< Deutéronome 32 >

1 Cieux! Prêtez l’oreille, et je parlerai; Terre! Écoute les paroles de ma bouche.
Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera, wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
2 Que mes instructions se répandent comme la pluie, Que ma parole tombe comme la rosée, Comme des ondées sur la verdure, Comme des gouttes d’eau sur l’herbe!
Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba, n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo, bigwe ng’obufuuyirize ku muddo, ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
3 Car je proclamerai le nom de l’Éternel. Rendez gloire à notre Dieu!
Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama; mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
4 Il est le rocher; ses œuvres sont parfaites, Car toutes ses voies sont justes; C’est un Dieu fidèle et sans iniquité, Il est juste et droit.
Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu, n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya. Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa, omwenkanya era omutereevu mu byonna.
5 S’ils se sont corrompus, à lui n’est point la faute; La honte est à ses enfants, Race fausse et perverse.
Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali, baswavu era tebakyali baana be, wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
6 Est-ce l’Éternel que vous en rendrez responsable, Peuple insensé et dépourvu de sagesse? N’est-il pas ton père, ton créateur? N’est-ce pas lui qui t’a formé, et qui t’a affermi?
Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda, mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakutonda, n’akussaawo n’akunyweza?
7 Rappelle à ton souvenir les anciens jours, Passe en revue les années, génération par génération, Interroge ton père, et il te l’apprendra, Tes vieillards, et ils te le diront.
Jjukira ebiseera eby’edda, fumiitiriza ku myaka egyayita edda. Buuza kitaawo ajja kukubuulira ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
8 Quand le Très-Haut donna un héritage aux nations, Quand il sépara les enfants des hommes, Il fixa les limites des peuples D’après le nombre des enfants d’Israël,
Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago abantu bonna bwe yabayawulayawulamu, yategeka ensalo z’amawanga ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
9 Car la portion de l’Éternel, c’est son peuple, Jacob est la part de son héritage.
Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be, Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
10 Il l’a trouvé dans une contrée déserte, Dans une solitude aux effroyables hurlements; Il l’a entouré, il en a pris soin, Il l’a gardé comme la prunelle de son œil,
Yamuyisanga mu ddungu, mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta. Yamuzibiranga, n’amulabiriranga, n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
11 Pareil à l’aigle qui éveille sa couvée, Voltige sur ses petits, Déploie ses ailes, les prend, Les porte sur ses plumes.
Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo, n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo, era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula, n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
12 L’Éternel seul a conduit son peuple, Et il n’y avait avec lui aucun dieu étranger.
Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga; so tewabangawo katonda mulala.
13 Il l’a fait monter sur les hauteurs du pays, Et Israël a mangé les fruits des champs; Il lui a fait sucer le miel du rocher, L’huile qui sort du rocher le plus dur,
Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo, n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro. Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
14 La crème des vaches et le lait des brebis, Avec la graisse des agneaux, Des béliers de Basan et des boucs, Avec la fleur du froment; Et tu as bu le sang du raisin, le vin.
ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo, n’amasavu ag’endiga ento n’ennume, n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani, awamu n’eŋŋaano esinga obulungi, wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.
15 Israël est devenu gras, et il a regimbé; Tu es devenu gras, épais et replet! Et il a abandonné Dieu, son créateur, Il a méprisé le rocher de son salut,
Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala; ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi. Yava ku Katonda eyamukola, n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
16 Ils ont excité sa jalousie par des dieux étrangers, Ils l’ont irrité par des abominations;
Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
17 Ils ont sacrifié à des idoles qui ne sont pas Dieu, A des dieux qu’ils ne connaissaient point, Nouveaux, venus depuis peu, Et que vos pères n’avaient pas craints.
Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
18 Tu as abandonné le rocher qui t’a fait naître, Et tu as oublié le Dieu qui t’a engendré.
Weerabira Olwazi eyakuzaala, weerabira Katonda eyakuzaala.
19 L’Éternel l’a vu, et il a été irrité, Indigné contre ses fils et ses filles.
Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.
20 Il a dit: Je leur cacherai ma face, Je verrai quelle sera leur fin; Car c’est une race perverse, Ce sont des enfants infidèles.
N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange ndabe ebinaabatuukako; kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu, abaana abatalinaamu bwesigwa.
21 Ils ont excité ma jalousie par ce qui n’est point Dieu, Ils m’ont irrité par leurs vaines idoles; Et moi, j’exciterai leur jalousie par ce qui n’est point un peuple, Je les irriterai par une nation insensée.
Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala, ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa. Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga, ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.
22 Car le feu de ma colère s’est allumé, Et il brûlera jusqu’au fond du séjour des morts; Il dévorera la terre et ses produits, Il embrasera les fondements des montagnes. (Sheol h7585)
Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro, ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe, gusenkenya ensi n’ebibala byayo, ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago. (Sheol h7585)
23 J’accumulerai sur eux les maux, J’épuiserai mes traits contre eux.
Nzija kubatuumangako emitawaana ne mbayiwangako obusaale bwange.
24 Ils seront desséchés par la faim, consumés par la fièvre Et par des maladies violentes; J’enverrai parmi eux la dent des bêtes féroces Et le venin des serpents.
Nnaabasindikiranga enjala namuzisa, n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza; ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovu n’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa.
25 Au-dehors, on périra par l’épée, Et au-dedans, par d’effrayantes calamités: Il en sera du jeune homme comme de la jeune fille, De l’enfant à la mamelle comme du vieillard.
Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere. Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
26 Je voudrais dire: Je les emporterai d’un souffle, Je ferai disparaître leur mémoire d’entre les hommes!
Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.
27 Mais je crains les insultes de l’ennemi, Je crains que leurs adversaires ne se méprennent, Et qu’ils ne disent: Notre main a été puissante, Et ce n’est pas l’Éternel qui a fait toutes ces choses.
Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza, kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera, ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde, Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”
28 C’est une nation qui a perdu le bon sens, Et il n’y a point en eux d’intelligence.
Lye ggwanga omutali magezi, mu bo temuliimu kutegeera.
29 S’ils étaient sages, voici ce qu’ils comprendraient, Et ils penseraient à ce qui leur arrivera.
Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde, ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
30 Comment un seul en poursuivrait-il mille, Et deux en mettraient-ils dix mille en fuite, Si leur Rocher ne les avait vendus, Si l’Éternel ne les avait livrés?
Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi, oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka, wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo, Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
31 Car leur rocher n’est pas comme notre Rocher, Nos ennemis en sont juges.
Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe, abalabe baffe bakiriziganya naffe.
32 Mais leur vigne est du plant de Sodome Et du terroir de Gomorrhe; Leurs raisins sont des raisins empoisonnés, Leurs grappes sont amères;
Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu, n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola; ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa, ebirimba byazo bikaawa;
33 Leur vin, c’est le venin des serpents, C’est le poison cruel des aspics.
wayini waazo bwe butwa bw’emisota obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.
34 Cela n’est-il pas caché près de moi, Scellé dans mes trésors?
Ekyo saakyeterekera, nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
35 A moi la vengeance et la rétribution, Quand leur pied chancellera! Car le jour de leur malheur est proche, Et ce qui les attend ne tardera pas.
Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula. Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera, obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde, n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
36 L’Éternel jugera son peuple; Mais il aura pitié de ses serviteurs, En voyant que leur force est épuisée, Et qu’il n’y a plus ni esclave ni homme libre.
Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya, alisaasira abaweereza be, bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu, omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
37 Il dira: Où sont leurs dieux, Le rocher qui leur servait de refuge,
N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa, olwazi mwe beekweka.
38 Ces dieux qui mangeaient la graisse de leurs victimes, Qui buvaient le vin de leurs libations? Qu’ils se lèvent, qu’ils vous secourent, Qu’ils vous couvrent de leur protection!
Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe, ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa? Basituke bajje babayambe, kale babawe obubudamo babakuume!
39 Sachez donc que c’est moi qui suis Dieu, Et qu’il n’y a point de dieu près de moi; Je fais vivre et je fais mourir, Je blesse et je guéris, Et personne ne délivre de ma main.
Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye! Tewali katonda mulala wabula Nze; nzita era ne nzuukiza, nfumita era ne mponya; era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
40 Car je lève ma main vers le ciel, Et je dis: Je vis Éternellement!
Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti, ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna
41 Si j’aiguise l’éclair de mon épée Et si ma main saisit la justice, Je me vengerai de mes adversaires Et je punirai ceux qui me haïssent;
bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa, n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango, nnaawalananga abalabe bange, ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
42 Mon épée dévorera leur chair, Et j’enivrerai mes flèches de sang, Du sang des blessés et des captifs, De la tête des chefs de l’ennemi.
Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, n’ekitala kyange kirirya ennyama, n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa, n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.
43 Nations, chantez les louanges de son peuple! Car l’Éternel venge le sang de ses serviteurs, Il se venge de ses adversaires, Et il fait l’expiation pour son pays, pour son peuple.
Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be, kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be, aliwalana abalabe be, era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.
44 Moïse vint et prononça toutes les paroles de ce cantique en présence du peuple; Josué, fils de Nun, était avec lui.
Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira.
45 Lorsque Moïse eut achevé de prononcer toutes ces paroles devant tout Israël,
Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri,
46 il leur dit: Prenez à cœur toutes les paroles que je vous conjure aujourd’hui de recommander à vos enfants, afin qu’ils observent et mettent en pratique toutes les paroles de cette loi.
n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.
47 Car ce n’est pas une chose sans importance pour vous; c’est votre vie, et c’est par là que vous prolongerez vos jours dans le pays dont vous aurez la possession, après avoir passé le Jourdain.
Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”
48 Ce même jour, l’Éternel parla à Moïse, et dit:
Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti,
49 Monte sur cette montagne d’Abarim, sur le mont Nebo, au pays de Moab, vis-à-vis de Jéricho; et regarde le pays de Canaan que je donne en propriété aux enfants d’Israël.
“Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
50 Tu mourras sur la montagne où tu vas monter, et tu seras recueilli auprès de ton peuple, comme Aaron, ton frère, est mort sur la montagne de Hor et a été recueilli auprès de son peuple,
Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.
51 parce que vous avez péché contre moi au milieu des enfants d’Israël, près des eaux de Meriba, à Kadès, dans le désert de Tsin, et que vous ne m’avez point sanctifié au milieu des enfants d’Israël.
Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri.
52 Tu verras le pays devant toi; mais tu n’entreras point dans le pays que je donne aux enfants d’Israël.
Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”

< Deutéronome 32 >