< Προς Κορινθιους Α΄ 6 >
1 Τολμᾷ τις ὑμῶν πρᾶγμα ἔχων πρὸς τὸν ἕτερον κρίνεσθαι ἐπὶ τῶν ἀδίκων, καὶ οὐχὶ ἐπὶ τῶν ἁγίων;
Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu?
2 ⸀ἢοὐκ οἴδατε ὅτι οἱ ἅγιοι τὸν κόσμον κρινοῦσιν; καὶ εἰ ἐν ὑμῖν κρίνεται ὁ κόσμος, ἀνάξιοί ἐστε κριτηρίων ἐλαχίστων;
Oba temumanyi ng’abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe?
3 οὐκ οἴδατε ὅτι ἀγγέλους κρινοῦμεν, μήτιγε βιωτικά;
Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno?
4 βιωτικὰ μὲν οὖν κριτήρια ἐὰν ἔχητε, τοὺς ἐξουθενημένους ἐν τῇ ἐκκλησίᾳ, τούτους καθίζετε;
Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi?
5 πρὸς ἐντροπὴν ὑμῖν λέγω. οὕτως οὐκ ἔνι ἐν ὑμῖν ⸂οὐδεὶς σοφὸς ὃς δυνήσεται διακρῖναι ἀνὰ μέσον τοῦ ⸀ἀδελφοῦαὐτοῦ,
Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda?
6 ἀλλὰ ἀδελφὸς μετὰ ἀδελφοῦ κρίνεται, καὶ τοῦτο ἐπὶ ἀπίστων;
Naye owooluganda ayinza okuwoza n’owooluganda mu maaso g’abatali bakkiriza?
7 ἤδη μὲν ⸀οὖνὅλως ἥττημα ὑμῖν ἐστιν ὅτι κρίματα ἔχετε μεθʼ ἑαυτῶν· διὰ τί οὐχὶ μᾶλλον ἀδικεῖσθε; διὰ τί οὐχὶ μᾶλλον ἀποστερεῖσθε;
N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
8 ἀλλὰ ὑμεῖς ἀδικεῖτε καὶ ἀποστερεῖτε, καὶ ⸀τοῦτοἀδελφούς.
Naye musobya baganda bammwe ne mubalyazaamaanya.
9 Ἢ οὐκ οἴδατε ὅτι ἄδικοι ⸂θεοῦ βασιλείαν οὐ κληρονομήσουσιν; μὴ πλανᾶσθε· οὔτε πόρνοι οὔτε εἰδωλολάτραι οὔτε μοιχοὶ οὔτε μαλακοὶ οὔτε ἀρσενοκοῖται
Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga,
10 οὔτε ⸂κλέπται οὔτε πλεονέκται, ⸀οὐμέθυσοι, οὐ λοίδοροι, οὐχ ἅρπαγες βασιλείαν ⸀θεοῦκληρονομήσουσιν.
newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
11 καὶ ταῦτά τινες ἦτε· ἀλλὰ ἀπελούσασθε, ἀλλὰ ἡγιάσθητε, ἀλλὰ ἐδικαιώθητε ἐν τῷ ὀνόματι τοῦ κυρίου ⸀Ἰησοῦκαὶ ἐν τῷ πνεύματι τοῦ θεοῦ ἡμῶν.
Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.
12 Πάντα μοι ἔξεστιν· ἀλλʼ οὐ πάντα συμφέρει. πάντα μοι ἔξεστιν· ἀλλʼ οὐκ ἐγὼ ἐξουσιασθήσομαι ὑπό τινος.
Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.
13 τὰ βρώματα τῇ κοιλίᾳ, καὶ ἡ κοιλία τοῖς βρώμασιν· ὁ δὲ θεὸς καὶ ταύτην καὶ ταῦτα καταργήσει. τὸ δὲ σῶμα οὐ τῇ πορνείᾳ ἀλλὰ τῷ κυρίῳ, καὶ ὁ κύριος τῷ σώματι·
Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama.
14 ὁ δὲ θεὸς καὶ τὸν κύριον ἤγειρεν καὶ ἡμᾶς ἐξεγερεῖ διὰ τῆς δυνάμεως αὐτοῦ.
Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge.
15 οὐκ οἴδατε ὅτι τὰ σώματα ὑμῶν μέλη Χριστοῦ ἐστιν; ἄρας οὖν τὰ μέλη τοῦ Χριστοῦ ποιήσω πόρνης μέλη; μὴ γένοιτο.
Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe.
16 ⸀ἢοὐκ οἴδατε ὅτι ὁ κολλώμενος τῇ πόρνῃ ἓν σῶμά ἐστιν; Ἔσονται γάρ, φησίν, οἱ δύο εἰς σάρκα μίαν.
Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.”
17 ὁ δὲ κολλώμενος τῷ κυρίῳ ἓν πνεῦμά ἐστιν.
Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
18 φεύγετε τὴν πορνείαν· πᾶν ἁμάρτημα ὃ ἐὰν ποιήσῃ ἄνθρωπος ἐκτὸς τοῦ σώματός ἐστιν, ὁ δὲ πορνεύων εἰς τὸ ἴδιον σῶμα ἁμαρτάνει.
Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini.
19 ἢ οὐκ οἴδατε ὅτι τὸ σῶμα ὑμῶν ναὸς τοῦ ἐν ὑμῖν ἁγίου πνεύματός ἐστιν, οὗ ἔχετε ἀπὸ θεοῦ; καὶ οὐκ ἐστὲ ἑαυτῶν,
Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe?
20 ἠγοράσθητε γὰρ τιμῆς· δοξάσατε δὴ τὸν θεὸν ἐν τῷ σώματι ⸀ὑμῶν
Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.