< Genèse 10 >

1 Voici les générations des fils de Noé: Sem, Cham et Japhet; des fils leur naquirent après le déluge.
Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.
2 Fils de Japhet: Gomer, Magog, Madaï, Javan, Elisa, Thubal, Mosoch et Thiras.
Batabani ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.
3 Fils de Gomer: Ascenez, Riphat, et Thogorma.
Batabani ba Gomeri be bano: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.
4 Fils de Javan: Elisa, Tharsis, Cettim et Dodanim.
Batabani ba Yivani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu.
5 Ceux-ci sont les pères des gentils, qui se partagèrent les îles et les eurent pour territoire, chacun selon sa langue, par tribus, par nations.
(Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)
6 Fils de Cham: Chus, Mesraïm, Phuth et Chanaan.
Batabani ba Kaamu be bano: Kuusi, ne Misiri, ne Puuti, ne Kanani.
7 Fils de Chus: Saba, Hevila, Sabatha, Regma et Sabathaca. Fils de Regma: Saba et Dadan.
Batabani ba Kuusi be bano: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka. Batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani.
8 Et Chus engendra Nemrod: celui-ci commença à être puissant sur la terre.
Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi.
9 Il était grand chasseur devant le Seigneur; c'est pourquoi l'on dit: Grand chasseur comme Nemrod devant le Seigneur.
Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”
10 Le commencement de son royaume fut Babylone, puis il eut Arach, Archad, Chalané, et la terre de Sennaar.
Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.
11 De cette terre sortit Assur, qui bâtit Ninive, et la ville de Rhooboth et Chalé,
Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne
12 Et Ressen, grande ville, entre Ninive et Chalé.
Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.
13 Mesraïm engendra les Ludim, les Ananim, les Laabim, les Nephtuïm,
Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,
14 Les Phétrusim, les Chasluïm (d'où est sorti Philistin) et les Caphtorins.
ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.
15 Chanaan engendra Sidon son premier-né, puis le Hétéen,
Kanani ye yazaala Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi,
16 Le Jebuséen, l'Amorrhéen, le Gergéséen,
n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi,
17 L'Evéen, l'Arucéen, l'Asennéen,
n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini,
18 L'Aradien, le Samaréen et l'Amathéen. Après cela, les tribus des Chananéens se dispersèrent.
n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna.
19 Les limites des Chananéens étaient la côte depuis Sidon jusqu'à Gérara et Gaza; puis elles s'étendirent jusqu'à Sodome et Gomorrhe, et passèrent par Adama et Séboïm jusqu'à Léba.
Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.
20 Tels furent les fils de Cham et leurs tribus, selon leurs langues, par contrées, et par nations.
Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
21 Sem fut père aussi, et eut Héber de l'un de ses fils, frère de Japhet le plus grand.
Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.
22 Fils de Sem: Elam, Assur, Arphaxad, Lud, Aran et Caïnan.
Abaana ba Seemu be bano: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
23 Fils d'Aram: Hus, Hul, Gether et Mosoch.
Batabani ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.
24 Arphaxad engendra Salé, et Salé engendra Héber.
Alupakusaadi ye kitaawe wa Seera. Seera ye kitaawe wa Eberi.
25 D'Héber naquirent deux fils, nommés, l'un Phaleg, parce que de son temps la terre fut partagée, et l'autre Jectan.
Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi, kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.
26 Or, Jectan engendra Elmodad, Saleph, Asarmoth Jaré,
Yokutaani ye yali kitaawe wa Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera,
27 Aduram, Uzal, Décla,
ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula,
28 Abimaël, Saba,
ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba,
29 Ophir, Hévila et Jobab: tels furent les fils de Jectan.
ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.
30 Ils habitèrent depuis Messa jusqu'à Séphar, montagne de l'Orient.
Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.
31 Tels furent les fils de Sem et leurs tribus, selon leurs langues, par contrées et par nations.
Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
32 Telles furent les tribus des fils de Noé, par familles et nations; et c'est ainsi que les fils de Noé peuplèrent les pays des nations, sur la terre, après le déluge.
Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.

< Genèse 10 >