< דברי הימים א 16 >

ויביאו את ארון האלהים ויציגו אתו בתוך האהל אשר נטה לו דויד ויקריבו עלות ושלמים לפני האלהים 1
Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda.
ויכל דויד מהעלות העלה והשלמים ויברך את העם בשם יהוה 2
Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama,
ויחלק לכל איש ישראל מאיש ועד אשה--לאיש ככר לחם ואשפר ואשישה 3
era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.
ויתן לפני ארון יהוה מן הלוים--משרתים ולהזכיר ולהודות ולהלל ליהוה אלהי ישראל 4
Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri.
אסף הראש ומשנהו זכריה יעיאל ושמירמות ויחיאל ומתתיה ואליאב ובניהו ועבד אדם ויעיאל בכלי נבלים ובכנרות ואסף במצלתים משמיע 5
Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa.
ובניהו ויחזיאל הכהנים--בחצצרות תמיד לפני ארון ברית האלהים 6
Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
ביום ההוא אז נתן דויד בראש להדות ליהוה--ביד אסף ואחיו 7
Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:
הודו ליהוה קראו בשמו-- הודיעו בעמים עלילתיו 8
Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
שירו לו זמרו לו-- שיחו בכל נפלאתיו 9
Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza mwogere ku byamagero bye byonna.
התהללו בשם קדשו-- ישמח לב מבקשי יהוה 10
Erinnya lye ligulumizibwe, n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
דרשו יהוה ועזו-- בקשו פניו תמיד 11
Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna.
זכרו נפלאתיו אשר עשה-- מפתיו ומשפטי פיהו 12
Mujjukire ebyewuunyo by’akoze, n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
זרע ישראל עבדו-- בני יעקב בחיריו 13
mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be, mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
הוא יהוה אלהינו-- בכל הארץ משפטיו 14
Ye Mukama Katonda waffe; okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.
זכרו לעולם בריתו-- דבר צוה לאלף דור 15
Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
אשר כרת את אברהם-- ושבועתו ליצחק 16
gye yakola ne Ibulayimu, era n’agirayiza Isaaka.
ויעמידה ליעקב לחק-- לישראל ברית עולם 17
N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo, n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
לאמר לך אתן ארץ כנען-- חבל נחלתכם 18
ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”
בהיותכם מתי מספר-- כמעט וגרים בה 19
Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono, era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
ויתהלכו מגוי אל גוי-- ומממלכה אל עם אחר 20
baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala, n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
לא הניח לאיש לעשקם-- ויוכח עליהם מלכים 21
Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
אל תגעו במשיחי-- ובנביאי אל תרעו 22
ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so bannabbi bange temubakolanga akabi.”
שירו ליהוה כל הארץ-- בשרו מיום אל יום ישועתו 23
Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
ספרו בגוים את כבודו-- בכל העמים נפלאתיו 24
Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.
כי גדול יהוה ומהלל מאד-- ונורא הוא על כל אלהים 25
Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
כי כל אלהי העמים אלילים-- ויהוה שמים עשה 26
Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.
הוד והדר לפניו-- עז וחדוה במקמו 27
Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge, amaanyi n’essanyu biri wamu naye.
הבו ליהוה משפחות עמים-- הבו ליהוה כבוד ועז 28
Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna, mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
הבו ליהוה כבוד שמו שאו מנחה ובאו לפניו-- השתחוו ליהוה בהדרת קדש 29
Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
חילו מלפניו כל הארץ-- אף תכון תבל בל תמוט 30
Mukankane mu maaso ge ensi yonna, weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.
ישמחו השמים ותגל הארץ-- ויאמרו בגוים יהוה מלך 31
Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
ירעם הים ומלואו-- יעלץ השדה וכל אשר בו 32
Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna, n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
אז ירננו עצי היער מלפני יהוה--כי בא לשפוט את הארץ 33
Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba, ginaayimbira Mukama n’essanyu, kubanga akomawo okusalira ensi omusango.
הודו ליהוה כי טוב-- כי לעולם חסדו 34
Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
ואמרו--הושיענו אלהי ישענו וקבצנו והצילנו מן הגוים להדות לשם קדשך להשתבח בתהלתך 35
Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga, twebaze erinnya lyo ettukuvu, era tujagulize mu ttendo lyo.”
ברוך יהוה אלהי ישראל-- מן העולם ועד העלם ויאמרו כל העם אמן-- והלל ליהוה 36
Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri ow’emirembe n’emirembe. Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”
ויעזב שם לפני ארון ברית יהוה לאסף ולאחיו לשרת לפני הארון תמיד--לדבר יום ביומו 37
Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku.
ועבד אדם ואחיהם ששים ושמונה ועבד אדם בן ידיתון וחסה לשערים 38
Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.
ואת צדוק הכהן ואחיו הכהנים לפני משכן יהוה--בבמה אשר בגבעון 39
Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni
להעלות עלות ליהוה על מזבח העלה תמיד--לבקר ולערב ולכל הכתוב בתורת יהוה אשר צוה על ישראל 40
okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.
ועמהם הימן וידותון ושאר הברורים אשר נקבו בשמות--להדות ליהוה כי לעולם חסדו 41
Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.
ועמהם הימן וידותון חצצרות ומצלתים למשמיעים וכלי שיר האלהים ובני ידותון לשער 42
Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.
וילכו כל העם איש לביתו ויסב דויד לברך את ביתו 43
Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

< דברי הימים א 16 >