< מלכים ב 20 >
בימים ההם חלה חזקיהו למות ויבא אליו ישעיהו בן אמוץ הנביא ויאמר אליו כה אמר יהוה צו לביתך--כי מת אתה ולא תחיה | 1 |
Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”
ויסב את פניו אל הקיר ויתפלל--אל יהוה לאמר | 2 |
Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ng’agamba nti,
אנה יהוה זכר נא את אשר התהלכתי לפניך באמת ובלבב שלם והטוב בעיניך עשיתי ויבך חזקיהו בכי גדול | 3 |
“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.
ויהי ישעיהו--לא יצא העיר (חצר) התיכנה ודבר יהוה--היה אליו לאמר | 4 |
Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti,
שוב ואמרת אל חזקיהו נגיד עמי כה אמר יהוה אלהי דוד אביך שמעתי את תפלתך ראיתי את דמעתך הנני רפא לך--ביום השלישי תעלה בית יהוה | 5 |
“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama.
והספתי על ימיך חמש עשרה שנה ומכף מלך אשור אצילך ואת העיר הזאת וגנותי על העיר הזאת--למעני ולמען דוד עבדי | 6 |
Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’”
ויאמר ישעיהו קחו דבלת תאנים ויקחו וישימו על השחין ויחי | 7 |
Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.
ויאמר חזקיהו אל ישעיהו מה אות כי ירפא יהוה לי ועליתי ביום השלישי בית יהוה | 8 |
Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”
ויאמר ישעיהו זה לך האות מאת יהוה כי יעשה יהוה את הדבר אשר דבר הלך הצל עשר מעלות אם ישוב עשר מעלות | 9 |
Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”
ויאמר יחזקיהו נקל לצל לנטות עשר מעלות לא כי ישוב הצל אחרנית עשר מעלות | 10 |
Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”
ויקרא ישעיהו הנביא אל יהוה וישב את הצל במעלות אשר ירדה במעלות אחז אחרנית--עשר מעלות | 11 |
Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.
בעת ההיא שלח בראדך בלאדן בן בלאדן מלך בבל ספרים ומנחה--אל חזקיהו כי שמע כי חלה חזקיהו | 12 |
Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde.
וישמע עליהם חזקיהו ויראם את כל בית נכתה את הכסף ואת הזהב ואת הבשמים ואת שמן הטוב ואת בית כליו ואת כל אשר נמצא באוצרתיו לא היה דבר אשר לא הראם חזקיהו בביתו--ובכל ממשלתו | 13 |
Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
ויבא ישעיהו הנביא אל המלך חזקיהו ויאמר אליו מה אמרו האנשים האלה ומאין יבאו אליך ויאמר חזקיהו מארץ רחוקה באו מבבל | 14 |
Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?” Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”
ויאמר מה ראו בביתך ויאמר חזקיהו את כל אשר בביתי ראו--לא היה דבר אשר לא הראיתם באצרתי | 15 |
Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?” N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”
ויאמר ישעיהו אל חזקיהו שמע דבר יהוה | 16 |
Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba:
הנה ימים באים ונשא כל אשר בביתך ואשר אצרו אבתיך עד היום הזה בבלה לא יותר דבר אמר יהוה | 17 |
Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama.
ומבניך אשר יצאו ממך אשר תוליד--יקח (יקחו) והיו סריסים בהיכל מלך בבל | 18 |
“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”
ויאמר חזקיהו אל ישעיהו טוב דבר יהוה אשר דברת ויאמר הלוא אם שלום ואמת יהיה בימי | 19 |
Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”
ויתר דברי חזקיהו וכל גבורתו ואשר עשה את הברכה ואת התעלה ויבא את המים העירה הלא הם כתובים על ספר דברי הימים--למלכי יהודה | 20 |
Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda?
וישכב חזקיהו עם אבתיו וימלך מנשה בנו תחתיו | 21 |
Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.