< Jean 5 >
1 Après ces choses il y avait une fête des Juifs, et Jésus monta à Jérusalem.
Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya.
2 Or il y a à Jérusalem, au marché aux brebis, un lavoir appelé en Hébreu Béthesda ayant cinq portiques;
Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola.
3 Dans lesquels gisait un grand nombre de malades, d'aveugles, de boiteux, [et de gens] qui avaient les membres secs, attendant le mouvement de l'eau.
Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye.
4 Car un Ange descendait en certains temps au lavoir, et troublait l'eau; et alors le premier qui descendait au lavoir après que l'eau en avait été troublée, était guéri, de quelque maladie qu'il fût détenu.
Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa.
5 Or il y avait là un homme malade depuis trente-huit ans.
Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana.
6 [Et] Jésus le voyant couché par terre, et connaissant qu'il avait déjà été là longtemps, lui dit: veux-tu être guéri?
Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
7 Le malade lui répondit: Seigneur, je n'ai personne qui me jette au lavoir quand l'eau est troublée, et pendant que j'y viens, un autre y descend avant moi.
Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”
8 Jésus lui dit: lève-toi, charge ton petit lit, et marche.
Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.”
9 Et sur-le-champ l'homme fut guéri, et chargea son petit lit, et il marchait. Or c'était [un jour] de Sabbat.
Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira. Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.
10 Les Juifs donc dirent à celui qui avait été guéri: c'est [un jour] de Sabbat, il ne t'est pas permis de charger ton petit lit.
Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”
11 Il leur répondit: celui qui m'a guéri m'a dit: charge ton petit lit, et marche.
Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’”
12 Alors ils lui demandèrent: qui est celui qui t'a dit: charge ton petit lit, et marche?
Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”
13 Mais celui qui avait été guéri ne savait pas qui c'était: car Jésus s'était éclipsé du milieu de la foule qui était en ce lieu-là.
Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14 Depuis, Jésus le trouva au Temple, et lui dit: voici, tu as été guéri; ne pèche plus désormais, de peur que pis ne t'arrive.
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”
15 Cet homme s'en alla, et rapporta aux Juifs que c'était Jésus qui l'avait guéri.
Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16 C'est pourquoi les Juifs poursuivaient Jésus, et cherchaient à le faire mourir, parce qu'il avait fait ces choses [le jour du] Sabbat.
Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti.
17 Mais Jésus leur répondit: mon Père travaille jusqu'à maintenant, et je travaille aussi.
Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.”
18 Et à cause de cela les Juifs tâchaient encore plus de le faire mourir, parce que non seulement il avait violé le Sabbat, mais aussi parce qu'il disait que Dieu était son propre Père, se faisant égal à Dieu.
Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.
19 Mais Jésus répondit, et leur dit: en vérité, en vérité je vous dis, que le Fils ne peut rien faire de soi-même, sinon qu'il le voie faire au Père: car quelque chose que le Père fasse, le Fils aussi le fait de même.
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola.
20 Car le Père aime le Fils, et lui montre toutes les choses qu'il fait; et il lui montrera de plus grandes œuvres que celle-ci, afin que vous en soyez dans l'admiration.
Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino.
21 Car comme le Père ressuscite les morts et les vivifie, de même aussi le Fils vivifie ceux qu'il veut.
Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala.
22 Car le Père ne juge personne; mais il a donné tout jugement au Fils;
Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we,
23 Afin que tous honorent le Fils, comme ils honorent le Père; celui qui n'honore point le Fils, n'honore point le Père qui l'a envoyé.
abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
24 En vérité, en vérité je vous dis: que celui qui entend ma parole, et croit à celui qui m'a envoyé, a la vie éternelle, et il ne sera point exposé à la condamnation, mais il est passé de la mort à la vie. (aiōnios )
“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. (aiōnios )
25 En vérité, en vérité je vous dis: que l'heure vient, et elle est même déjà [venue], que les morts entendront la voix du Fils de Dieu, et ceux qui l'auront entendue, vivront.
Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.
26 Car comme le Père a la vie en soi même, ainsi il a donné au Fils d'avoir la vie en soi-même.
Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye,
27 Et il lui a donné le pouvoir de juger parce qu'il est le Fils de l'homme.
era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.
28 Ne soyez point étonnés de cela: car l'heure viendra, en laquelle tous ceux qui sont dans les sépulcres entendront sa voix.
“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye
29 Et ils sortiront, savoir ceux qui auront bien fait, en résurrection de vie; et ceux qui auront mal fait, en résurrection de condamnation.
ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.
30 Je ne puis rien faire de moi-même: je juge conformément à ce que j'entends, et mon jugement est juste; car je ne cherche point ma volonté, mais la volonté du Père qui m'a envoyé.
Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.
31 Si je rends témoignage de moi-même, mon témoignage n'est pas digne de foi.
Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima.
32 C'est un autre qui rend témoignage de moi, et je sais que le témoignage qu'il rend de moi est digne de foi.
Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.
33 Vous avez envoyé vers Jean, et il a rendu témoignage à la vérité.
“Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima.
34 Or je ne cherche point le témoignage des hommes; mais je dis ces choses afin que vous soyez sauvés.
Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe.
35 Il était une lampe ardente et brillante; et vous avez voulu vous réjouir pour un peu de temps en sa lumière.
Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.
36 Mais moi j'ai un témoignage plus grand que celui de Jean; car les œuvres que mon Père m'a données pour les accomplir, ces œuvres mêmes que je fais, témoignent de moi que mon Père m'a envoyé.
“Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma
37 Et le Père qui m'a envoyé, a lui-même rendu témoignage de moi; jamais vous n'ouîtes sa voix, ni ne vîtes sa face.
ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye.
38 Et vous n'avez point sa parole demeurante en vous; puisque vous ne croyez point à celui qu'il a envoyé.
N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.
39 Enquérez-vous diligemment des Ecritures: car vous estimez avoir par elles la vie éternelle, et ce sont elles qui portent témoignage de moi. (aiōnios )
Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. (aiōnios )
40 Mais vous ne voulez point venir à moi, pour avoir la vie.
Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.
41 Je ne tire point ma gloire des hommes.
“Sinoonya kusiimibwa bantu.
42 Mais je connais bien que vous n'avez point l'amour de Dieu en vous.
Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda.
43 Je suis venu au Nom de mon Père, et vous ne me recevez point; si un autre vient en son propre nom, vous le recevrez.
Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza.
44 Comment pouvez-vous croire, puisque vous cherchez la gloire l'un de l'autre, et que vous ne cherchez point la gloire qui vient de Dieu seul?
Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?
45 Ne croyez point que je vous doive accuser envers mon Père; Moïse sur qui vous vous fondez, est celui qui vous accusera.
“Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi.
46 Car si vous croyiez Moïse, vous me croiriez aussi; vu qu'il a écrit de moi.
Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako.
47 Mais si vous ne croyez point à ses écrits, comment croirez-vous à mes paroles?
Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”