית ישראל | 3 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo kirisigazaawo kikumi bokka, n’ekyo ekiweereza ekikumi, kirizza kkumi bokka!”
כי כה אמר יהוה לבית ישראל דרשוני וחיו | 4 |
Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti, “Munnoonye kale munaabanga balamu.
ואל תדרשו בית אל והגלגל לא תבאו ובאר שבע לא תעברו כי הגלגל גלה יגלה ובית אל יהיה לאון | 5 |
Temunnoonyeza Beseri so temulaga Girugaali wadde okulaga e Beeruseba. Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse era ne Beseri kiriggwaawo.”
דרשו את יהוה וחיו פן יצלח כאש בית יוסף ואכלה ואין מכבה לבית אל | 6 |
Munoonye Mukama munaabanga balamu aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu; guligyokya nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
ההפכים ללענה משפט וצדקה לארץ הניחו | 7 |
Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa mutulugunya obutuukirivu.
עשה כימה וכסיל והפך לבקר צלמות ויום לילה החשיך הקורא למי הים וישפכם על פני הארץ--יהוה שמו | 8 |
Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi era afuula ekisiikirize okubeera enkya era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi g’omu nnyanja ne gafukirira ensi ng’enkuba, Mukama lye linnya lye.
המבליג שד על עז ושד על מבצר יבוא | 9 |
Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
שנאו בשער מוכיח ודבר תמים יתעבו | 10 |
Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya era munyooma n’abo aboogera amazima.
לכן יען בושסכם על דל ומשאת בר תקחו ממנו--בתי גזית בניתם ולא תשבו בם כרמי חמד נטעתם ולא תשתו את יינם | 11 |
Olinnyirira omwavu, n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu.
כי ידעתי רבים פשעיכם ועצמים חטאתיכם צררי צדיק לקחי כפר ואביונים בשער הטו | 12 |
Ebibi byammwe mbimanyi, nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi, abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
לכן המשכיל בעת ההיא--ידם כי עת רעה היא | 13 |
Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo kubanga ennaku mbi.
דרשו טוב ואל רע למען תחיו ויהי כן יהוה אלהי צבאות אתכם--כאשר אמרתם | 14 |
Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi munaabeeranga balamu! Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe nga bulijjo bwe mumuyita.
שנאו רע ואהבו טוב והציגו בשער משפט אולי יחנן יהוה אלהי צבאות--שארית יוסף | 15 |
Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya. Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.
לכן כה אמר יהוה אלהי צבאות אדני בכל רחבות מספד ובכל חוצות יאמרו הו הו וקראו אכר אל אבל ומספד אל יודעי נהי | 16 |
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Walibeerawo okwaziirana mu nguudo n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga. N’abalimi baliyitibwa, bakaabe, n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
ובכל כרמים מספד כי אעבר בקרבך אמר יהוה | 17 |
Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”
הוי המתאוים את יום יהוה למה זה לכם יום יהוה הוא חשך ולא אור | 18 |
Zibasanze mmwe abasuubira olunaku lwa Mukama. Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama? Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
כאשר ינוס איש מפני הארי ופגעו הדב ובא הבית--וסמך ידו על הקיר ונשכו הנחש | 19 |
Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma n’asisinkana eddubu, bw’aba ng’ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge, ate n’abojjebwa omusota.
הלא חשך יום יהוה ולא אור ואפל ולא נגה לו | 20 |
Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono, ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
שנאתי מאסתי חגיכם ולא אריח בעצרתיכם | 21 |
Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
כי אם תעלו לי עלות ומנחתיכם לא ארצה ושלם מריאיכם לא אביט | 22 |
Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, sijja kubikkiriza. Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi, siribikkiriza.
הסר מעלי המון שריך וזמרת נבליך לא אשמע | 23 |
Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza. Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
ויגל כמים משפט וצדקה כנחל איתן | 24 |
Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
הזבחים ומנחה הגשתם לי במדבר ארבעים שנה--בית ישראל | 25 |
“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
ונשאתם את סכות מלככם ואת כיון צלמיכם--כוכב אלהיכם אשר עשיתם לכם | 26 |
Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe, amaanyi ga bakatonda bammwe, n’emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera mmwe.
והגליתי אתכם מהלאה לדמשק אמר יהוה אלהי צבאות שמו | 27 |
Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,” bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.