< 2 Chroniques 3 >
1 Salomon commença donc à bâtir la maison de l'Éternel à Jérusalem, sur la montagne de Morija, qui avait été indiquée à David, son père, au lieu même que David avait préparé dans l'aire d'Ornan, le Jébusien.
Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
2 Il commença à bâtir, le second jour du second mois, la quatrième année de son règne.
Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe.
3 Or voici la base fixée par Salomon pour bâtir la maison de Dieu: La longueur, en coudées de l'ancienne mesure, était de soixante coudées, et la largeur de vingt coudées.
Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda.
4 Le portique, qui était sur le devant, et dont la longueur répondait à la largeur de la maison, avait vingt coudées, et cent vingt de hauteur. Il le revêtit intérieurement d'or pur.
Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu.
5 Et il couvrit la grande maison de bois de cyprès; il la revêtit d'or fin, et y fit mettre des palmes et des chaînettes.
Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu.
6 Il revêtit la maison de pierres précieuses, pour l'ornement; et l'or était de l'or de Parvaïm.
N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu.
7 Il revêtit d'or la maison, les poutres, les seuils, les parois et les portes; et il sculpta des chérubins sur les parois.
Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge.
8 Il fit le lieu très-saint, dont la longueur était de vingt coudées, selon la largeur de la maison, et la largeur de vingt coudées; et il le couvrit d'or fin, se montant à six cents talents.
N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu.
9 Et le poids des clous montait à cinquante sicles d'or. Il revêtit aussi d'or les chambres hautes.
Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.
10 Il fit deux chérubins dans le lieu très-saint, en travail de sculpture, et on les couvrit d'or;
Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu.
11 La longueur des ailes des chérubins était de vingt coudées; l'aile de l'un, longue de cinq coudées, touchait à la paroi de la maison, et l'autre aile, longue de cinq coudées, touchait à l'aile de l'autre chérubin.
Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala.
12 Et l'aile de l'autre chérubin, longue de cinq coudées, touchait la paroi de la maison; et l'autre aile, longue de cinq coudées, joignait l'aile de l'autre chérubin.
N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala.
13 Les ailes de ces chérubins avaient une étendue de vingt coudées; ils se tenaient debout sur leurs pieds, leur face tournée vers la maison.
Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye.
14 Il fit le voile de pourpre, d'écarlate, de cramoisi et de fin lin; et il mit dessus des chérubins.
N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi.
15 Devant la maison il fit deux colonnes, de trente-cinq coudées de hauteur; et le chapiteau qui les surmontait, était de cinq coudées.
Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu.
16 Il fit des chaînettes dans le sanctuaire; et il en mit sur le sommet des colonnes; et il fit cent grenades qu'il mit aux chaînettes.
N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo.
17 Il dressa les colonnes sur le devant du temple, l'une à droite, et l'autre à gauche; il appela celle de droite Jakin (il a fondé), et celle de gauche Boaz (en lui la force).
N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini, n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi.