< דברי הימים א 26 >
למחלקות לשערים--לקרחים משלמיהו בן קרא מן בני אסף | 1 |
Ebibinja by’Abaggazi byali: Mu Bakola, waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu.
ולמשלמיהו בנים--זכריהו הבכור ידיעאל השני זבדיהו השלישי יתניאל הרביעי | 2 |
Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga Zekkaliya ye w’olubereberye, ne Yediyayeri nga wakubiri, ne Zebadiya nga wakusatu, ne Yasuniyeri nga wakuna,
עילם החמישי יהוחנן הששי אליהועיני השביעי | 3 |
ne Eramu nga wakutaano, ne Yekokanani nga wamukaaga, ne Eriwenayi nga wa musanvu.
ולעבד אדם בנים--שמעיה הבכור יהוזבד השני יואח השלשי ושכר הרביעי ונתנאל החמישי | 4 |
Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga Semaaya ye w’olubereberye, ne Yekozabadi nga wakubiri, ne Yowa nga wakusatu, ne Sakali nga wakuna, ne Nesaneeri nga wakutaano,
עמיאל הששי יששכר השביעי פעלתי השמיני כי ברכו אלהים | 5 |
ne Ammiyeri nga wamukaaga, ne Isakaali nga wa musanvu, Pewulesayi nga wa munaana, Katonda gwe yawa omukisa.
ולשמעיה בנו נולד בנים הממשלים לבית אביהם כי גבורי חיל המה | 6 |
Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira.
בני שמעיה עתני ורפאל ועובד אלזבד אחיו--בני חיל אליהו וסמכיהו | 7 |
Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi.
כל אלה מבני עבד אדם המה ובניהם ואחיהם איש חיל בכח לעבדה--ששים ושנים לעבד אדם | 8 |
Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.
ולמשלמיהו בנים ואחים בני חיל--שמונה עשר | 9 |
Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana.
ולחסה מן בני מררי בנים--שמרי הראש כי לא היה בכור וישימהו אביהו לראש | 10 |
Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;
חלקיהו השני טבליהו השלשי זכריהו הרבעי כל בנים ואחים לחסה שלשה עשר | 11 |
Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu, ne Zekkaliya nga wakuna. Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu.
לאלה מחלקות השערים לראשי הגברים משמרות--לעמת אחיהם לשרת בבית יהוה | 12 |
Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna.
ויפילו גורלות כקטן כגדול לבית אבותם--לשער ושער | 13 |
Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.
ויפל הגורל מזרחה לשלמיהו וזכריהו בנו יועץ בשכל הפילו גורלות ויצא גורלו צפונה | 14 |
Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya. Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.
לעבד אדם נגבה ולבניו בית האספים | 15 |
Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.
לשפים ולחסה למערב עם שער שלכת במסלה העולה משמר לעמת משמר | 16 |
Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa. Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.
למזרח הלוים ששה לצפונה ליום ארבעה לנגבה ליום ארבעה ולאספים שנים שנים | 17 |
Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku, ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku, ne ku ggwanika babiri babiri.
לפרבר למערב--ארבעה למסלה שנים לפרבר | 18 |
Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.
אלה מחלקות השערים לבני הקרחי ולבני מררי | 19 |
Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.
והלוים--אחיה על אוצרות בית האלהים ולאצרות הקדשים | 20 |
Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa.
בני לעדן בני הגרשני ללעדן ראשי האבות ללעדן הגרשני--יחיאלי | 21 |
Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri,
בני יחיאלי--זתם ויואל אחיו על אצרות בית יהוה | 22 |
batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya Mukama.
לעמרמי ליצהרי לחברוני לעזיאלי | 23 |
Ku Bamulaamu, ne ku Bayizukaali, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri:
ושבאל בן גרשום בן משה נגיד על האצרות | 24 |
Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu.
ואחיו לאליעזר--רחביהו בנו וישעיהו בנו וירם בנו וזכרי בנו ושלמות (ושלמית) בנו | 25 |
Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.
הוא שלמות ואחיו על כל אצרות הקדשים אשר הקדיש דויד המלך וראשי האבות לשרי האלפים והמאות--ושרי הצבא | 26 |
Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala.
מן המלחמות ומן השלל הקדישו--לחזק לבית יהוה | 27 |
Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
וכל ההקדיש שמואל הראה ושאול בן קיש ואבנר בן נר ויואב בן צרויה--כל המקדיש על יד שלמית ואחיו | 28 |
Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze.
ליצהרי כנניהו ובניו למלאכה החיצונה על ישראל--לשטרים ולשפטים | 29 |
Ku Bayizukaali, Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri.
לחברוני חשביהו ואחיו בני חיל אלף ושבע מאות על פקדת ישראל מעבר לירדן מערבה--לכל מלאכת יהוה ולעבדת המלך | 30 |
Ku Bakebbulooni, Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri.
לחברוני יריה הראש לחברוני לתלדתיו לאבות--בשנת הארבעים למלכות דויד נדרשו וימצא בהם גבורי חיל ביעזיר גלעד | 31 |
Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe. Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni.
ואחיו בני חיל אלפים ושבע מאות--ראשי האבות ויפקידם דויד המלך על הראובני והגדי וחצי שבט המנשי לכל דבר האלהים ודבר המלך | 32 |
Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gy’ennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi n’amufuula mulabirizi wa Balewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n’olw’ebigambo bya kabaka.