< Zabura 134 >

1 Waƙar haurawa. Yabi Ubangiji, dukanku bayin Ubangiji waɗanda kuke hidima da dare a gidan Ubangiji.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 Ku tā da hannuwanku a cikin wurinsa mai tsarki ku kuma yabi Ubangiji.
Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu, mutendereze Mukama.
3 Bari Ubangiji, Mahaliccin sama da ƙasa, ya albarkace ku daga Sihiyona.
Mukama eyakola eggulu n’ensi akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.

< Zabura 134 >