< 2 Rois 1 >

1 Or, après la mort d’Achab, Moab se révolta contre Israël.
Awo Akabu ng’amaze okufa, ab’omu nsi ya Mowaabu ne bajeemera Abayisirayiri.
2 Et Ochozias tomba par la fenêtre de sa chambre haute qu’il avait à Samarie, et il fut malade, et il envoya des messagers, leur disant: Allez, consultez Béelzébub, le dieu d’Accaron, pour savoir si je pourrai réchapper de cette maladie.
Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona.
3 Mais un ange du Seigneur parla à Élie, le Thesbite, disant: Lève-toi, et monte à la rencontre des messagers du roi de Samarie, et tu leurs diras: Est-ce qu’il n’y a pas un Dieu dans Israël, pour que vous alliez consulter Béelzébub, le dieu d’Accaron?
Malayika wa Mukama n’ajja eri Eriya Omutisubi n’amugamba nti, “Golokoka, ogende osisinkane ababaka ba kabaka w’e Samaliya, obabuuze nti, ‘Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?’
4 C’est pourquoi voici ce que dit le Seigneur: Tu ne descendras point du lit sur lequel tu es monté; mais tu mourras de mort. Et Élie s’en alla.
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, toliwona bulwadde bwo, naye ogenda kufa.” Eriya bwe yamala okwogera ebyo n’agenda.
5 Et les messagers revinrent vers Ochozias. Il leur dit: Pourquoi êtes-vous revenus?
Oluvannyuma lw’ebyo, ababaka kabaka be yatuma ne baddayo eri kabaka, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakomezaawo amangu?”
6 Mais eux lui répondirent: Un homme est venu à notre rencontre, et nous a dit: Allez, et retournez vers le roi qui vous a envoyés, et vous lui direz: Voici ce que dit le Seigneur: Est-ce parce qu’il n’y a pas un Dieu dans Israël, que tu envoies pour que soit consulté Béelzébub, le dieu d’Accaron? C’est pourquoi tu ne descendras point du lit sur lequel tu es monté; mais tu mourras de mort.
Ne bamuddamu nti, “Waliwo omusajja eyatusisinkanye mu kkubo n’atugamba nti, ‘Muddeyo eri kabaka mumugambe nti olw’okugenda eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, n’otogenda kwebuuza ku Katonda wa Isirayiri, togenda kuva ku kitanda ekyo era togenda kuwona bulwadde obwo wabula ogenda kufa.’”
7 Le roi leur demanda: Quelle figure et quel vêtement a cet homme qui est venu à votre rencontre, et qui vous a dit ces paroles?
N’ababuuza nti, “Omusajja oyo gwe musisinkanye abadde afaanana atya?”
8 Et ceux-ci lui répondirent: C’est un homme couvert de poil, et ceint sur les reins d’une ceinture de peau. Le roi dit: C’est Élie, le Thesbite.
Ne bamuddamu nti, “Abadde ayambadde ekyambalo kya bwoya, nga yeesibye n’olukoba lwa bwoya.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo yandiba Eriya Omutisubi.”
9 Et il envoya vers lui un chef de cinquante soldats, et les cinquante soldats qui étaient sous lui. Ce chef monta vers Élie, et il lui dit pendant qu’il était sur le sommet de la montagne: Homme de Dieu, le roi commande que vous descendiez.
Awo kabaka n’atuma omukulu eyali akulira ekibinja ky’abasajja amakumi ataano n’abasajja be eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya, yamusanga atudde ku ntikko eya kasozi, n’amugamba nti, “Musajja wa Katonda, kabaka akwetaaga.”
10 Et répondant, Élie dit au chef des cinquante soldats: Si je suis homme de Dieu, qu’il descende un feu du ciel, et qu’il te dévore, toi et tes cinquante. C’est pourquoi il descendit un feu du ciel, et il le dévora, lui et les cinquante qui étaient avec lui.
Eriya n’addamu omukulu w’ekibinja nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo!” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.
11 Et de nouveau le roi lui envoya un autre chef de cinquante soldats, et cinquante soldats avec lui. Celui-ci dit à Élie: Homme de Dieu, voici ce que dit le roi: Hâte-toi, descends.
Kabaka bwe yawulira ebyo n’atuma omukulu omulala n’ekibinja kye eky’amakumi ataano eri Eriya. Omukulu oyo eyatumibwa n’agamba Eriya nti, “Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akuyita mangu.”p
12 Et répondant, Élie dit: Si moi je suis homme de Dieu, qu’il descende un feu du ciel, et qu’il te dévore, toi et tes cinquante. Il descendit donc un feu du ciel, et il le dévora, lui et ses cinquante.
Eriya n’amuddamu nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, kale omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo.” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.
13 Il envoya encore un troisième chef de cinquante soldats, et les cinquante soldats qui étaient avec lui. Celui-ci, étant venu devant Élie, fléchit les genoux, l’implora, et dit: Homme de Dieu, ne dédaignez point mon âme et les âmes de vos serviteurs qui sont avec moi.
Naye kabaka teyakoma ku abo, n’amutumira omukulu owookusatu ow’ekibinja ekirala eky’amakumi ataano, n’agenda eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya n’afukamira mu maaso ge, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda nkwegayiridde, onsasire, nneme okufa.
14 Voilà qu’il est descendu un feu du ciel, et il a dévoré les deux premiers chefs de cinquante soldats et les cinquante soldats qui étaient avec chacun d’eux; mais maintenant je vous conjure d’avoir pitié de mon âme.
Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulu bombi n’ebibinja byabwe, naye kaakano osaasire obulamu bwange.”
15 Or l’ange du Seigneur parla à Élie, disant: Descends avec lui, ne crains point. Il se leva donc, et descendit avec lui vers le roi,
Awo malayika wa Mukama n’agamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya n’asituka n’aserengeta n’omubaka wa kabaka eri kabaka.
16 Et il lui dit: Voici ce que dit le Seigneur: Parce que tu as envoyé des messagers pour consulter Béelzébub, le dieu d’Accaron, comme s’il n’y avait pas un Dieu dans Israël que tu pusses consulter, tu ne te lèveras point du lit sur lequel tu es monté, mais tu mourras de mort.
Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.”
17 Il mourut donc, selon la parole du Seigneur qu’avait dite Élie. Et Joram, son frère, régna en sa place, la seconde année de Joram, fils de Josaphat, roi de Juda: car Ochozias n’avait point de fils.
N’afa, ng’ekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali. Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda.
18 Mais le reste des actions qu’Ochozias a faites, n’est-il pas écrit dans le Livre des actions des jours des rois d’Israël?
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Akaziya ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

< 2 Rois 1 >