< Genèse 29 >
1 Puis Jacob se mit en chemin, et s'en alla au pays des Orientaux.
Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba.
2 Et il regarda; et voici, il vit un puits dans les champs, et là même trois troupeaux de brebis couchés auprès; car on y abreuvait les troupeaux. Et la pierre qui couvrait l'ouverture du puits était grande.
Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene,
3 Tous les troupeaux se rassemblaient là; alors on roulait la pierre de dessus l'ouverture du puits, et on abreuvait les troupeaux; ensuite on remettait la pierre à sa place, sur l'ouverture du puits.
era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.
4 Et Jacob dit aux bergers: Mes frères, d'où êtes-vous? Et ils répondirent: Nous sommes de Charan.
Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
5 Et il leur dit: Connaissez-vous Laban, fils de Nachor? Et ils répondirent: Nous le connaissons.
Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
6 Il leur dit: Se porte-t-il bien? Ils lui répondirent: Il se porte bien; et voici Rachel, sa fille, qui vient avec le troupeau.
N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”
7 Et il dit: Voici, il est encore grand jour; il n'est pas temps de rassembler le bétail; abreuvez les brebis, et allez les paître.
N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”
8 Ils répondirent: Nous ne pouvons pas, jusqu'à ce que tous les troupeaux soient rassemblés; alors on roule la pierre de dessus l'ouverture du puits, et nous abreuvons les troupeaux.
Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”
9 Comme il parlait encore avec eux, Rachel arriva avec le troupeau de son père; car elle était bergère.
Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda.
10 Et dès que Jacob vit Rachel, fille de Laban, frère de sa mère, et le troupeau de Laban, frère de sa mère, il s'approcha, roula la pierre de dessus l'ouverture du puits, et abreuva le troupeau de Laban, frère de sa mère.
Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani.
11 Et Jacob baisa Rachel; et, élevant la voix, il pleura.
Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
12 Et Jacob apprit à Rachel qu'il était parent de son père, et qu'il était fils de Rébecca; et elle courut le rapporter à son père.
Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.
13 Et aussitôt que Laban entendit parler de Jacob, fils de sa sœur, il courut au-devant de lui, l'embrassa, et le baisa, et le fit venir dans sa maison; et il raconta à Laban toutes ces choses.
Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo.
14 Et Laban lui dit: Certainement, tu es mon os et ma chair; et il demeura avec lui un mois de temps.
Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.”
15 Puis Laban dit à Jacob: Parce que tu es mon frère, me serviras-tu pour rien? Dis-moi quel sera ton salaire.
Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”
16 Or, Laban avait deux filles, dont l'aînée s'appelait Léa, et la plus jeune Rachel.
Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri.
17 Mais Léa avait les yeux délicats, et Rachel était belle de taille, et belle de visage.
Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi.
18 Et Jacob aimait Rachel; et il dit: Je te servirai sept ans pour Rachel, ta plus jeune fille.
Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”
19 Et Laban répondit: Il vaut mieux que je te la donne que si je la donnais à un autre; demeure avec moi.
Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.”
20 Jacob servit donc sept ans pour Rachel; et ils ne lui semblèrent que quelques jours, parce qu'il l'aimait.
Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.
21 Et Jacob dit à Laban: Donne-moi ma femme; car mon temps est accompli, et je viendrai vers elle.
Awo Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.”
22 Alors Laban rassembla tous les gens du lieu, et fit un festin.
Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu b’ekifo ekyo, n’akola embaga.
23 Et le soir il prit Léa, sa fille, et l'amena à Jacob, qui vint vers elle.
Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.
24 Et Laban donna sa servante Zilpa pour servante à Léa, sa fille.
Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga.
25 Et le matin, voici, c'était Léa; et Jacob dit à Laban: Qu'est-ce que tu m'as fait? N'est-ce pas pour Rachel que j'ai servi chez toi? Et pourquoi m'as-tu trompé?
Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?”
26 Laban répondit: On ne fait pas ainsi dans ce lieu, de donner la plus jeune avant l'aînée.
Labbaani n’amuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa.
27 Achève la semaine de celle-ci, et nous te donnerons aussi l'autre, pour le service que tu feras encore chez moi sept autres années.
Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.”
28 Et Jacob fit ainsi, il acheva la semaine de celle-ci; puis Laban lui donna pour femme Rachel, sa fille.
Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we.
29 Et Laban donna sa servante Bilha pour servante à Rachel, sa fille.
Labbaani n’awa Laakeeri Biira amuweerezenga.
30 Il vint donc aussi vers Rachel, et il aima Rachel plus que Léa, et il servit chez Laban encore sept autres années.
Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.
31 Et l'Éternel, voyant que Léa était haïe, la rendit féconde; mais Rachel était stérile.
Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba.
32 Et Léa conçut et enfanta un fils, qu'elle appela Ruben (voyez un fils! ). Car elle dit: L'Éternel a regardé mon affliction; maintenant mon mari m'aimera.
Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”
33 Elle conçut encore, et enfanta un fils, et dit: L'Éternel a entendu que j'étais haïe, et il m'a encore donné celui-ci; et elle l'appela Siméon (exaucement).
N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.”
34 Elle conçut encore, et enfanta un fils, et dit: Pour cette fois, mon mari s'attachera à moi; car je lui ai enfanté trois fils; c'est pourquoi on l'appela Lévi (attachement).
Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.
35 Elle conçut encore et enfanta un fils, et dit: Cette fois je louerai l'Éternel; c'est pourquoi elle l'appela Juda (louange). Et elle cessa d'avoir des enfants.
Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.