< מלכים ב 6 >
ויאמרו בני הנביאים אל אלישע הנה נא המקום אשר אנחנו ישבים שם לפניך--צר ממנו | 1 |
Awo ekibiina kya bannabbi ne bagamba Erisa nti, “Laba, ekifo we tukuŋŋaanira wafunda nnyo.
נלכה נא עד הירדן ונקחה משם איש קורה אחת ונעשה לנו שם מקום לשבת שם ויאמר לכו | 2 |
Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera.” N’abagamba nti, “Mugende.”
ויאמר האחד הואל נא ולך את עבדיך ויאמר אני אלך | 3 |
Awo omu ku bo n’amubuuza nti, “Toogende n’abaddu bo?” N’addamu nti, “Nzija kugenda nammwe.”
וילך אתם ויבאו הירדנה ויגזרו העצים | 4 |
N’agenda nabo. Ne baserengeta ne balaga ku Yoludaani, ne batandika okutema emiti.
ויהי האחד מפיל הקורה ואת הברזל נפל אל המים ויצעק ויאמר אהה אדני והוא שאול | 5 |
Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!”
ויאמר איש האלהים אנה נפל ויראהו את המקום ויקצב עץ וישלך שמה ויצף הברזל | 6 |
Awo omusajja wa Katonda n’amubuuza nti, “Yagudde wa?” Bwe yamulaga ekifo, Erisa n’atema akati, n’akakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi.
ויאמר הרם לך וישלח ידו ויקחהו | 7 |
Erisa n’amugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja n’agiggyamu.
ומלך ארם היה נלחם בישראל ויועץ אל עבדיו לאמר אל מקום פלני אלמני תחנתי | 8 |
Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ng’agamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?”
וישלח איש האלהים אל מלך ישראל לאמר השמר מעבר המקום הזה כי שם ארם נחתים | 9 |
Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda n’aweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.”
וישלח מלך ישראל אל המקום אשר אמר לו איש האלהים והזהירה--ונשמר שם לא אחת ולא שתים | 10 |
Awo kabaka wa Isirayiri n’atuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka n’awona si mulundi gumu so si ebiri.
ויסער לב מלך ארם על הדבר הזה ויקרא אל עבדיו ויאמר אליהם הלוא תגידו לי מי משלנו אל מלך ישראל | 11 |
Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era n’ayita abaserikale be, n’ababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?”
ויאמר אחד מעבדיו לוא אדני המלך כי אלישע הנביא אשר בישראל יגיד למלך ישראל את הדברים אשר תדבר בחדר משכבך | 12 |
Omu ku bo n’amuddamu nti, “Tewali n’omu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, y’ategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo by’oyogerera mu kisenge kyo.”
ויאמר לכו וראו איכה הוא ואשלח ואקחהו ויגד לו לאמר הנה בדתן | 13 |
Kabaka n’alagira nti, “Mugende mulabe w’ali, ndyoke ntume abasajja bamukwate.” Ne bakomyawo obubaka nti, “Ali mu Dosani.”
וישלח שמה סוסים ורכב וחיל כבד ויבאו לילה ויקפו על העיר | 14 |
Amangwago n’asindika embalaasi, n’amagaali, n’eggye ery’amaanyi, ne bajja mu kiro ne bazingiza ekibuga.
וישכם משרת איש האלהים לקום ויצא והנה חיל סובב את העיר וסוס ורכב ויאמר נערו אליו אהה אדני איכה נעשה | 15 |
Omuweereza ow’omusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya n’afuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, n’amagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?”
ויאמר אל תירא כי רבים אשר אתנו מאשר אותם | 16 |
Nnabbi n’addamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”
ויתפלל אלישע ויאמר יהוה פקח נא את עיניו ויראה ויפקח יהוה את עיני הנער וירא והנה ההר מלא סוסים ורכב אש סביבת אלישע | 17 |
Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa.
וירדו אליו ויתפלל אלישע אל יהוה ויאמר הך נא את הגוי הזה בסנורים ויכם בסנורים כדבר אלישע | 18 |
Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, n’asaba Mukama, n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso g’abantu bano.” N’aziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba.
ויאמר אלהם אלישע לא זה הדרך ולא זה העיר--לכו אחרי ואוליכה אתכם אל האיש אשר תבקשון וילך אותם שמרונה | 19 |
Erisa n’abagamba nti, “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga. Mungoberere, mbatwale eri omusajja gwe munoonya.” N’abakulemberamu n’abatwala e Samaliya.
ויהי כבאם שמרון ויאמר אלישע יהוה פקח את עיני אלה ויראו ויפקח יהוה את עיניהם ויראו והנה בתוך שמרון | 20 |
Olwayingira mu kibuga, n’asaba Mukama nti, “Zibula amaaso g’abasajja bano, balabe.” Mukama n’azibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati.
ויאמר מלך ישראל אל אלישע כראתו אותם האכה אכה אבי | 21 |
Awo kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba, n’abuuza Erisa nti, “Kitange, mbatte? Mbatte?”
ויאמר לא תכה האשר שבית בחרבך ובקשתך אתה מכה שים לחם ומים לפניהם ויאכלו וישתו וילכו אל אדניהם | 22 |
N’amuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo b’owambye n’ekitala kyo, n’omutego gw’akasaale? Bategekere emmere n’amazzi, balye n’okunywa banywe, n’oluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.”
ויכרה להם כרה גדולה ויאכלו וישתו וישלחם וילכו אל אדניהם ולא יספו עוד גדודי ארם לבוא בארץ ישראל | 23 |
N’abateekerateekera embaga nnene, era bwe baamala okulya n’okunywa, n’abasindika ne baddayo eri mukama waabwe. Abasuuli okwo kwe baakoma okulumba ensi ya Isirayiri.
ויהי אחרי כן ויקבץ בן הדד מלך ארם את כל מחנהו ויעל ויצר על שמרון | 24 |
Bwe waayitawoko ebbanga, Benikadadi kabaka w’e Busuuli, n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’alumba n’azingiza Samaliya.
ויהי רעב גדול בשמרון והנה צרים עליה עד היות ראש חמור בשמנים כסף ורבע הקב חרי (דב) יונים בחמשה כסף | 25 |
Ne waba enjala nnyingi nnyo mu kibuga olw’okuzingiza okwo, omutwe gw’endogoyi ne gutundibwanga kilo emu eya ffeeza, n’ekimu ekyokuna eky’ekibya eky’obusa bw’enjiibwa ne kitundibwanga gulaamu ataano mu ttaano eza ffeeza.
ויהי מלך ישראל עבר על החמה ואשה צעקה אליו לאמר הושיעה אדני המלך | 26 |
Awo kabaka wa Isirayiri yali ayita okumpi ne bbugwe, omukazi omu n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Nnyamba mukama wange kabaka!”
ויאמר אל יושעך יהוה מאין אושיעך המן הגרן או מן היקב | 27 |
Kabaka n’amuddamu nti, “Mukama bw’ataakuyambe, nze nnaakuyamba ntya? Obuyambi nnaabuggya mu gguuliro oba mu ssogolero?”
ויאמר לה המלך מה לך ותאמר האשה הזאת אמרה אלי תני את בנך ונאכלנו היום ואת בני נאכל מחר | 28 |
Era kwe ku mubuuza nti, “Mutawaana ki?” Omukazi n’amuddamu nti, “Omukazi ono gw’olaba yateesezza nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye leero, enkya tulye owange.’
ונבשל את בני ונאכלהו ואמר אליה ביום האחר תני את בנך ונאכלנו ותחבא את בנה | 29 |
Ne nzikiriza, ne tufumba owange ne tumulya. Enkeera ne mugamba nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye,’ naye amukwese.”
ויהי כשמע המלך את דברי האשה ויקרע את בגדיו והוא עבר על החמה וירא העם והנה השק על בשרו מבית | 30 |
Kabaka bwe yawulira ebigambo by’omukazi oyo, n’ayuza ebyambalo bye. Bwe yali ng’atambula ku bbugwe, abantu ne bamulengera, laba ng’ayambadde ebibukutu wansi w’ebyambalo bye.
ויאמר כה יעשה לי אלהים וכה יוסף אם יעמד ראש אלישע בן שפט עליו--היום | 31 |
N’ayogera nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!”
ואלישע ישב בביתו והזקנים ישבים אתו וישלח איש מלפניו בטרם יבא המלאך אליו והוא אמר אל הזקנים הראיתם כי שלח בן המרצח הזה להסיר את ראשי ראו כבא המלאך סגרו הדלת ולחצתם אתו בדלת הלוא קול רגלי אדניו אחריו | 32 |
Mu kiseera kye kimu ekyo, Erisa yali atudde mu nnyumba ye nga n’abakadde batudde wamu naye, kabaka n’atuma omubaka okumukulemberamu, naye omubaka oyo bwe yali tannatuuka, Erisa n’agamba abakadde nti, “Mulaba omutemu oyo bw’atumye omuntu okuntemako omutwe? Laba, omubaka ajja, muggaleewo oluggi mulunyweze so temumukkiriza kuyingira. Ebigere bya mukama we tebiri mabega we, tamuvaako mabega?”
עודנו מדבר עמם והנה המלאך ירד אליו ויאמר הנה זאת הרעה מאת יהוה--מה אוחיל ליהוה עוד | 33 |
Awo Erisa bwe yali ng’akyayogera nabo, omubaka n’atuuka, n’ayogera nti, “Akabi kano kavudde eri Mukama. Lwaki nnindirira Mukama nate?”