< Jacques 4 >

1 D'où viennent parmi vous les disputes et les querelles? n'est-ce point de vos voluptés, qui combattent dans vos membres?
Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala?
2 Vous convoitez, et vous n'avez point [ce que vous désirez]; vous avez une envie mortelle, vous êtes jaloux, et vous ne pouvez obtenir [ce que vous enviez]; vous vous querellez, et vous disputez, et vous n'avez point [ce que vous désirez], parce que vous ne le demandez point.
Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba.
3 Vous demandez, et vous ne recevez point; parce que vous demandez mal, [et] afin de l'employer dans vos voluptés.
Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.
4 Hommes et femmes adultères, ne savez-vous pas que l'amitié du monde est inimitié contre Dieu? celui donc qui voudra être ami du monde, se rend ennemi de Dieu.
Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda.
5 Pensez-vous que l'Ecriture parle en vain; l'Esprit qui a habité en nous, vous inspire-t-il l'envie?
Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”?
6 Il vous donne au contraire une plus grande grâce; c'est pourquoi [l'Ecriture] dit: Dieu résiste aux orgueilleux, mais il fait grâce aux humbles.
Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana n’ab’amalala naye abawombeefu abawa ekisa.”
7 Soumettez-vous donc à Dieu. Résistez au Démon, et il s'enfuira de vous.
Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.
8 Approchez-vous de Dieu, et il s'approchera de vous; pécheurs, nettoyez vos mains; et vous qui êtes doubles de cœur, purifiez vos cœurs.
Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.
9 Sentez vos misères, et lamentez, et pleurez; que votre ris se change en pleurs, et votre joie en tristesse.
Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala.
10 Humiliez-vous en la présence du Seigneur, et il vous élèvera.
Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11 Mes frères ne médisez point les uns des autres; celui qui médit de son frère, et qui condamne son frère, médit de la Loi, et condamne la Loi; or si tu condamnes la Loi, tu n'es point l'observateur de la Loi, mais le juge.
Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango.
12 Il n'y a qu'un seul Législateur, qui peut sauver et qui peut perdre; [mais] toi qui es-tu, qui condamnes les autres?
Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?
13 Or maintenant, vous qui dites: Allons aujourd'hui ou demain en une telle ville, et demeurons là un an, et y trafiquons et gagnons;
Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.”
14 (Qui toutefois ne savez pas ce qui arrivera le lendemain car qu'est-ce que votre vie? ce n'est certes qu'une vapeur qui parait pour un peu de temps, et qui ensuite s'évanouit; )
Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula.
15 Au lieu que vous deviez dire: si le Seigneur le veut, et si nous vivons, nous ferons ceci, ou cela.
Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.”
16 Mais maintenant vous vous vantez en vos pensées orgueilleuses; toute vanterie de cette nature est mauvaise.
Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda.
17 Il y a donc du péché en celui qui sait faire le bien, et qui ne le fait pas.
Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

< Jacques 4 >