< Isaïe 50 >

1 Ainsi a dit l'Éternel: Où est la lettre de divorce de votre mère, par laquelle je l'ai renvoyée? Ou qui est celui de mes créanciers auquel je vous ai vendus? Voici, c'est pour vos iniquités que vous avez été vendus, c'est pour vos rébellions que votre mère a été renvoyée.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa? Oba nabatunda eri ani? Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi; olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
2 Pourquoi n'ai-je trouvé personne, quand je suis venu? Pourquoi nul n'a-t-il répondu, quand j'ai appelé? Ma main est-elle devenue trop courte pour délivrer, ou n'y a-t-il plus de force en moi pour sauver? Voici, je fais tarir la mer quand je la menace; je change les fleuves en désert; leurs poissons se corrompent faute d'eau, et ils meurent de soif.
Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu? Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula? Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula? Mbuliddwa amaanyi agakununula? Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira, emigga ne ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta, ne bivunda olw’okubulwa amazzi.
3 Je revêts les cieux de ténèbres, et j'y mets un manteau de deuil pour couverture.
Nyambaza eggulu, n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”
4 Le Seigneur, l'Éternel m'a donné une langue exercée, pour soutenir par la parole celui qui est abattu; il éveille, chaque matin, il éveille mon oreille pour écouter, comme écoutent les disciples.
Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye. Anzukusa buli nkya, buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
5 Le Seigneur, l'Éternel m'a ouvert l'oreille, et je n'ai point résisté, je ne me suis point retiré en arrière.
Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange ne siba mujeemu. Sizzeeyo mabega.
6 J'ai présenté mon dos à ceux qui me frappaient, mes joues à ceux qui m'arrachaient la barbe; je n'ai pas dérobé mon visage aux outrages ni aux crachats.
N’awaayo omugongo gwange eri abankuba, n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu. Saakweka maaso gange eri abo abansekerera n’eri abo abanfujjira amalusu.
7 Mais le Seigneur, l'Éternel est mon aide; aussi je n'ai point eu de honte; aussi j'ai rendu mon visage semblable à un caillou; je sais que je ne serai pas confondu.
Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba kyennaava siswazibwa. Noolwekyo kyenvudde n’egumya era mmanyi nti siriswazibwa.
8 Celui qui me justifie est proche: qui plaidera contre moi? Comparais-sons ensemble! Qui est ma partie adverse? Qu'il s'approche de moi!
Kubanga oyo ampolereza ali kumpi. Ani alinnumiriza omusango? Twolekagane obwenyi. Ani annumiriza? Ajje annumbe.
9 Voici, le Seigneur, l'Éternel est mon aide: qui me condamnera? Voici, ils s'useront tous comme un vêtement, la teigne les dévorera.
Mukama Ayinzabyonna y’anyamba. Ani alinsalira omusango? Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo; ennyenje ziribalya.
10 Qui d'entre vous craint l'Éternel, qui écoute la voix de son serviteur? Que celui qui marche dans les ténèbres, et qui n'a point de lumière, se confie au nom de l'Éternel, et qu'il s'appuie sur son Dieu.
Ani ku mmwe atya Mukama, agondera ekigambo ky’omuweereza we? Oyo atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala yeesige erinnya lya Mukama era yeesigame ku Katonda we.
11 Voici, vous tous qui allumez un feu et qui vous armez de flambeaux, tombez dans les flammes de votre feu et des flambeaux que vous avez allumés! C'est de ma main que vous vient cela: vous serez gisants dans les tourments!
Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro, ne mwekoleereza ettaala z’omuliro, mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe, ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza. Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange; muligalamira mu nnaku.

< Isaïe 50 >