< Jeremia 47 >
1 (Dies ist) das Wort des HERRN, das an den Propheten Jeremia in betreff der Philister ergangen ist, bevor der Pharao Gaza erobert hatte:
Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:
2 So hat der HERR gesprochen: Sehet, Wasser fluten heran von Norden her und werden zu einem überwallenden Wildbach! Sie überschwemmen das Land und alles, was darin ist, die Städte samt ihren Bewohnern, so daß die Menschen laut schreien und alle Bewohner des Landes heulen!
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono, galifuuka omugga ogwanjaala. Galyanjaala ku nsi ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu. Abantu balikaaba; bonna abali mu nsi baliwowoggana.
3 Vor dem dröhnenden Hufschlag seiner Hengste, vor dem Rasseln seiner Kriegswagen, dem Rollen seiner Räder wenden Väter sich nicht nach ihren Kindern um, weil die Angst ihre Arme lähmt;
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe era n’okuwuuma kwa nnamuziga, bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe, emikono gyabwe gya kulebera.
4 denn der Tag ist gekommen, der allen Philistern den Untergang bringt und für Tyrus und Sidon den letzten Helfer ausrottet, der noch übriggeblieben ist; denn der HERR will die Philister vernichten, die Abkömmlinge der von der Insel Kaphtor Gekommenen.
Kubanga olunaku lutuuse okuzikiriza Abafirisuuti bonna, n’okusalako bonna abandisigaddewo abandiyambye Ttuulo ne Sidoni. Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
5 Gaza hat sich kahl geschoren, zerstört ist Askalon; o Überrest der Enakiter, wie lange wirst du dich noch blutig ritzen müssen!
Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga. Asukulooni alisirisibwa. Ggwe eyasigala mu kiwonvu, olituusa ddi okwesalaasala?
6 Wehe, Schwert des HERRN! Wann wirst du endlich zur Ruhe kommen? Fahre in deine Scheide zurück, mache ein Ende und halte dich still!
“‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba, obudde bunaatuuka ddi owummule? Ddayo mu kiraato kyo sirika teweenyeenya.’
7 Aber wie sollte es zur Ruhe kommen, da doch der HERR es entboten hat? Gegen Askalon und gegen das ganze Gestade des Meeres, dorthin hat er es beordert!
Naye kiyinza kitya okuwummula nga Mukama y’akiragidde, ng’akiragidde okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”