< Κατα Λουκαν 4 >

1 Ἰησοῦς δὲ πλήρης πνεύματος ἁγίου ὑπέστρεψεν ἀπὸ τοῦ Ἰορδάνου, καὶ ἤγετο ἐν τῷ πνεύματι ἐν τῇ ἐρήμῳ
Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu,
2 ἡμέρας τεσσεράκοντα, πειραζόμενος ὑπὸ τοῦ διαβόλου. καὶ οὐκ ἔφαγεν οὐδὲν ἐν ταῖς ἡμέραις ἐκείναις, καὶ συντελεσθεισῶν αὐτῶν ἐπείνασεν.
n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma.
3 εἶπεν δὲ αὐτῷ ὁ διάβολος, Εἰ υἱὸς εἶ τοῦ θεοῦ, εἰπὲ τῷ λίθῳ τούτῳ ἵνα γένηται ἄρτος.
Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4 καὶ ἀπεκρίθη πρὸς αὐτὸν ὁ Ἰησοῦς, Γέγραπται ὅτι Οὐκ ἐπ᾽ ἄρτῳ μόνῳ ζήσεται ὁ ἄνθρωπος, [ἀλλ᾽ ἐπὶ παντὶ ῥήματι θεοῦ].
Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’”
5 Καὶ ἀναγαγὼν αὐτὸν ἔδειξεν αὐτῷ πάσας τὰς βασιλείας τῆς οἰκουμένης ἐν στιγμῇ χρόνου·
Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi.
6 καὶ εἶπεν αὐτῷ ὁ διάβολος, Σοὶ δώσω τὴν ἐξουσίαν ταύτην ἅπασαν καὶ τὴν δόξαν αὐτῶν, ὅτι ἐμοὶ παραδέδοται καὶ ᾧ ἂν θέλω δίδωμι αὐτήν·
Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala.
7 σὺ οὖν ἐὰν προσκυνήσῃς ἐνώπιον ἐμοῦ, ἔσται σοῦ πᾶσα.
Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”
8 καὶ ἀποκριθεὶς αὐτῷ εἶπεν ὁ Ἰησοῦς, Γέγραπται· κύριον τὸν θεόν σου προσκυνήσεις, καὶ αὐτῷ μόνῳ λατρεύσεις.
Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’”
9 Ἤγαγεν δὲ αὐτὸν εἰς Ἱερουσαλήμ, καὶ ἔστησεν [αὐτὸν] ἐπὶ τὸ πτερύγιον τοῦ ἱεροῦ, καὶ εἶπεν αὐτῷ, Εἰ υἱὸς εἶ τοῦ θεοῦ, βάλε σεαυτὸν ἐντεῦθεν κάτω·
Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi.
10 γέγραπται γὰρ ὅτι τοῖς ἀγγέλοις αὐτοῦ ἐντελεῖται περὶ σοῦ, τοῦ διαφυλάξαι σε,
Kubanga kyawandiikibwa nti, “‘Katonda aliragira bamalayika be bakukuume.
11 καὶ ὅτι ἐπὶ χειρῶν ἀροῦσίν σε, μή ποτε προσκόψῃς πρὸς λίθον τὸν πόδα σου.
Era balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’”
12 καὶ ἀποκριθεὶς εἶπεν αὐτῷ ὁ Ἰησοῦς ὅτι Εἴρηται, Οὐκ ἐκπειράσεις κύριον τὸν θεόν σου.
Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’”
13 Καὶ συντελέσας πάντα πειρασμὸν ὁ διάβολος ἀπέστη ἀπ᾽ αὐτοῦ ἄχρι καιροῦ.
Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.
14 Καὶ ὑπέστρεψεν ὁ Ἰησοῦς ἐν τῇ δυνάμει τοῦ πνεύματος εἰς τὴν Γαλιλαίαν, καὶ φήμη ἐξῆλθεν καθ᾽ ὅλης τῆς περιχώρου περὶ αὐτοῦ·
Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo.
15 καὶ αὐτὸς ἐδίδασκεν ἐν ταῖς συναγωγαῖς αὐτῶν, δοξαζόμενος ὑπὸ πάντων.
N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.
16 Καὶ ἦλθεν εἰς Ναζαρέτ, οὗ ἦν τεθραμμένος, καὶ εἰσῆλθεν κατὰ τὸ εἰωθὸς αὐτῷ ἐν τῇ ἡμέρᾳ τῶν σαββάτων εἰς τὴν συναγωγήν, καὶ ἀνέστη ἀναγνῶναι.
Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma.
17 καὶ ἐπεδόθη αὐτῷ βιβλίον τοῦ προφήτου Ἡσαΐου· καὶ ἀνοίξας τὸ βιβλίον εὗρεν τὸν τόπον οὗ ἦν γεγραμμένον,
Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,
18 Πνεῦμα κυρίου ἐπ᾽ ἐμέ, οὗ εἵνεκεν ἔχρισέν με εὐαγγελίσασθαι πτωχοῖς, ἀπέσταλκέν με κηρύξαι αἰχμαλώτοις ἄφεσιν καὶ τυφλοῖς ἀνάβλεψιν, ἀποστεῖλαι τεθραυσμένους ἐν ἀφέσει,
“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
19 κηρύξαι ἐνιαυτὸν κυρίου δεκτόν.
n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”
20 Καὶ πτύξας τὸ βιβλίον ἀποδοὺς τῷ ὑπηρέτῃ ἐκάθισεν, καὶ πάντων οἱ ὀφθαλμοὶ ἐν τῇ συναγωγῇ ἦσαν ἀτενίζοντες αὐτῷ.
N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso.
21 ἤρξατο δὲ λέγειν πρὸς αὐτοὺς ὅτι Σήμερον πεπλήρωται ἡ γραφὴ αὕτη ἐν τοῖς ὠσὶν ὑμῶν.
N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”
22 καὶ πάντες ἐμαρτύρουν αὐτῷ, καὶ ἐθαύμαζον ἐπὶ τοῖς λόγοις τῆς χάριτος τοῖς ἐκπορευομένοις ἐκ τοῦ στόματος αὐτοῦ, καὶ ἔλεγον, Οὐχὶ οὗτός ἐστιν [ὁ] υἱὸς Ἰωσήφ;
Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23 καὶ εἶπεν πρὸς αὐτούς, Πάντως ἐρεῖτέ μοι τὴν παραβολὴν ταύτην, Ἰατρὲ θεράπευσον σεαυτόν· ὅσα ἠκούσαμεν γενόμενα εἰς Καφαρναούμ, ποίησον καὶ ὧδε ἐν τῇ πατρίδι σου.
Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’”
24 εἶπεν δέ, Ἀμὴν λέγω ὑμῖν ὅτι οὐδεὶς προφήτης δεκτός ἐστιν ἐν τῇ πατρίδι αὐτοῦ.
Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe!
25 ἐπ᾽ ἀληθείας δὲ λέγω ὑμῖν, πολλαὶ χῆραι ἦσαν ἐν ταῖς ἡμέραις Ἡλίου ἐν τῷ Ἰσραήλ, ὅτε ἐκλείσθη ὁ οὐρανὸς ἔτη τρία καὶ μῆνας ἕξ, ὡς ἐγένετο λιμὸς μέγας ἐπὶ πᾶσαν τὴν γῆν·
Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna.
26 καὶ πρὸς οὐδεμίαν αὐτῶν ἐπέμφθη Ἡλίας, εἰ μὴ εἰς Σάρεπτα τῆς Σιδωνίας πρὸς γυ ναῖκα χήραν.
Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni.
27 καὶ πολλοὶ λεπροὶ ἦσαν ἐν τῷ Ἰσραὴλ ἐπὶ Ἐλισαίου τοῦ προφήτου· καὶ οὐδεὶς αὐτῶν ἐκαθαρίσθη, εἰ μὴ Ναιμὰν ὁ Σύρος.
Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagengebangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”
28 καὶ ἐπλήσθησαν πάντες θυμοῦ ἐν τῇ συναγωγῇ ἀκούοντες ταῦτα·
Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo,
29 καὶ ἀναστάντες ἐξέβαλον αὐτὸν ἔξω τῆς πόλεως, καὶ ἤγαγον αὐτὸν ἕως ὀφρύος τοῦ ὄρους ἐφ᾽ οὗ ἡ πόλις ᾠκοδόμητο αὐτῶν, ὥστε κατακρημνίσαι αὐτόν·
ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi.
30 αὐτὸς δὲ διελθὼν διὰ μέσου αὐτῶν ἐπορεύετο.
Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.
31 Καὶ κατῆλθεν εἰς Καφαρναοὺμ πόλιν τῆς Γαλιλαίας· καὶ ἦν διδάσκων αὐτοὺς ἐν τοῖς σάββασιν·
Awo Yesu n’alaga e Kaperunawumu, ekibuga eky’e Ggaliraaya n’abayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti.
32 καὶ ἐξεπλήσσοντο ἐπὶ τῇ διδαχῇ αὐτοῦ, ὅτι ἐν ἐξουσίᾳ ἦν ὁ λόγος αὐτοῦ.
Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza.
33 καὶ ἐν τῇ συναγωγῇ ἦν ἄνθρωπος ἔχων πνεῦμα δαιμονίου ἀκαθάρτου, καὶ ἀνέκραξεν φωνῇ μεγάλῃ
Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko ddayimooni n’atandika okuwowoggana nti,
34 [λέγων], Ἔα, τί ἡμῖν καὶ σοί, Ἰησοῦ Ναζαρηνέ; ἦλθες ἀπολέσαι ἡμᾶς; οἶδά σε τίς εἶ, ὁ ἅγιος τοῦ θεοῦ.
“Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”
35 καὶ ἐπετίμησεν αὐτῷ ὁ Ἰησοῦς λέγων, Φιμώθητι καὶ ἔξελθε ἀπ᾽ αὐτοῦ. καὶ ῥῖψαν αὐτὸν τὸ δαιμόνιον εἰς τὸ μέσον, ἐξῆλθεν ἀπ᾽ αὐτοῦ μηδὲν βλάψαν αὐτόν.
Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza.
36 καὶ ἐγένετο θάμβος ἐπὶ πάντας, καὶ συνελάλουν πρὸς ἀλλήλους λέγοντες, Τίς ὁ λόγος οὗτος, ὅτι ἐν ἐξουσίᾳ καὶ δυνάμει ἐπιτάσσει τοῖς ἀκαθάρτοις πνεύμασιν, καὶ ἐξέρχονται;
Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”
37 καὶ ἐξεπορεύετο ἦχος περὶ αὐτοῦ εἰς πάντα τόπον τῆς περιχώρου.
Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.
38 Ἀναστὰς δὲ ἀπὸ τῆς συναγωγῆς εἰσῆλθεν εἰς τὴν οἰκίαν Σίμωνος· πενθερὰ δὲ τοῦ Σίμωνος ἦν συνεχομένη πυρετῷ μεγάλῳ, καὶ ἠρώτησαν αὐτὸν περὶ αὐτῆς.
Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe.
39 καὶ ἐπιστὰς ἐπάνω αὐτῆς ἐπετίμησεν τῷ πυρετῷ, καὶ ἀφῆκεν αὐτήν· παραχρῆμα δὲ ἀναστᾶσα διηκόνει αὐτοῖς.
Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!
40 Δύνοντος δὲ τοῦ ἡλίου πάντες ὅσοι εἶχον ἀσθενοῦντας νόσοις ποικίλαις ἤγαγον αὐτοὺς πρὸς αὐτόν· ὁ δὲ ἑνὶ ἑκάστῳ αὐτῶν τὰς χεῖρας ἐπιτιθεὶς ἐθεράπευεν αὐτούς.
Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya.
41 ἐξήρχετο δὲ καὶ δαιμόνια ἀπὸ πολλῶν κράζοντα, καὶ λέγοντα ὅτι Σὺ εἶ ὁ υἱὸς τοῦ θεοῦ. καὶ ἐπιτιμῶν οὐκ εἴα αὐτὰ λαλεῖν ὅτι ᾔδεισαν τὸν χριστὸν αὐτὸν εἶναι.
Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako.
42 Γενομένης δὲ ἡμέρας ἐξελθὼν ἐπορεύθη εἰς ἔρημον τόπον, καὶ οἱ ὄχλοι ἐπεζήτουν αὐτόν· καὶ ἦλθον ἕως αὐτοῦ, καὶ κατεῖχον αὐτὸν τοῦ μὴ πορεύεσθαι ἀπ᾽ αὐτῶν.
Bwe bwakya Yesu n’alaga mu kifo etali bantu. Ekibiina ky’abantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gy’ali ne bamwegayirira aleme kubavaako.
43 ὁ δὲ εἶπεν πρὸς αὐτοὺς ὅτι Καὶ ταῖς ἑτέραις πόλεσιν εὐαγγελίσασθαί με δεῖ τὴν βασιλείαν τοῦ θεοῦ, ὅτι ἐπὶ τοῦτο ἀπεστάλην.
Naye n’abaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo y’ensonga kyenava ntumibwa.”
44 Καὶ ἦν κηρύσσων εἰς τὰς συναγωγὰς τῆς Γαλιλαίας.
Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.

< Κατα Λουκαν 4 >