< Πετρου Α΄ 2 >
1 Ἀποθέμενοι οὖν πᾶσαν κακίαν καὶ πάντα δόλον καὶ ὑποκρίσεις καὶ φθόνους καὶ πάσας καταλαλιάς,
Kale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna.
2 ὡς ἀρτιγέννητα βρέφη τὸ λογικὸν ἄδολον γάλα ἐπιποθήσατε, ἵνα ἐν αὐτῷ αὐξηθῆτε εἰς σωτηρίαν,
Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,
3 εἰ ἐγεύσασθε ὅτι χρηστὸς ὁ Κύριος.
kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.
4 πρὸς ὃν προσερχόμενοι, λίθον ζῶντα, ὑπὸ ἀνθρώπων μὲν ἀποδεδοκιμασμένον παρὰ δὲ Θεῷ ἐκλεκτὸν ἔντιμον,
Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo.
5 καὶ αὐτοὶ ὡς λίθοι ζῶντες οἰκοδομεῖσθε οἶκος πνευματικὸς εἰς ἱεράτευμα ἅγιον, ἀνενέγκαι πνευματικὰς θυσίας εὐπροσδέκτους Θεῷ διὰ Ἰησοῦ Χριστοῦ.
Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe.
6 διότι περιέχει ἐν γραφῇ Ἰδοὺ τίθημι ἐν Σιὼν λίθον ἐκλεκτὸν ἀκρογωνιαῖον ἔντιμον, καὶ ὁ πιστεύων ἐπ’ αὐτῷ οὐ μὴ καταισχυνθῇ.
Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni, ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde, oyo eyeesiga Kristo, taliswazibwa.”
7 ὑμῖν οὖν ἡ τιμὴ τοῖς πιστεύουσιν· ἀπιστοῦσιν δὲ λίθος ὃν ἀπεδοκίμασαν οἱ οἰκοδομοῦντες, οὗτος ἐγενήθη εἰς κεφαλὴν γωνίας
Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza, “Lye jjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”
8 καὶ λίθος προσκόμματος καὶ πέτρα σκανδάλου· οἳ προσκόπτουσιν τῷ λόγῳ ἀπειθοῦντες, εἰς ὃ καὶ ἐτέθησαν·
Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.
9 ὑμεῖς δὲ γένος ἐκλεκτόν, βασίλειον ἱεράτευμα, ἔθνος ἅγιον, λαὸς εἰς περιποίησιν, ὅπως τὰς ἀρετὰς ἐξαγγείλητε τοῦ ἐκ σκότους ὑμᾶς καλέσαντος εἰς τὸ θαυμαστὸν αὐτοῦ φῶς·
Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.
10 οἵ ποτε οὐ λαὸς, νῦν δὲ λαὸς Θεοῦ, οἱ οὐκ ἠλεημένοι, νῦν δὲ ἐλεηθέντες.
Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.
11 Ἀγαπητοί, παρακαλῶ ὡς παροίκους καὶ παρεπιδήμους ἀπέχεσθαι τῶν σαρκικῶν ἐπιθυμιῶν, αἵτινες στρατεύονται κατὰ τῆς ψυχῆς·
Abaagalwa, mutegeerere ddala nti ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kw’omubiri, kubanga kulwanagana n’omwoyo.
12 τὴν ἀναστροφὴν ὑμῶν ἐν τοῖς ἔθνεσιν ἔχοντες καλήν, ἵνα ἐν ᾧ καταλαλοῦσιν ὑμῶν ὡς κακοποιῶν, ἐκ τῶν καλῶν ἔργων ἐποπτεύοντες δοξάσωσιν τὸν Θεὸν ἐν ἡμέρᾳ ἐπισκοπῆς.
Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.
13 Ὑποτάγητε πάσῃ ἀνθρωπίνῃ κτίσει διὰ τὸν Κύριον· εἴτε βασιλεῖ ὡς ὑπερέχοντι,
Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro ky’abo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obw’oku ntikko,
14 εἴτε ἡγεμόσιν ὡς δι’ αὐτοῦ πεμπομένοις εἰς ἐκδίκησιν κακοποιῶν ἔπαινον δὲ ἀγαθοποιῶν·
oba abafuzi abalala b’atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n’okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi.
15 ὅτι οὕτως ἐστὶν τὸ θέλημα τοῦ Θεοῦ, ἀγαθοποιοῦντας φιμοῦν τὴν τῶν ἀφρόνων ἀνθρώπων ἀγνωσίαν·
Kubanga Katonda asiima mukolenga ebirungi, mulyoke musirisenga abantu abasirusiru era abatalina kye bamanyi.
16 ὡς ἐλεύθεροι, καὶ μὴ ὡς ἐπικάλυμμα ἔχοντες τῆς κακίας τὴν ἐλευθερίαν, ἀλλ’ ὡς Θεοῦ δοῦλοι.
Mubenga ba ddembe, kyokka nga temulyesigamya ku kukola bitasaana, wabula mulikozese ng’abaweereza ba Katonda.
17 πάντας τιμήσατε, τὴν ἀδελφότητα ἀγαπᾶτε, τὸν Θεὸν φοβεῖσθε, τὸν βασιλέα τιμᾶτε.
Mussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi.
18 Οἱ οἰκέται, ὑποτασσόμενοι ἐν παντὶ φόβῳ τοῖς δεσπόταις, οὐ μόνον τοῖς ἀγαθοῖς καὶ ἐπιεικέσιν ἀλλὰ καὶ τοῖς σκολιοῖς.
Abaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi n’abakwatampola naye n’abo abakambwe.
19 τοῦτο γὰρ χάρις εἰ διὰ συνείδησιν Θεοῦ ὑποφέρει τις λύπας πάσχων ἀδίκως.
Kubanga kya mukisa omuntu bw’abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n’agumiikiriza olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala.
20 ποῖον γὰρ κλέος εἰ ἁμαρτάνοντες καὶ κολαφιζόμενοι ὑπομενεῖτε; ἀλλ’ εἰ ἀγαθοποιοῦντες καὶ πάσχοντες ὑπομενεῖτε, τοῦτο χάρις παρὰ Θεῷ.
Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi.
21 εἰς τοῦτο γὰρ ἐκλήθητε, ὅτι καὶ Χριστὸς ἔπαθεν ὑπὲρ ὑμῶν, ὑμῖν ὑπολιμπάνων ὑπογραμμὸν ἵνα ἐπακολουθήσητε τοῖς ἴχνεσιν αὐτοῦ·
Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
22 ὃς ἁμαρτίαν οὐκ ἐποίησεν οὐδὲ εὑρέθη δόλος ἐν τῷ στόματι αὐτοῦ·
“Kristo teyakola kibi wadde okwogera ebyobukuusa.”
23 ὃς λοιδορούμενος οὐκ ἀντελοιδόρει, πάσχων οὐκ ἠπείλει, παρεδίδου δὲ τῷ κρίνοντι δικαίως·
Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza.
24 ὃς τὰς ἁμαρτίας ἡμῶν αὐτὸς ἀνήνεγκεν ἐν τῷ σώματι αὐτοῦ ἐπὶ τὸ ξύλον, ἵνα ταῖς ἁμαρτίαις ἀπογενόμενοι τῇ δικαιοσύνῃ ζήσωμεν· οὗ τῷ μώλωπι ἰάθητε.
Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.
25 ἦτε γὰρ ὡς πρόβατα πλανώμενοι, ἀλλὰ ἐπεστράφητε νῦν ἐπὶ τὸν Ποιμένα καὶ Ἐπίσκοπον τῶν ψυχῶν ὑμῶν.
Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.