< Jonas 2 >

1 Alors Jonas fit une prière à l'Éternel son Dieu, dans le corps du poisson, et il dit:
Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba
2 Dans mon angoisse j'invoque l'Éternel et Il m'exauce; du sein des Enfers je crie, tu, entends ma voix. (Sheol h7585)
nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange! (Sheol h7585)
3 Tu me jettes dans l'abîme, au cœur de la mer, et les flots m'environnent, toutes tes vagues et tes ondes passent sur moi.
Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja, ne nzika, amayengo gonna, ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta ne bimbikka ne binneetooloola.
4 Mais je dis: Je suis repoussé loin de ton regard! Cependant je reverrai ton saint temple!
Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5 Les eaux pénètrent jusques à mon âme, l'abîme m'enserre, l'algue s'attache à ma tête.
Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi; Amazzi nga ganneetoolodde era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
6 Jusqu'à la base des montagnes je suis descendu, les barrières de la terre se sont fermées derrière moi pour toujours; et tu retires ma vie du tombeau, Éternel, mon Dieu!
Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo, ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe. Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya, Ayi Mukama Katonda wange.
7 Quand en moi-même mon âme est défaillante, je me souviens de l'Éternel, et ma, prière parvient jusqu'à toi, jusqu'à ton saint temple.
“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu.
8 Les adorateurs des vanités, du néant, abandonnent leur bienfaiteur;
“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9 mais moi, je veux avec chants de louanges t'offrir des sacrifices et accomplir les vœux que j'ai faits. Le salut vient de l'Éternel!
Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
10 Et l'Éternel commanda au poisson, et il vomit Jonas sur la terre.
Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.

< Jonas 2 >