< Ézéchiel 29 >
1 La dixième année, le douzième jour du dixième mois, la parole de l’Éternel me fut adressée, en ces mots:
Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 Fils de l’homme, tourne ta face vers Pharaon, roi d’Égypte, Et prophétise contre lui et contre toute l’Égypte!
“Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna.
3 Parle, et tu diras: Ainsi parle le Seigneur, l’Éternel: Voici, j’en veux à toi, Pharaon, roi d’Égypte, Grand crocodile, qui te couches au milieu de tes fleuves, Et qui dis: Mon fleuve est à moi, c’est moi qui l’ai fait!
Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri, ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo, ogwogera nti, “Kiyira wange, era nze nnamwekolera.”
4 Je mettrai une boucle à tes mâchoires, J’attacherai à tes écailles les poissons de tes fleuves, Et je te tirerai du milieu de tes fleuves, Avec tous les poissons qui s’y trouvent Et qui seront attachés à tes écailles.
Nditeeka amalobo mu mba zo, era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go. Ndikusikayo mu migga gyo ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.
5 Je te jetterai dans le désert, Toi et tous les poissons de tes fleuves. Tu tomberas sur la face des champs, Tu ne seras ni relevé ni ramassé; Aux bêtes de la terre et aux oiseaux du ciel Je te donnerai pour pâture.
Ndikutwala mu ddungu, ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo. Oligwa ku ttale, so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa. Ndikuwaayo okuba emmere eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.
6 Et tous les habitants de l’Égypte sauront que je suis l’Éternel, Parce qu’ils ont été un soutien de roseau pour la maison d’Israël.
Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda. “‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri.
7 Lorsqu’ils t’ont pris dans la main, tu t’es rompu, Et tu leur as déchiré toute l’épaule; Lorsqu’ils se sont appuyés sur toi, tu t’es brisé, Et tu as rendu leurs reins immobiles.
Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.
8 C’est pourquoi ainsi parle le Seigneur, l’Éternel: Voici, je ferai venir contre toi l’épée, Et j’exterminerai du milieu de toi les hommes et les bêtes.
“‘Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe.
9 Le pays d’Égypte deviendra une solitude et un désert. Et ils sauront que je suis l’Éternel, Parce qu’il a dit: Le fleuve est à moi, c’est moi qui l’ai fait!
Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda. “‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,”
10 C’est pourquoi voici, j’en veux à toi et à tes fleuves, Et je ferai du pays d’Égypte un désert et une solitude, Depuis Migdol jusqu’à Syène et aux frontières de l’Éthiopie.
kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya.
11 Nul pied d’homme n’y passera, Nul pied d’animal n’y passera, Et il restera quarante ans sans être habité.
Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana.
12 Je ferai du pays d’Égypte une solitude entre les pays dévastés, Et ses villes seront désertes entre les villes désertes, Pendant quarante ans. Je répandrai les Égyptiens parmi les nations, Je les disperserai en divers pays.
Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.
13 Ainsi parle le Seigneur, l’Éternel: Au bout de quarante ans je rassemblerai les Égyptiens Du milieu des peuples où ils auront été dispersés.
“‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira,
14 Je ramènerai les captifs de l’Égypte, Je les ramènerai dans le pays de Pathros, Dans le pays de leur origine, Et là ils formeront un faible royaume.
era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa.
15 Ce sera le moindre des royaumes, Et il ne s’élèvera plus au-dessus des nations, Je les diminuerai, afin qu’ils ne dominent pas sur les nations.
Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga.
16 Ce royaume ne sera plus pour la maison d’Israël un sujet de confiance; Il lui rappellera son iniquité, quand elle se tournait vers eux. Et ils sauront que je suis le Seigneur, l’Éternel.
Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’”
17 La vingt-septième année, le premier jour du premier mois, la parole de l’Éternel me fut adressée, en ces mots:
Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
18 Fils de l’homme, Nebucadnetsar, roi de Babylone, A fait faire à son armée un service pénible contre Tyr; Toutes les têtes sont chauves, toutes les épaules sont écorchées; Et il n’a retiré de Tyr aucun salaire, ni lui, ni son armée, Pour le service qu’il a fait contre elle.
“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo.
19 C’est pourquoi ainsi parle le Seigneur, l’Éternel: Voici, je donne à Nebucadnetsar, roi de Babylone, Le pays d’Égypte; Il en emportera les richesses, Il en prendra les dépouilles, Il en pillera le butin; Ce sera un salaire pour son armée.
Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye.
20 Pour prix du service qu’il a fait contre Tyr, Je lui donne le pays d’Égypte; Car ils ont travaillé pour moi, Dit le Seigneur, l’Éternel.
Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.
21 En ce jour-là, je donnerai de la force à la maison d’Israël, Et je t’ouvrirai la bouche au milieu d’eux; Et ils sauront que je suis l’Éternel.
“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”