< שמואל ב 24 >
ויסף אף יהוה לחרות בישראל ויסת את דוד בהם לאמר לך מנה את ישראל ואת יהודה | 1 |
Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”
ויאמר המלך אל יואב שר החיל אשר אתו שוט נא בכל שבטי ישראל מדן ועד באר שבע ופקדו את העם וידעתי את מספר העם | 2 |
Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”
ויאמר יואב אל המלך ויוסף יהוה אלהיך אל העם כהם וכהם מאה פעמים ועיני אדני המלך ראות ואדני המלך למה חפץ בדבר הזה | 3 |
Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”
ויחזק דבר המלך אל יואב ועל שרי החיל ויצא יואב ושרי החיל לפני המלך לפקד את העם את ישראל | 4 |
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.
ויעברו את הירדן ויחנו בערוער ימין העיר אשר בתוך הנחל הגד--ואל יעזר | 5 |
Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri.
ויבאו הגלעדה ואל ארץ תחתים חדשי ויבאו דנה יען וסביב אל צידון | 6 |
Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni.
ויבאו מבצר צר וכל ערי החוי והכנעני ויצאו אל נגב יהודה באר שבע | 7 |
Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.
וישטו בכל הארץ ויבאו מקצה תשעה חדשים ועשרים יום--ירושלם | 8 |
Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi.
ויתן יואב את מספר מפקד העם אל המלך ותהי ישראל שמנה מאות אלף איש חיל שלף חרב ואיש יהודה חמש מאות אלף איש | 9 |
Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano.
ויך לב דוד אתו אחרי כן ספר את העם ויאמר דוד אל יהוה חטאתי מאד אשר עשיתי ועתה יהוה העבר נא את עון עבדך כי נסכלתי מאד | 10 |
Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”
ויקם דוד בבקר ודבר יהוה היה אל גד הנביא חזה דוד לאמר | 11 |
Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti,
הלוך ודברת אל דוד כה אמר יהוה--שלש אנכי נוטל עליך בחר לך אחת מהם ואעשה לך | 12 |
“Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’”
ויבא גד אל דוד ויגד לו ויאמר לו התבוא לך שבע שנים רעב בארצך אם שלשה חדשים נסך לפני צריך והוא רדפך ואם היות שלשת ימים דבר בארצך--עתה דע וראה מה אשיב שלחי דבר | 13 |
Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”
ויאמר דוד אל גד צר לי מאד נפלה נא ביד יהוה כי רבים רחמו וביד אדם אל אפלה | 14 |
Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”
ויתן יהוה דבר בישראל מהבקר ועד עת מועד וימת מן העם מדן ועד באר שבע שבעים אלף איש | 15 |
Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba.
וישלח ידו המלאך ירושלם לשחתה וינחם יהוה אל הרעה ויאמר למלאך המשחית בעם רב עתה הרף ידך ומלאך יהוה היה עם גרן האורנה (הארונה) היבסי | 16 |
Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
ויאמר דוד אל יהוה בראתו את המלאך המכה בעם ויאמר הנה אנכי חטאתי ואנכי העויתי ואלה הצאן מה עשו תהי נא ידך בי ובבית אבי | 17 |
Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”
ויבא גד אל דוד ביום ההוא ויאמר לו עלה הקם ליהוה מזבח בגרן ארניה (ארונה) היבסי | 18 |
Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”
ויעל דוד כדבר גד כאשר צוה יהוה | 19 |
Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro.
וישקף ארונה וירא את המלך ואת עבדיו עברים עליו ויצא ארונה וישתחו למלך אפיו ארצה | 20 |
Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.
ויאמר ארונה מדוע בא אדני המלך אל עבדו ויאמר דוד לקנות מעמך את הגרן לבנות מזבח ליהוה ותעצר המגפה מעל העם | 21 |
Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”
ויאמר ארונה אל דוד יקח ויעל אדני המלך הטוב בעינו ראה הבקר לעלה והמרגים וכלי הבקר לעצים | 22 |
Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku.
הכל נתן ארונה המלך--למלך ויאמר ארונה אל המלך יהוה אלהיך ירצך | 23 |
Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”
ויאמר המלך אל ארונה לא כי קנו אקנה מאותך במחיר ולא אעלה ליהוה אלהי עלות חנם ויקן דוד את הגרן ואת הבקר בכסף שקלים חמשים | 24 |
Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.” Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga.
ויבן שם דוד מזבח ליהוה ויעל עלות ושלמים ויעתר יהוה לארץ ותעצר המגפה מעל ישראל | 25 |
Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.