< שמואל ב 9 >

ויאמר דוד--הכי יש עוד אשר נותר לבית שאול ואעשה עמו חסד בעבור יהונתן 1
Dawudi n’abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okulaga ekisa ku lwa Yonasaani?”
ולבית שאול עבד ושמו ציבא ויקראו לו אל דוד ויאמר המלך אליו האתה ציבא ויאמר עבדך 2
Awo waaliwo omuddu mu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba. Ne bamutumya, n’ajja mu maaso ga Dawudi. Kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Ziba?” N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”
ויאמר המלך האפס עוד איש לבית שאול ואעשה עמו חסד אלהים ויאמר ציבא אל המלך עוד בן ליהונתן נכה רגלים 3
Kabaka n’amubuuza nti, “Tewaliwo muntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okukolera ebirungi olw’ekisa kya Katonda?” Ziba n’addamu kabaka nti, “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani, eyalemala ebigere.”
ויאמר לו המלך איפה הוא ויאמר ציבא אל המלך הנה הוא בית מכיר בן עמיאל בלו דבר 4
Kabaka n’amubuuza nti, “Ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.”
וישלח המלך דוד ויקחהו מבית מכיר בן עמיאל--מלו דבר 5
Awo Dawudi n’amutumya, ne bamuleeta okuva mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
ויבא מפיבשת בן יהונתן בן שאול אל דוד ויפל על פניו וישתחו ויאמר דוד מפיבשת ויאמר הנה עבדך 6
Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Sawulo n’ajja eri Dawudi n’avuunama mu maaso ge. Dawudi n’amubuuza nti, “Ggwe Mefibosesi?” N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”
ויאמר לו דוד אל תירא כי עשה אעשה עמך חסד בעבור יהונתן אביך והשבתי לך את כל שדה שאול אביך ואתה תאכל לחם על שלחני--תמיד 7
Dawudi n’amugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.”
וישתחו ויאמר מה עבדך כי פנית אל הכלב המת אשר כמוני 8
Mefibosesi ne yeeyanza n’ayogera nti, “Omuddu wo kye ki, okufaayo ku mbwa enfu nga nze?”
ויקרא המלך אל ציבא נער שאול--ויאמר אליו כל אשר היה לשאול ולכל ביתו נתתי לבן אדניך 9
Awo kabaka n’ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n’amugamba nti, “Mpadde muzzukulu wa mukama wo ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n’ennyumba ye.
ועבדת לו את האדמה אתה ובניך ועבדיך והבאת והיה לבן אדניך לחם ואכלו ומפיבשת בן אדניך יאכל תמיד לחם על שלחני ולציבא חמשה עשר בנים--ועשרים עבדים 10
Ggwe ne batabani bo n’abaddu bo munaamulimiranga ettaka ne muleeta ebibala ebirivaamu, muzzukulu wa mukama wo abenga n’ekyokulya. Mefibosesi muzzukulu wa mukama wo, ye anaaliiranga ku mmeeza yange nange, ennaku zange zonna.” Ziba yalina abaana aboobulenzi kkumi na bataano n’abaddu amakumi abiri.
ויאמר ציבא אל המלך ככל אשר יצוה אדני המלך את עבדו כן יעשה עבדך ומפיבשת אכל על שלחני כאחד מבני המלך 11
Awo Ziba n’agamba kabaka nti, “Nga bw’olagidde mukama wange kabaka, bwe kijja okukolebwa omuddu wo.” Mefibosesi n’aliiranga ku mmeeza ya Dawudi ng’omu ku balangira.
ולמפיבשת בן קטן ושמו מיכא וכל מושב בית ציבא עבדים למפיבשת 12
Mefibosesi yalina mutabani we omuto, eyayitibwanga Mikka, ne bonna abaali ab’ennyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
ומפיבשת ישב בירושלם כי על שלחן המלך תמיד הוא אכל והוא פסח שתי רגליו 13
Mefibosesi n’abeera mu Yerusaalemi kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka. Yali yalemala ebigere.

< שמואל ב 9 >