< Ἰεζεκιήλ 27 >

1 καὶ ἐγένετο λόγος κυρίου πρός με λέγων
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 υἱὲ ἀνθρώπου λαβὲ ἐπὶ Σορ θρῆνον
“Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo.
3 καὶ ἐρεῖς τῇ Σορ τῇ κατοικούσῃ ἐπὶ τῆς εἰσόδου τῆς θαλάσσης τῷ ἐμπορίῳ τῶν λαῶν ἀπὸ νήσων πολλῶν τάδε λέγει κύριος τῇ Σορ σὺ εἶπας ἐγὼ περιέθηκα ἐμαυτῇ κάλλος μου
Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ggwe Ttuulo oyogera nti, “Natuukirira mu bulungi.”
4 ἐν καρδίᾳ θαλάσσης τῷ Βεελιμ υἱοί σου περιέθηκάν σοι κάλλος
Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati, era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
5 κέδρος ἐκ Σανιρ ᾠκοδομήθη σοι ταινίαι σανίδων κυπαρίσσου ἐκ τοῦ Λιβάνου ἐλήμφθησαν τοῦ ποιῆσαί σοι ἱστοὺς ἐλατίνους
Baakola embaawo zo zonna mu miberosi gya Seniri, ne baddira emivule egy’e Lebanooni ne bakolamu omulongooti.
6 ἐκ τῆς Βασανίτιδος ἐποίησαν τὰς κώπας σου τὰ ἱερά σου ἐποίησαν ἐξ ἐλέφαντος οἴκους ἀλσώδεις ἀπὸ νήσων τῶν Χεττιιν
Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani, n’emmanga zo, bazikola mu nzo, ez’oku bizinga ebya Kittimu, nga bazaaliiridde n’amasanga.
7 βύσσος μετὰ ποικιλίας ἐξ Αἰγύπτου ἐγένετό σοι στρωμνὴ τοῦ περιθεῖναί σοι δόξαν καὶ περιβαλεῖν σε ὑάκινθον καὶ πορφύραν ἐκ τῶν νήσων Ελισαι καὶ ἐγένετο περιβόλαιά σου
Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri, era lyakozesebwanga ebendera; n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
8 καὶ οἱ ἄρχοντές σου οἱ κατοικοῦντες Σιδῶνα καὶ Αράδιοι ἐγένοντο κωπηλάται σου οἱ σοφοί σου Σορ οἳ ἦσαν ἐν σοί οὗτοι κυβερνῆταί σου
Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi, n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
9 οἱ πρεσβύτεροι Βυβλίων καὶ οἱ σοφοὶ αὐτῶν ἦσαν ἐν σοί οὗτοι ἐνίσχυον τὴν βουλήν σου καὶ πάντα τὰ πλοῖα τῆς θαλάσσης καὶ οἱ κωπηλάται αὐτῶν ἐγένοντό σοι ἐπὶ δυσμὰς δυσμῶν
Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe, era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo; ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe; nga bagula ebyamaguzi byo.
10 Πέρσαι καὶ Λυδοὶ καὶ Λίβυες ἦσαν ἐν τῇ δυνάμει σου ἄνδρες πολεμισταί σου πέλτας καὶ περικεφαλαίας ἐκρέμασαν ἐν σοί οὗτοι ἔδωκαν τὴν δόξαν σου
“‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti, baali mu ggye lyo, era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo ne bakuwa ekitiibwa.
11 υἱοὶ Αραδίων καὶ ἡ δύναμίς σου ἐπὶ τῶν τειχέων σου φύλακες ἐν τοῖς πύργοις σου ἦσαν τὰς φαρέτρας αὐτῶν ἐκρέμασαν ἐπὶ τῶν ὅρμων σου κύκλῳ οὗτοι ἐτελείωσάν σου τὸ κάλλος
Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna; abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo, era be baakulabisanga obulungi.
12 Καρχηδόνιοι ἔμποροί σου ἀπὸ πλήθους πάσης ἰσχύος σου ἀργύριον καὶ χρυσίον καὶ σίδηρον καὶ κασσίτερον καὶ μόλυβον ἔδωκαν τὴν ἀγοράν σου
“‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.
13 ἡ Ἑλλὰς καὶ ἡ σύμπασα καὶ τὰ παρατείνοντα οὗτοι ἐνεπορεύοντό σοι ἐν ψυχαῖς ἀνθρώπων καὶ σκεύη χαλκᾶ ἔδωκαν τὴν ἐμπορίαν σου
“‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.
14 ἐξ οἴκου Θεργαμα ἵππους καὶ ἱππεῖς ἔδωκαν ἀγοράν σου
“‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.
15 υἱοὶ Ῥοδίων ἔμποροί σου ἀπὸ νήσων ἐπλήθυναν τὴν ἐμπορίαν σου ὀδόντας ἐλεφαντίνους καὶ τοῖς εἰσαγομένοις ἀντεδίδους τοὺς μισθούς σου
“‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.
16 ἀνθρώπους ἐμπορίαν σου ἀπὸ πλήθους τοῦ συμμίκτου σου στακτὴν καὶ ποικίλματα ἐκ Θαρσις καὶ Ραμωθ καὶ Χορχορ ἔδωκαν τὴν ἀγοράν σου
“‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.
17 Ιουδας καὶ οἱ υἱοὶ τοῦ Ισραηλ οὗτοι ἔμποροί σου ἐν σίτου πράσει καὶ μύρων καὶ κασίας καὶ πρῶτον μέλι καὶ ἔλαιον καὶ ῥητίνην ἔδωκαν εἰς τὸν σύμμικτόν σου
“‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.
18 Δαμασκὸς ἔμπορός σου ἐκ πλήθους πάσης δυνάμεώς σου οἶνος ἐκ Χελβων καὶ ἔρια ἐκ Μιλήτου
“‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari.
19 καὶ οἶνον εἰς τὴν ἀγοράν σου ἔδωκαν ἐξ Ασηλ σίδηρος εἰργασμένος καὶ τροχὸς ἐν τῷ συμμίκτῳ σού ἐστιν
Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.
20 Δαιδαν ἔμποροί σου μετὰ κτηνῶν ἐκλεκτῶν εἰς ἅρματα
“‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.
21 ἡ Ἀραβία καὶ πάντες οἱ ἄρχοντες Κηδαρ οὗτοι ἔμποροί σου διὰ χειρός σου καμήλους καὶ κριοὺς καὶ ἀμνοὺς ἐν οἷς ἐμπορεύονταί σε
“‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.
22 ἔμποροι Σαβα καὶ Ραγμα οὗτοι ἔμποροί σου μετὰ πρώτων ἡδυσμάτων καὶ λίθων χρηστῶν καὶ χρυσίον ἔδωκαν τὴν ἀγοράν σου
“‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.
23 Χαρραν καὶ Χαννα οὗτοι ἔμποροί σου Ασσουρ καὶ Χαρμαν ἔμποροί σου
“‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe.
24 φέροντες ἐμπορίαν ὑάκινθον καὶ θησαυροὺς ἐκλεκτοὺς δεδεμένους σχοινίοις καὶ κυπαρίσσινα
Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.
25 πλοῖα ἐν αὐτοῖς Καρχηδόνιοι ἔμποροί σου ἐν τῷ πλήθει ἐν τῷ συμμίκτῳ σου καὶ ἐνεπλήσθης καὶ ἐβαρύνθης σφόδρα ἐν καρδίᾳ θαλάσσης
“‘Ebyombo eby’e Talusiisi bye byatambuzanga ebyamaguzi byo. Era wajjula n’oba n’ebintu bingi wakati mu nnyanja.
26 ἐν ὕδατι πολλῷ ἦγόν σε οἱ κωπηλάται σου τὸ πνεῦμα τοῦ νότου συνέτριψέν σε ἐν καρδίᾳ θαλάσσης
Abakubi b’enkasi bakutwala awali amayengo amangi. Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera wakati mu nnyanja.
27 ἦσαν δυνάμεις σου καὶ ὁ μισθός σου καὶ τῶν συμμίκτων σου καὶ οἱ κωπηλάται σου καὶ οἱ κυβερνῆταί σου καὶ οἱ σύμβουλοί σου καὶ οἱ σύμμικτοί σου ἐκ τῶν συμμίκτων σου καὶ πάντες οἱ ἄνδρες οἱ πολεμισταί σου οἱ ἐν σοὶ καὶ πᾶσα ἡ συναγωγή σου ἐν μέσῳ σου πεσοῦνται ἐν καρδίᾳ θαλάσσης ἐν τῇ ἡμέρᾳ τῆς πτώσεώς σου
Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo, n’abalunnyanja bo, n’abagoba bo, n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna na buli muntu ali ku kyombo balibbira wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
28 πρὸς τὴν φωνὴν τῆς κραυγῆς σου οἱ κυβερνῆταί σου φόβῳ φοβηθήσονται
Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo, kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
29 καὶ καταβήσονται ἀπὸ τῶν πλοίων πάντες οἱ κωπηλάται σου καὶ οἱ ἐπιβάται καὶ οἱ πρωρεῖς τῆς θαλάσσης ἐπὶ τὴν γῆν στήσονται
Abakubi b’enkasi bonna balyabulira ebyombo byabwe; n’abagoba n’abalunnyanja bonna baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
30 καὶ ἀλαλάξουσιν ἐπὶ σὲ τῇ φωνῇ αὐτῶν καὶ κεκράξονται πικρὸν καὶ ἐπιθήσουσιν ἐπὶ τὴν κεφαλὴν αὐτῶν γῆν καὶ σποδὸν ὑποστρώσονται
Baliyimusa amaloboozi gaabwe ne bakukaabira nnyo; era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe ne beevulunga mu vvu.
Balikumwera emitwe gyabwe, era Balyambala ebibukutu. Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
32 καὶ λήμψονται οἱ υἱοὶ αὐτῶν ἐπὶ σὲ θρῆνον καὶ θρήνημά σοι
Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe nga boogera nti, Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo eyeetooloddwa ennyanja?
33 πόσον τινὰ εὗρες μισθὸν ἀπὸ τῆς θαλάσσης ἐνέπλησας ἔθνη ἀπὸ τοῦ πλήθους σου καὶ ἀπὸ τοῦ συμμίκτου σου ἐπλούτισας πάντας βασιλεῖς τῆς γῆς
Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja, amawanga mangi gamalibwanga; era ne bakabaka b’ensi baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
34 νῦν συνετρίβης ἐν θαλάσσῃ ἐν βάθει ὕδατος ὁ σύμμικτός σου καὶ πᾶσα ἡ συναγωγή σου ἐν μέσῳ σου ἔπεσον πάντες οἱ κωπηλάται σου
Kaakano ennyanja ekumazeewo, mu buziba bw’amazzi; ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo bonna babbidde naawe.
35 πάντες οἱ κατοικοῦντες τὰς νήσους ἐστύγνασαν ἐπὶ σέ καὶ οἱ βασιλεῖς αὐτῶν ἐκστάσει ἐξέστησαν καὶ ἐδάκρυσεν τὸ πρόσωπον αὐτῶν
Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja bafunye ensisi, era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
36 ἔμποροι ἀπὸ ἐθνῶν ἐσύρισάν σε ἀπώλεια ἐγένου καὶ οὐκέτι ἔσῃ εἰς τὸν αἰῶνα
Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa; otuuse ku nkomerero embi, so tolibeerawo nate ennaku zonna.’”

< Ἰεζεκιήλ 27 >