< Jacques 2 >

1 Mes frères, n'ayez point la foi en notre Seigneur Jésus-Christ glorieux, en ayant égard à l'apparence des personnes.
Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu.
2 Car s'il entre dans votre assemblée un homme qui porte un anneau d'or, et qui soit vêtu de quelque précieux habit; et qu’il y entre aussi quelque pauvre, vêtu de quelque méchant habit;
Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse,
3 Et que vous ayez égard à celui qui porte l’habit précieux, et lui disiez: toi, assieds-toi ici honorablement; et que vous disiez au pauvre: toi, tiens-toi là debout; ou assieds-toi sur mon marche-pied;
ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,”
4 N'avez-vous pas fait différence en vous-mêmes, et n'êtes-vous pas des juges qui avez des pensées injustes?
kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?
5 Ecoutez, mes frères bien-aimés, Dieu n'a-t-il pas choisi les pauvres de ce monde, qui sont riches en la foi, et héritiers du Royaume qu'il a promis à ceux qui l'aiment?
Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?
6 Mais vous avez déshonoré le pauvre. Et cependant les riches ne vous oppriment-ils pas, et ne vous tirent-ils pas devant les Tribunaux?
Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka?
7 Et ne sont-ce pas eux qui blasphèment le bon Nom, qui a été invoqué sur vous?
Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
8 Que si vous accomplissez la Loi royale, qui est selon l'Ecriture, tu aimeras ton prochain comme toi-même; vous faites bien.
Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”
9 Mais si vous avez égard à l'apparence des personnes, vous commettez un péché, et vous êtes convaincus par la Loi comme des transgresseurs.
Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi.
10 Or quiconque aura gardé toute la Loi, s'il vient à pécher en un seul [point], il est coupable de tous.
Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna.
11 Car celui qui a dit: tu ne commettras point adultère, a dit aussi: tu ne tueras point. Si donc tu ne commets point adultère, mais que tu tues, tu es un transgresseur de la Loi.
Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.
12 Parlez et agissez comme devant être jugés par la Loi de la liberté.
Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa.
13 Car il y aura une condamnation sans miséricorde sur celui qui n'aura point usé de miséricorde; mais la miséricorde se met à l'abri de la condamnation.
Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.
14 Mes frères, que servira-t-il à quelqu'un s'il dit qu'il a la foi, et qu'il n'ait point les œuvres? la foi le pourra-t-elle sauver?
Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola?
15 Et si le frère ou la sœur sont nus, et manquent de ce qui leur est nécessaire chaque jour pour vivre,
Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya,
16 Et que quelqu'un d'entre vous leur dise: allez en paix, chauffez-vous, et vous rassasiez; et que vous ne leur donniez point les choses nécessaires pour le corps, que leur servira cela?
naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki?
17 De même aussi la foi, si elle n'a pas les œuvres, elle est morte en elle-même.
Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.
18 Mais quelqu'un dira: tu as la foi, et moi j'ai les œuvres. Montre-moi [donc] ta foi sans les œuvres, et moi je te montrerai ma foi par mes œuvres.
Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.”
19 Tu crois qu'il n'y a qu'un Dieu; tu fais bien; les Démons le croient aussi, et ils [en] tremblent.
Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!
20 Mais, ô homme vain! veux-tu savoir que la foi qui est sans les œuvres est morte?
Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa?
21 Abraham notre père ne fut-il pas justifié par les œuvres, quand il offrit son fils Isaac sur l'autel?
Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto?
22 Ne vois-tu [donc] pas que sa foi agissait avec ses œuvres, et que ce fut par ses œuvres, que sa foi fut rendue parfaite;
Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye,
23 Et qu'ainsi cette Ecriture fut accomplie, qui dit: Abraham a cru en Dieu, et cela lui a été imputé à justice; et il a été appelé ami de Dieu.
n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.”
24 Vous voyez donc que l'homme est justifié par les œuvres, et non par la foi seulement.
Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka.
25 Pareillement Rahab l'hospitalière, ne fut-elle pas justifiée par les œuvres, quand elle eut reçu les messagers, et qu'elle les eut mis dehors par un autre chemin?
Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya?
26 Car comme le corps sans esprit est mort, ainsi la foi qui est sans les œuvres est morte.
Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.

< Jacques 2 >