< Ézéchiel 41 >

1 Puis il me fit entrer vers le Temple, et il mesura des poteaux de six coudées de largeur d'un côté, et de six coudées de largeur de l'autre côté, qui est la largeur du Tabernacle.
Awo omusajja n’antwala ebweru wa yeekaalu Awatukuvu n’apima empagi ez’awayingirirwa mu kifo ekitukuvu, obugazi mita ssatu buli luuyi.
2 Ensuite il mesura la largeur de l'ouverture de [la porte] qui était de dix coudées, et les côtés de l'ouverture de cinq coudées, d'une part, et de cinq coudées de l'autre part. Puis il mesura dans [le Temple] une longueur de quarante coudées, et une largeur de vingt coudées.
Awayingirirwa waali obugazi mita ttaano, n’obugazi bw’empagi ez’oku luuyi olw’omunda zaali mita bbiri n’ekitundu eruuyi n’eruuyi. N’apima ebweru wa yeekaalu Awatukuvu nga wali mita amakumi abiri obuwanvu, n’obugazi mita kkumi.
3 Puis il entra vers le lieu qui était plus intérieur, et il mesura un poteau d'une ouverture [de porte] de deux coudées, et [la hauteur] de cette ouverture de six coudées, et la largeur de cette ouverture de sept coudées.
Oluvannyuma n’ayingira munda wa yeekaalu Awatukuvu w’Awatukuvu, n’apima empagi eziri awayingirirwa, buli emu obugazi mita emu. Omulyango gwali mita ssatu obugazi, n’ebisenge ebyayitangamu eruuyi n’eruuyi ku mulyango oguyingirirwamu mu Watukuvu w’Awatukuvu byali mita ssatu n’ekitundu obugazi.
4 Puis il mesura [au dedans] de cette [ouverture] une longueur de vingt coudées, et une largeur de vingt coudées sur le sol du Temple; et il me dit: C'est ici le lieu Très-saint.
N’apima Awatukuvu w’Awatukuvu nga wali mita kkumi obuwanvu, n’obugazi mita kkumi. N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu.”
5 Puis il mesura [l'épaisseur] de la muraille du Temple, [qui fut] de six coudées, et la largeur des chambres qui étaient tout autour du Temple, de quatre coudées.
N’apima ekisenge ekya yeekaalu, ng’omubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge eky’ebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri.
6 Or quant à ces chambres, il y en avait trois l'une sur l'autre, tellement qu'il y en avait trente, ainsi rangées, desquelles les soliveaux entraient dans une muraille qui touchait à la muraille du Temple, [et qui avait été ajoutée] tout à l'entour, afin que les soliveaux de ces chambres y fussent appuyés, et qu'ils ne portassent point sur la muraille du Temple.
Ebisenge eby’ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng’empagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu.
7 Or il y avait une largeur et un circuit [autour du Temple], beaucoup plus haut que les chambres, car cette muraille, par le moyen de laquelle on montait tout autour du Temple, était beaucoup plus haute tout à l'entour du Temple, et ainsi elle était cause que le Temple était plus large en haut qu'en bas, et par ce moyen on montait de l'étage d'en bas à celui qui [était] au-dessus de l'étage du milieu.
Ebisenge eby’ebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati.
8 Je vis aussi vers le Temple tout à l'entour une hauteur qui était [comme] les fondements des chambres, laquelle avait une grande canne, [c'est-à-dire], six coudées de celles qui vont jusqu'à l'aisselle.
Ne ndaba nga yeekaalu eriko ekifo ekyagulumira okugyebungulula nga kye kikola omusingi ogw’ebisenge eby’ebbali. Obuwanvu kyali ng’obuwanvu obw’oluti, z’emita empanvu ssatu.
9 La largeur de la muraille qu'avaient les chambres vers le dehors, était de cinq coudées; lequel [espace] était aussi [dans la muraille], où on laissait quelque endroit qui n'était point bâti; [et ces deux murailles étaient] ce sur quoi étaient appuyées les chambres d'alentour du Temple.
Waaliwo ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali. Omubiri gw’ekisenge ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo ekibangirizi wakati w’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. Waaliwo n’ekibangirizi wakati wa bbugwe n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu.
10 Or entre les chambres il y avait un espace de vingt coudées de largeur tout autour du Temple.
Ekibangirizi ekyo kyali mita kkumi obugazi.
11 L'ouverture des chambres était vers la muraille en laquelle on laissait quelque endroit qui n'était point bâti, [savoir] une ouverture du côté du chemin vers le Septentrion, et une autre ouverture [du côté] vers le Midi; et la largeur du lieu où était la muraille, en laquelle on laissait quelque endroit qui n'était point bâti, [était] de cinq coudées tout à l'entour.
Waaliwo emiryango egyayingiranga mu bisenge eby’ebbali okuva mu kibangirizi ekiri wakati w’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali n’ebisenge ebyo. Emiryango egyo gyali ku luuyi olw’Obukiikakkono, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo kyali mita bbiri n’ekitundu obugazi.
12 Or le bâtiment qui se rendait sur le devant de la séparation, qui faisait le côté du chemin vers l'Occident, avait la largeur de soixante-dix coudées, et la muraille du bâtiment cinq coudées de largeur tout à l'entour, tellement que sa longueur était de quatre-vingt-dix coudées.
Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olw’ebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, n’omubiri gw’ekisenge eky’ekizimbe ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu okwebungulula, n’obuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano.
13 Puis il mesura le Temple, qui eut en longueur cent coudées; de sorte que les séparations, les bâtiments et les parois qui y étaient, avaient en longueur cent coudées.
Oluvannyuma omusajja n’apima yeekaalu, ng’obuwanvu eri mita amakumi ataano, n’oluggya lwa yeekaalu n’ekizimbe n’ebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano.
14 La largeur aussi du devant du Temple, et des séparations vers l'Orient, cent coudées.
Obugazi bw’oluggya lwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba ng’ogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano.
15 Et il mesura la longueur du bâtiment qui était vis-à-vis de la séparation qui était au derrière du Temple, et de ses chambres de côté et d'autre, [et] elle était de cent coudées; puis il y avait le Temple intérieur, et les allées du parvis.
N’apima obuwanvu obw’ekizimbe ekyali mu maaso g’oluggya emanju wa yeekaalu, okwo nga kw’ogasse embalaza oluuyi n’oluuyi nga wali mita amakumi ataano. Ekifo Awatukuvu ebweru, n’ekifo Awatukuvu munda n’ekisasi mu maaso g’oluggya
16 Les poteaux et les fenêtres qui étaient rétrécies, et les chambres d'alentour [du Temple] dans [tous] leurs trois [étages, depuis] le long des poteaux, n'étaient qu'un lambris de bois tout à l'entour; et le sol en était couvert jusques aux fenêtres, qui en étaient couvertes de même;
n’awayingirirwa, n’amadirisa amafunda n’embalaza okugeetooloola gonsatule, okwolekera omulyango byonna byabikkibwako embaawo, ne wansi, n’ekisenge okutuuka ku madirisa, n’amadirisa byabikkibwako.
17 Jusques au dessus des ouvertures, et jusques à la maison intérieure aussi bien qu'au dehors, et par dessus toutes les murailles d'alentour, tant dans la [maison] intérieure que dans l'extérieure: [en y gardant toutes] les mesures.
Mu bbanga eryali waggulu w’omulyango okutuuka mu wakuŋŋaanirwa munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda n’ebweru,
18 Et [ce lambris] était sculpté de Chérubins et de palmes, tellement qu'il y avait une palme entre un Chérubin et l'autre, et chaque Chérubin avait deux faces.
yakolebwa ne bakerubi n’enkindu, ng’olukindu luteekeddwa wakati wa bakerubi kinnababirye. Ne buli kerubi yalina ebyenyi bibiri
19 Et la face d'homme était tournée vers la palme d'un côté, et la face de lionceau était tournée vers la palme de l'autre côté; et ainsi il était sculpté par toute la maison tout à l'entour.
ekyenyi ky’omusajja nga kyolekedde olukindu ku luuyi olumu n’ekyenyi ky’empologoma ento nga kyolekedde olukindu oluuyi olulala. Ebyo byakolebwa okwetooloola eyeekaalu yonna.
20 Depuis le sol jusques au dessus des ouvertures il y avait des Chérubins et des palmes sculptées, même [jusqu'au dessus] de la muraille du Temple.
Okuva wansi okutuuka mu kibangirizi ekiri waggulu w’omulyango waaliwo bakerubi n’enkindu ebyawoolebwa ebweru ku kisenge ky’Awatukuvu.
21 Les poteaux de la porte du Temple étaient carrés; et le devant du lieu Saint avait une représentation telle que la représentation précédente.
Omulyango ogw’Awatukuvu ebweru gwali gwa nsonda nnya era n’ogwo ogwali mu maaso g’Ekifo Ekitukuvu Ennyo gwali gugufaanana
22 L'autel était de bois, de la hauteur de trois coudées, et de deux coudées de longueur; et ses coins qu'il avait, et sa longueur, et ses côtés étaient [de] bois. Puis il me dit: c'est ici la Table qui est devant l'Eternel.
Ekyoto kyabajjibwa mu muti ng’obugulumivu kiri mita emu n’ekitundu, obuwanvu n’obugazi mita emu, eruuyi n’eruuyi. Ensonda zaakyo n’obuwanvu bwakyo n’ebisenge byakyo byali bya miti. Omusajja n’aŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza ebeera mu maaso ga Mukama.”
23 Il y avait aussi des battants à la porte du Temple, et de même à la porte du lieu Très-saint.
Awatukuvu n’Awatukuvu w’Awatukuvu byalina enzigi za mpayi bbiri bbiri.
24 Or chacun de ces battants était divisé en deux qui étaient deux battants qui se repliaient: de sorte que chacun des deux battants était encore brisé en deux.
Buli luggi lwalina empayi bbiri, buli mwango nga gulina enzigi bbiri.
25 Il y avait aussi des Chérubins et des palmes figurées sur les portes du Temple, comme il y en avait de figurées sur les parois. Il y avait aussi de grosses pièces de bois sur le devant du porche en dehors.
Era ku nzigi ezo ez’Awatukuvu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu nga biri ebyayolebwa ku bisenge. Waaliwo n’akasasi akaakolebwa mu muti akali ku kisasi.
26 Il y avait pareillement des fenêtres rétrécies, et des palmes deçà et delà, aux côtés du porche; il y avait aussi les chambres qui étaient autour du Temple, et puis les grosses pièces de bois.
Ku bisenge eby’ebbali eby’ekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi eby’enkindu ku buli luuyi. N’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu byalina obusasi.

< Ézéchiel 41 >