< 1 Chroniques 21 >
1 Mais Satan s'éleva contre Israël, et incita David à faire le dénombrement d'Israël.
Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri.
2 Et David dit à Joab et aux principaux du peuple: Allez [et] dénombrez Israël, depuis Béer-sebah jusqu'à Dan, et rapportez-le moi, afin que j'en sache le nombre.
Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”
3 Mais Joab répondit: Que l'Eternel veuille augmenter son peuple cent fois autant qu'il est, ô Roi mon Seigneur! tous ne sont-ils pas serviteurs de mon Seigneur? Pourquoi mon Seigneur cherche-t-il cela? [et] pourquoi cela serait-il imputé comme un crime à Israël?
Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”
4 Mais la parole du Roi l'emporta sur Joab; et Joab partit, et alla par tout Israël; puis il revint à Jérusalem.
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi.
5 Et Joab donna à David le rôle du dénombrement du peuple, et il se trouva de tout Israël onze cent mille hommes tirant l'épée, et de Juda, quatre cent soixante et dix mille hommes, tirant l'épée.
Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.
6 Bien qu'il n'eût pas compté entr'eux Lévi ni Benjamin, parce que Joab exécutait la parole du Roi à contre-cœur.
Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu.
7 Or cette chose déplut à Dieu, c'est pourquoi il frappa Israël.
Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri.
8 Et David dit à Dieu: J'ai commis un très-grand péché d'avoir fait une telle chose; je te prie pardonne maintenant l'iniquité de ton serviteur, car j'ai agi très-follement.
Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”
9 Et l'Eternel parla à Gad, le Voyant de David, en disant:
Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti,
10 Va, parle à David, et lui dis: Ainsi a dit l'Eternel, je te propose trois choses; choisis l'une d'elles, afin que je te la fasse.
“Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’”
11 Et Gad vint à David, et lui dit: Ainsi a dit l'Eternel:
Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu:
12 Choisis ou la famine durant l'espace de trois ans; ou d'être consumé, durant trois mois, étant poursuivi de tes ennemis, en sorte que l'épée de tes ennemis t'atteigne; ou que l'épée de l'Eternel, c'est-à-dire, la mortalité, soit durant trois jours sur le pays, et que l'Ange de l'Eternel fasse le dégât dans toutes les contrées d'Israël. Maintenant donc regarde ce que j'aurai à répondre à celui qui m'a envoyé.
emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”
13 Alors David répondit à Gad: Je suis dans une très-grande angoisse; que je tombe, je te prie, entre les mains de l'Eternel, parce que ses compassions sont en très grand nombre; mais que je ne tombe point entre les mains des hommes!
Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”
14 L'Eternel envoya donc la mortalité sur Israël; et il tomba soixante et dix mille hommes d'Israël.
Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa.
15 Dieu envoya aussi l'Ange à Jérusalem pour y faire le dégât; et comme il faisait le dégât, l'Eternel regarda, [et] se repentit de ce mal; et il dit à l'Ange qui faisait le dégât: C'est assez; retire à présent ta main. Et l'Ange de l'Eternel était auprès de l'aire d'Ornan Jébusien.
Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16 Or David élevant ses yeux vit l'Ange de l'Eternel qui était entre la terre et le ciel, ayant dans sa main son épée nue, tournée contre Jérusalem. Et David et les Anciens couverts de sacs, tombèrent sur leurs faces.
Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
17 Et David dit à Dieu: N'est-ce pas moi qui ai commandé qu'on fit le dénombrement du peuple? c'est donc moi qui ai péché et qui ai très-mal agi; mais ces brebis qu'ont-elles fait? Eternel mon Dieu! je te prie que ta main soit contre moi, et contre la maison de mon père, mais qu'elle ne soit pas contre ton peuple, pour le détruire.
Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
18 Alors l'Ange de l'Eternel commanda à Gad de dire à David, qu'il montât pour dresser un autel à l'Eternel, dans l'aire d'Ornan Jébusien.
Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
19 David donc monta selon la parole que Gad [lui] avait dite au nom de l'Eternel.
Awo Dawudi n’agondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, n’ayambuka.
20 Et Ornan s'étant retourné, et ayant vu l'Ange, se tenait caché avec ses quatre fils. Or Ornan foulait du blé.
Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka.
21 Et David vint jusqu'à Ornan; et Ornan regarda, et ayant vu David, il sortit de l'aire, et se prosterna devant lui, le visage en terre.
Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani n’amulaba, n’ava mu gguuliro, n’amuvuunamira.
22 Et David dit à Ornan: Donne-moi la place de cette aire, et j'y bâtirai un autel à l'Eternel; donne-la-moi pour le prix qu'elle vaut, afin que cette plaie soit arrêtée de dessus le peuple.
Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”
23 Et Ornan dit à David: Prends-la, et que le Roi mon Seigneur fasse tout ce qui lui semblera bon. Voici, je donne ces bœufs pour les holocaustes, et ces instruments à fouler du blé, au lieu de bois, et ce blé pour le gâteau; je donne toutes ces choses.
Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.”
24 Mais le Roi David lui répondit: Non; mais certainement j'achèterai [tout] cela au prix qu'il vaut; car je ne présenterai point à l'Eternel ce qui est à toi, et je n'offrirai point un holocauste d'une chose que j'aie eue pour rien.
Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”
25 David donna donc à Ornan pour cette place, six cents sicles d'or de poids.
Awo Dawudi n’agula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu.
26 Puis il bâtit là un autel à l'Eternel, et il offrit des holocaustes, et des sacrifices de prospérités, et il invoqua l'Eternel, qui l'exauça par le feu envoyé des cieux sur l'autel de l'holocauste.
Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
27 Alors l'Eternel commanda à l'Ange; et l'Ange remit son épée dans son fourreau.
Awo Mukama Katonda n’alagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo.
28 En ce temps-là David voyant que l'Eternel l'avait exaucé dans l'aire d'Ornan Jébusien, y sacrifia.
Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo.
29 [Or] le pavillon de l'Eternel que Moïse avait fait au désert, et l'autel des holocaustes étaient en ce temps-là dans le haut lieu de Gabaon.
Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni.
30 Mais David ne put point aller devant cet autel pour invoquer Dieu, parce qu'il avait été troublé à cause de l'épée de l'Ange de l'Eternel.
Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.