< דברי הימים ב 9 >
ומלכת שבא שמעה את שמע שלמה ותבוא לנסות את שלמה בחידות בירושלם בחיל כבד מאד וגמלים נשאים בשמים וזהב לרב ואבן יקרה ותבוא אל שלמה ותדבר עמו את כל אשר היה עם לבבה | 1 |
Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’ajja e Yerusaalemi okumugeza n’ebibuuzo ebikalubo, ng’awerekeddwako ekibinja ekinene omwali eŋŋamira ezaali zeetise ebyakaloosa, ne zaabu nnyingi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka eri Sulemaani, n’anyumya naye ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.
ויגד לה שלמה את כל דבריה ולא נעלם דבר משלמה אשר לא הגיד לה | 2 |
Sulemaani n’addamu ebibuuzo bye byonna, ne wataba n’ekimu ekyamulema okumunnyonnyola.
ותרא מלכת שבא את חכמת שלמה--והבית אשר בנה | 3 |
Awo Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani, n’olubiri lwe yali azimbye,
ומאכל שלחנו ומושב עבדיו ומעמד משרתיו ומלבושיהם ומשקיו ומלבושיהם ועליתו אשר יעלה בית יהוה ולא היה עוד בה רוח | 4 |
n’emmere eyaliibwanga ku mmeeza ye, n’okutuula okw’abakungu be, n’abaweereza be mu byambalo byabwe, n’enyambuka gye yayambukangamu okugenda okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama, n’aggwaamu omwoyo.
ותאמר אל המלך אמת הדבר אשר שמעתי בארצי--על דבריך ועל חכמתך | 5 |
N’agamba kabaka nti, “Bye nnawulira nga ndi mu nsi yange ku bikwata ku bikolwa byo n’amagezi go bya mazima,
ולא האמנתי לדבריהם עד אשר באתי ותראינה עיני והנה לא הגד לי חצי מרבית חכמתך יספת על השמועה אשר שמעתי | 6 |
naye nnali sibikkirizanga okutuusa bwe najja ne mbyelabirako n’amaaso gange. Laba saabuulirwa wadde ekitundu eky’ettutumo lyo; bye mpulidde bisingawo ku ebyo bye nnawulira.
אשרי אנשיך ואשרי עבדיך אלה--העמדים לפניך תמיד ושמעים את חכמתך | 7 |
Abantu bo nga balina omukisa! Abaddu bo abakuweereza bulijjo ne bawulira amagezi go nga balina omukisa!
יהי יהוה אלהיך ברוך אשר חפץ בך לתתך על כסאו למלך ליהוה אלהיך באהבת אלהיך את ישראל להעמידו לעולם ויתנך עליהם למלך לעשות משפט וצדקה | 8 |
Mukama Katonda wo yeebazibwe akwenyumiririzaamu, era eyakuteeka ku ntebe yo ey’obwakabaka. Olw’okwagala kwa Katonda wo eri Isirayiri, era n’okwagala okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okubafuga, okukola obwenkanya n’obutuukirivu.”
ותתן למלך מאה ועשרים ככר זהב ובשמים לרב מאד--ואבן יקרה ולא היה כבשם ההוא אשר נתנה מלכת שבא למלך שלמה | 9 |
N’alyoka awa kabaka ettani nnya n’ekitundu eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Waali tewabangawo bya kaloosa bingi bwe bityo nga Kabaka omukazi w’e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
וגם עבדי חירם (חורם) ועבדי שלמה אשר הביאו זהב מאופיר--הביאו עצי אלגומים ואבן יקרה | 10 |
Abasajja ba Kulamu n’abasajja ba Sulemaani abaasuubulanga zaabu okuva e Ofiri baaleetanga n’emitoogo n’amayinja ag’omuwendo omungi.
ויעש המלך את עצי האלגומים מסלות לבית יהוה ולבית המלך וכנרות ונבלים לשרים ולא נראו כהם לפנים בארץ יהודה | 11 |
Kabaka n’akozesa emitoogo egyo okuzimba amaddaala aga yeekaalu ya Mukama n’ag’olubiri lwa kabaka, ate era n’akolamu n’ennanga n’entongooli z’abayimbi. Waali tewabangawo bifaanana ng’ebyo mu nsi ya Yuda.
והמלך שלמה נתן למלכת שבא את כל חפצה אשר שאלה מלבד אשר הביאה אל המלך ותהפך ותלך לארצה היא ועבדיה | 12 |
Kabaka Sulemaani n’awa Kabaka omukazi w’e Seeba byonna bye yayagala, okusinga n’ebyo bye yali amuleetedde. N’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye n’ekibinja kye.
ויהי משקל הזהב אשר בא לשלמה בשנה אחת--שש מאות וששים ושש ככרי זהב | 13 |
Obuzito bwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwaweranga ettani amakumi abiri mu ttaano,
לבד מאנשי התרים והסחרים מביאים וכל מלכי ערב ופחות הארץ מביאים זהב וכסף לשלמה | 14 |
okwo nga tagasseeko ey’obusuulu eyaweebwangayo abasuubuzi n’abamaguzi. Ate era ne bakabaka ab’e Buwalabu ne bagavana ab’ensi bamuleeteranga zaabu n’effeeza.
ויעש המלך שלמה מאתים צנה זהב שחוט שש מאות זהב שחוט יעלה על הצנה האחת | 15 |
Kabaka Sulemaani n’aweesa engabo ennene ebikumi bibiri okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu omukubeekube.
ושלש מאות מגנים זהב שחוט--שלש מאות זהב יעלה על המגן האחת ויתנם המלך בבית יער הלבנון | 16 |
N’aweesa n’engabo entono ebikumi bisatu okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo emu ne desimoolo musanvu eza zaabu. Kabaka n’aziteeka mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni.
ויעש המלך כסא שן גדול ויצפהו זהב טהור | 17 |
Kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene nga ya masanga, n’agibikkako zaabu ennongoose.
ושש מעלות לכסא וכבש בזהב לכסא מאחזים וידות מזה ומזה על מקום השבת ושנים אריות עמדים אצל הידות | 18 |
Entebe ye ey’obwakabaka yaliko amaddaala mukaaga, n’akatebe kawumulizaako ebigere akaakolebwa mu zaabu, era yaliko n’emikono eruuyi n’eruuyi, n’ebibumbe by’empologoma ennume bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono.
ושנים עשר אריות עמדים שם על שש המעלות--מזה ומזה לא נעשה כן לכל ממלכה | 19 |
N’empologoma kkumi na bbiri emmumbe zaali zisimbiddwa eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali eyakolebwa ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna.
וכל כלי משקה המלך שלמה זהב וכל כלי בית יער הלבנון זהב סגור אין כסף נחשב בימי שלמה--למאומה | 20 |
Ebinywerwamu byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, n’ebintu byonna ebyali mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoseemu. Tewaali kyakolebwa mu ffeeza kubanga mu biro bya Sulemaani effeeza yabanga ya muwendo gwa wansi.
כי אניות למלך הלכות תרשיש עם עבדי חורם אחת לשלוש שנים תבואנה אניות תרשיש נשאות זהב וכסף שנהבים וקופים ותוכיים | 21 |
Kabaka yalina ebyombo ebyagendanga e Talusiisi n’abasajja ba Kulamu, era buli myaka esatu byaleetanga zaabu n’effeeza, n’amasanga, n’enkoba n’enkima okuva e Talusiisi.
ויגדל המלך שלמה מכל מלכי הארץ--לעשר וחכמה | 22 |
Kabaka Sulemaani yali mugagga nnyo era nga mugezi okusinga bakabaka bonna ab’ensi.
וכל מלכי הארץ מבקשים את פני שלמה--לשמע את חכמתו אשר נתן האלהים בלבו | 23 |
Bakabaka bonna baagendanga gyali okumwebuuzaako, n’okuwulira amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
והם מביאים איש מנחתו כלי כסף וכלי זהב ושלמות נשק ובשמים סוסים ופרדים--דבר שנה בשנה | 24 |
Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, n’ebirala nga byambalo, n’ebirala nga byakulwanyisa, n’ebirala nga byakaloosa, n’embalaasi, n’ennyumbu.
ויהי לשלמה ארבעת אלפים אריות סוסים ומרכבות ושנים עשר אלף פרשים ויניחם בערי הרכב ועם המלך בירושלם | 25 |
Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya omwaterekebwanga embalaasi n’amagaali; n’abavuzi ab’amagaali baali emitwalo ebiri be yateeka mu bibuga eby’amagaali, n’abamu ku bo nga babeera naye mu Yerusaalemi.
ויהי מושל בכל המלכים--מן הנהר ועד ארץ פלשתים ועד גבול מצרים | 26 |
Era yafuganga bakabaka bonna okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, n’okutuuka ku nsalo ya Misiri.
ויתן המלך את הכסף בירושלם כאבנים ואת הארזים נתן כשקמים אשר בשפלה--לרב | 27 |
Kabaka n’afuula ffeeza okuba ekya bulijjo ng’amayinja mu Yerusaalemi era n’emivule ne giba mingi ng’emisukamooli egiri mu biwonvu.
ומוציאים סוסים ממצרים לשלמה ומכל הארצות | 28 |
Sulemaani yasuubulanga embalaasi okuva mu Misiri n’ensi endala.
ושאר דברי שלמה הראשנים והאחרונים--הלא הם כתובים על דברי נתן הנביא ועל נבואת אחיה השילוני ובחזות יעדי (יעדו) החזה על ירבעם בן נבט | 29 |
Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mulembe gwa Sulemaani okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu kwolesebwa kwa Akiya Omusiiro, ne mu birooto eby’omulabi Iddo ebikwata ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati?
וימלך שלמה בירושלם על כל ישראל ארבעים שנה | 30 |
Sulemaani n’afugira Isirayiri yenna mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana.
וישכב שלמה עם אבתיו ויקברהו בעיר דויד אביו וימלך רחבעם בנו תחתיו | 31 |
N’afa era n’aziikibwa mu kibuga kya kitaawe Dawudi, Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.