< שמואל ב 11 >
ויהי לתשובת השנה לעת צאת המלאכים וישלח דוד את יואב ואת עבדיו עמו ואת כל ישראל וישחתו את בני עמון ויצרו על רבה ודוד יושב בירושלם | 1 |
Awo mu biro ebyo, ekiseera bakabaka mwe bagendera okutabaala, Dawudi n’asindika Yowaabu n’abasajja be n’eggye lyonna erya Isirayiri. Ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza n’ekibuga kya Labba. Naye Dawudi n’asigala mu Yerusaalemi.
ויהי לעת הערב ויקם דוד מעל משכבו ויתהלך על גג בית המלך וירא אשה רחצת מעל הגג והאשה טובת מראה מאד | 2 |
Olunaku olumu, mu ssaawa ez’olweggulo, Dawudi n’agolokoka, n’atambulatambula ku kasolya ak’olubiri lwe. N’asinziira waggulu eyo n’alengera omukazi ng’anaaba, era omukyala yali mulungi omubalagavu.
וישלח דוד וידרש לאשה ויאמר הלוא זאת בת שבע בת אליעם--אשת אוריה החתי | 3 |
Dawudi n’atuma omuntu okugenda okumunoonyerezaako. Ne bakomawo ne bamutegeeza nti, “Oyo ye Basuseba muwala wa Eriyaamu mukyala wa Uliya Omukiiti.”
וישלח דוד מלאכים ויקחה ותבוא אליו וישכב עמה והיא מתקדשת מטמאתה ותשב אל ביתה | 4 |
Awo Dawudi n’amutumya, n’ajja gy’ali, ne yeebaka naye. Yali mu kiseera eky’okwelongoosa obutali bulongoofu bwe. Oluvannyuma n’addayo ewuwe.
ותהר האשה ותשלח ותגד לדוד ותאמר הרה אנכי | 5 |
Omukyala n’aba olubuto, n’atumira Dawudi nti, “Ndi lubuto.”
וישלח דוד אל יואב שלח אלי את אוריה החתי וישלח יואב את אוריה אל דוד | 6 |
Awo Dawudi n’atumira Yowaabu nti, “Mpeereza Uliya Omukiiti.” Yowaabu n’aweereza Uliya eri Dawudi.
ויבא אוריה אליו וישאל דוד לשלום יואב ולשלום העם ולשלום המלחמה | 7 |
Uliya bwe yagenda gy’ali, Dawudi n’abuuza Yowaabu n’abaserikale bwe baali, n’olutalo bwe lwali.
ויאמר דוד לאוריה רד לביתך ורחץ רגליך ויצא אוריה מבית המלך ותצא אחריו משאת המלך | 8 |
Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Uliya n’afuluma olubiri, kabaka n’amuweereza ekirabo.
וישכב אוריה פתח בית המלך את כל עבדי אדניו ולא ירד אל ביתו | 9 |
Naye Uliya n’ataserengeta wuwe, n’asula ku mulyango gw’olubiri n’abaddu ba mukama we, Dawudi.
ויגדו לדוד לאמר לא ירד אוריה אל ביתו ויאמר דוד אל אוריה הלוא מדרך אתה בא--מדוע לא ירדת אל ביתך | 10 |
Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Uliya teyazeeyo waka we,” n’abuuza Uliya nti, “Waakava olugendo, kiki ekikulobedde okuddayo eka ewuwo?”
ויאמר אוריה אל דוד הארון וישראל ויהודה ישבים בסכות ואדני יואב ועבדי אדני על פני השדה חנים ואני אבוא אל ביתי לאכל ולשתות ולשכב עם אשתי חיך וחי נפשך אם אעשה את הדבר הזה | 11 |
Uliya n’addamu Dawudi nti, “Essanduuko ne Isirayiri ne Yuda baasigadde mu weema, ne mukama wange Yowaabu n’abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale. Kale nnyinza ntya okugenda mu nnyumba yange okulya n’okunywa, n’okwebaka ne mukyala wange? Mazima nga bw’oli omulamu, sijja kukola kigambo bwe kityo.”
ויאמר דוד אל אוריה שב בזה גם היום--ומחר אשלחך וישב אוריה בירושלם ביום ההוא וממחרת | 12 |
Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Sigalawo olunaku olulala olabe obanga enkya siikusindike kuddayo.” Bwatyo Uliya n’asigalawo olunaku olwo n’olw’enkya.
ויקרא לו דוד ויאכל לפניו וישת--וישכרהו ויצא בערב לשכב במשכבו עם עבדי אדניו ואל ביתו לא ירד | 13 |
Dawudi n’ayita Uliya alye naye ekyekiro, n’amutamiiza akawungeezi ak’olunaku olwo, Uliya n’agenda n’agalamira ku mukeeka gwe n’abaddu ba mukama we, n’ataddayo wuwe.
ויהי בבקר ויכתב דוד ספר אל יואב וישלח ביד אוריה | 14 |
Enkeera Dawudi n’awandiikira Yowaabu ebbaluwa n’agiwa Uliya agitwale.
ויכתב בספר לאמר הבו את אוריה אל מול פני המלחמה החזקה ושבתם מאחריו ונכה ומת | 15 |
Yawandiika mu bbaluwa nti, “Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olw’amaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.”
ויהי בשמור יואב אל העיר ויתן את אוריה אל המקום אשר ידע כי אנשי חיל שם | 16 |
Awo Yowaabu bwe yali ng’ataayizza ekibuga, n’addira Uliya n’amuteeka mu kifo kye yamanya nga waaliyo abalabe ab’amaanyi.
ויצאו אנשי העיר וילחמו את יואב ויפל מן העם מעבדי דוד וימת גם אוריה החתי | 17 |
Abasajja ab’ekibuga bwe baafuluma okulwana ne Yowaabu, abamu ku basajja ba Dawudi ne battibwa, ne Uliya Omukiiti yali omu ku abo abattibwa.
וישלח יואב ויגד לדוד את כל דברי המלחמה | 18 |
Awo Yowaabu n’aweereza Dawudi amawulire gonna agafudde mu lutalo,
ויצו את המלאך לאמר ככלותך את כל דברי המלחמה--לדבר אל המלך | 19 |
n’alagira gwe yatuma nti, “Bw’onoomala okutegeeza kabaka amawulire gonna agafudde mu lutalo,
והיה אם תעלה חמת המלך ואמר לך מדוע נגשתם אל העיר להלחם הלוא ידעתם את אשר ירו מעל החומה | 20 |
n’alabika nga munyiivu, n’abuuza nti, ‘Lwaki mwasemberedde nnyo ekibuga nga mulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku Bbugwe?
מי הכה את אבימלך בן ירבשת הלוא אשה השליכה עליו פלח רכב מעל החומה וימת בתבץ למה נגשתם אל החומה ואמרת--גם עבדך אוריה החתי מת | 21 |
Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’”
וילך המלאך ויבא ויגד לדוד את כל אשר שלחו יואב | 22 |
Awo omubaka n’agenda n’ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma okwogera.
ויאמר המלאך אל דוד כי גברו עלינו האנשים ויצאו אלינו השדה ונהיה עליהם עד פתח השער | 23 |
Omubaka n’agamba Dawudi nti, “Abasajja batusinzizza amaanyi ne batulumba ku ttale, naye ne tubagoba okutuusa ku wankaaki ow’ekibuga.
ויראו המוראים אל עבדיך מעל החומה וימותו מעבדי המלך וגם עבדך אוריה החתי--מת | 24 |
Naye abalasi basinzidde ku bbugwe ne balasa abaddu, era abamu ku baddu ba kabaka baafudde, n’omuddu wo Uliya Omukiiti naye mwe yafiiridde.”
ויאמר דוד אל המלאך כה תאמר אל יואב אל ירע בעיניך את הדבר הזה--כי כזה וכזה תאכל החרב החזק מלחמתך אל העיר והרסה וחזקהו | 25 |
Dawudi n’agamba omubaka nti, “Ggamba Yowaabu nti, ‘Ekigambo ekyo kireme okukubuza emirembe, kubanga ekitala olumu kitta omu n’olulala ne kitta omulala. Munyiikirire okulumba ekibuga mukiwambe.’ Era Yowaabu mugambe agume omwoyo.”
ותשמע אשת אוריה כי מת אוריה אישה ותספד על בעלה | 26 |
Awo mukyala wa Uliya bwe yawulira nti bba afudde, n’amukungubagira.
ויעבר האבל וישלח דוד ויאספה אל ביתו ותהי לו לאשה ותלד לו בן וירע הדבר אשר עשה דוד בעיני יהוה | 27 |
Okukungubaga bwe kwaggwa, Dawudi n’amutumya, n’amuleeta mu nnyumba ye, n’afuuka mukyala we, n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Naye ekigambo ekyo Dawudi kye yakola ne kitasanyusa Mukama.