< דברי הימים ב 28 >
בן עשרים שנה אחז במלכו ושש עשרה שנה מלך בירושלם ולא עשה הישר בעיני יהוה כדויד אביו | 1 |
Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
וילך בדרכי מלכי ישראל וגם מסכות עשה לבעלים | 2 |
N’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, n’okukola n’akola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali.
והוא הקטיר בגיא בן הנם ויבער את בניו באש כתעבות הגוים אשר הריש יהוה מפני בני ישראל | 3 |
N’ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n’awaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ng’agoberera emizizo gy’abannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
ויזבח ויקטר בבמות ועל הגבעות ותחת כל עץ רענן | 4 |
N’awangayo ssaddaaka wamu n’okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu, ne ku ntikko z’ensozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
ויתנהו יהוה אלהיו ביד מלך ארם ויכו בו וישבו ממנו שביה גדולה ויביאו דרמשק וגם ביד מלך ישראל נתן ויך בו מכה גדולה | 5 |
Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda bangi nga basibe, n’abaleeta e Ddamasiko. Ate era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyaleeta ku bantu ba Yuda ebisago ebinene.
ויהרג פקח בן רמליהו ביהודה מאה ועשרים אלף ביום אחד--הכל בני חיל בעזבם את יהוה אלהי אבותם | 6 |
Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
ויהרג זכרי גבור אפרים את מעשיהו בן המלך ואת עזריקם נגיד הבית ואת אלקנה משנה המלך | 7 |
Ne Zikuli, omusajja omulwanyi omuzira owa Efulayimu n’atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azulikamu omukulu w’olubiri ne Erukaana omukungu, addirira kabaka.
וישבו בני ישראל מאחיהם מאתים אלף נשים בנים ובנות וגם שלל רב בזזו מהם ויביאו את השלל לשמרון | 8 |
Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.
ושם היה נביא ליהוה עדד שמו ויצא לפני הצבא הבא לשמרון ויאמר להם הנה בחמת יהוה אלהי אבותיכם על יהודה נתנם בידכם ותהרגו בם בזעף עד לשמים הגיע | 9 |
Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu.
ועתה בני יהודה וירושלם אתם אמרים לכבש לעבדים ולשפחות לכם הלא רק אתם עמכם אשמות ליהוה אלהיכם | 10 |
Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe?
ועתה שמעוני--והשיבו השביה אשר שביתם מאחיכם כי חרון אף יהוה עליכם | 11 |
Kale nno, mumpulirize, muleke baganda bammwe be muwambye baddeyo ewaabwe, kubanga Mukama abasunguwalidde mmwe.”
ויקמו אנשים מראשי בני אפרים עזריהו בן יהוחנן ברכיהו בן משלמות ויחזקיהו בן שלם ועמשא בן חדלי--על הבאים מן הצבא | 12 |
Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo.
ויאמרו להם לא תביאו את השביה הנה--כי לאשמת יהוה עלינו אתם אמרים להסיף על חטאתנו ועל אשמתנו כי רבה אשמה לנו וחרון אף על ישראל | 13 |
Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.”
ויעזב החלוץ את השביה ואת הבזה לפני השרים וכל הקהל | 14 |
Awo abaserikale ne basumulula abasibe, n’omunyago ne baguwaayo mu maaso g’abakungu n’ekibiina kyonna.
ויקמו האנשים אשר נקבו בשמות ויחזיקו בשביה וכל מערמיהם הלבישו מן השלל וילבשם וינעלום ויאכלום וישקום ויסכום וינהלום בחמרים לכל כושל ויביאום ירחו עיר התמרים אצל אחיהם וישובו שמרון | 15 |
Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.
בעת ההיא שלח המלך אחז על מלכי אשור--לעזר לו | 16 |
Awo mu biro ebyo kabaka Akazi n’asaba kabaka w’e Bwasuli amuyambe,
ועוד אדומים באו ויכו ביהודה וישבו שבי | 17 |
kubanga Abayedomu baali bazeemu okulumba Yuda, ne batwala abantu mu busibe.
ופלשתים פשטו בערי השפלה והנגב ליהודה וילכדו את בית שמש ואת אילון ואת הגדרות ואת שוכו ובנותיה ואת תמנה ובנותיה ואת גמזו ואת בנתיה וישבו שם | 18 |
Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balumbye ebibuga eby’omu nsenyi n’eby’omu bukiikaddyo obwa Yuda, nga bawambye Besusemesi, ne Ayalooni, ne Gederosi, ne Soko, ne Timuna, ne Gimuzo n’ebyalo ebyali byetoolodde ebibuga ebyo, era ng’omwo mwe babeera.
כי הכניע יהוה את יהודה בעבור אחז מלך ישראל כי הפריע ביהודה ומעול מעל ביהוה | 19 |
Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda.
ויבא עליו תלגת פלנאסר מלך אשור ויצר לו ולא חזקו | 20 |
Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba.
כי חלק אחז את בית יהוה ואת בית המלך והשרים ויתן למלך אשור ולא לעזרה לו | 21 |
Akazi n’aggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira n’abiwa kabaka w’e Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba.
ובעת הצר לו ויוסף למעול ביהוה הוא המלך אחז | 22 |
Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama.
ויזבח לאלהי דרמשק המכים בו ויאמר כי אלהי מלכי ארם הם מעזרים אתם להם אזבח ויעזרוני והם היו לו להכשילו ולכל ישראל | 23 |
N’awangayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka b’e Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n’okwa Isirayiri yenna.
ויאסף אחז את כלי בית האלהים ויקצץ את כלי בית האלהים ויסגר את דלתות בית יהוה ויעש לו מזבחות בכל פנה בירושלם | 24 |
Akazi n’akuŋŋaanya ebintu eby’omu yeekaalu ya Katonda, n’abiggyamu, n’aggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi.
ובכל עיר ועיר ליהודה עשה במות לקטר לאלהים אחרים ויכעס את יהוה אלהי אבתיו | 25 |
Mu buli kibuga kya Yuda n’azimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, n’asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
ויתר דבריו וכל דרכיו הראשנים והאחרונים--הנם כתובים על ספר מלכי יהודה וישראל | 26 |
Ebyafaayo ebirala eby’omu mulembe gwe n’empisa ze zonna, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri.
וישכב אחז עם אבתיו ויקברהו בעיר בירושלם--כי לא הביאהו לקברי מלכי ישראל וימלך יחזקיהו בנו תחתיו | 27 |
Akazi n’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isirayiri. Keezeekiya mutabani we n’amusikira.