< 1 Chroniques 4 >

1 De Juda sont issus: Pharès, Esron, Charmi, Hur, Sobal,
Bazzukulu ba Yuda abalala baali Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.
2 Et Rhada son fils. Et Sobal engendra Jeth, et Jeth engendra Achimaï et Laad; les Arathites (Sarathéens) sont issus d'eux.
Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
3 Voici les fils d'Etham: Jezraël, Jesman et Jebdas; le nom de leur sœur était Eselebbon.
Ne bano, be baali baganda ba Etamu, ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi.
4 Et Phanuel fut le père de Gedor, et Jazer le père d'Osan. Voilà les fils de Hur, du premier-né d'Ephratha, père de Béthalaem.
Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa. Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.
5 Et Assur, père de Thécoé, eut deux femmes: Aoda et Thoada.
Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.
6 Et Aoda lui enfanta Ohaïe, Ephal, Thêman et Aasther; voilà tous les fils d'Aoda.
Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.
7 Fils de Thoada: Sereth, Saar et Esthanam.
Keera n’amuzaalira Zeresi, ne Izukali, ne Esumani
8 Et Coé engendra Enob et Sabatha; le frère de Rhéchab, fils d'Iarin, est issu de lui.
ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9 Et Igabès fut plus illustre que ses frères, et sa mère lui donna le nom d'Igabès, disant: J'ai enfanté comme Gabès.
Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.”
10 Et Igabès invoqua le Dieu d'Israël, disant: Qu'il vous plaise de me bénir, et de me bénir, et de dilater mes limites; puisse votre main être avec moi; puissiez-vous faire connaître que vous ne m'abaisserez point. Et Dieu lui accorda tout ce qu'il avait demandé.
Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.
11 Et Caleb, père d'Ascha, engendra Machir; celui-ci, père d'Assathon,
Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni.
12 Engendra Bathraïas, Bessée et Thêman, père de la ville de Naas, frère d'Eselom, fils de Cenez; ce sont les hommes de Rhéchab.
Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.
13 Et les fils de Cenez furent: Gothoniel et Saraia; et Gothoniel eut pour fils Athath.
Batabani ba Kenazi baali Osuniyeri ne Seraya. Batabani ba Osuniyeri baali Kasasi ne Myonosaayi.
14 Et Manathi engendra Gophera, et Sarah engendra Jobab, père d'Ageaddaïr; car ils étaient tous artisans.
Myonosaayi n’azaala Ofula. Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.
15 Fils de Caleb, fils de Jéphoné: Her, Ada et Noom; Ada fut le père de Cenez.
Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali Iru, ne Era ne Naamu. Ne Era n’azaala Kenazi.
16 Fils d'Alehel: Zib, Zépha, Thiria et Eserel.
Batabani ba Yekalereri baali Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.
17 Fils d'Esri: Jéther, Morad, Apher et Jamon; Jéther engendra Maron, Sémeï et Jesba, père d'Esthemon.
Batabani ba Ezula baali Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa.
18 Et sa femme Adia enfanta Jared, père de Gedor, et Aber, père de Sochon, et Hatiel, père de Zamon. Et Morad épousa Betthia, fille du Pharaon, et il en eut des fils.
Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza. Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.
19 Et Iduée, sœur de Nachaïm, père de Cella, fut mère de Garmi, et d'Esthemon le Nohathite.
Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.
20 Fils de Semon: Amnon, Ana, fils de sa femme Phana, et Inon. Fils de Sei: Zoan, et les fils qu'il eut de Zoab.
Batabani ba Simoni baali Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi. N’ab’ennyumba ya Isi baali Zokesi ne Benizokesi.
21 Fils de Sela, fils de Juda: Her, père de Léchab, et Laada, père de Marisa; les habitants d'Ephrathabac, qui appartient à la maison d'Esoba, sont issus d'eux,
Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,
22 Et Joacin, et les hommes de Hozeba, et Joas, et Saraph: ceux-ci demeurèrent en Moab, et Dieu les en ramena; Abederin, Athouciim.
Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda).
23 C'étaient les potiers qui, avec le roi, habitaient Ataïm et Gadira; ils s'étaient enrichis dans ce royaume, et ils s'y étaient fixés.
Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.
24 Fils de Siméon: Namuel, Jamin, Jarib, Zarès et Saül,
Batabani ba Simyoni baali Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.
25 Salem son fils, Mabasam son fils, Masma son fils,
Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.
26 Amuel son fils, Sabud son fils, Zacchur son fils, Sémeï son fils.
Mutabani wa Misuma yali Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.
27 Sémeï eut seize fils et six filles, et ses frères n'eurent pas beaucoup d'enfants. Et leurs familles ne se multiplièrent point comme les fils de Juda.
Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda.
28 Et ils habitaient: en Bersabée, en Molada, en Esersual,
Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali,
29 En Balaa, en Esem et en Tholad,
ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi,
30 En Bathuel, en Herma et en Sicelag (Sécelac),
ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi,
31 En Bethmarimoth, en Hemisuséosin et en la maison de Baruséorim; telles furent leurs villes jusqu'au roi David.
ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka.
32 Et leurs villages étaient: Etan, et Hin, et Rhemnon, et Thocca, et Esar; cinq villages.
Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano,
33 Et tous leurs villages étaient autour des villes jusqu'à Baal: tel était leur domaine, et telle était sa distribution.
n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali. Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.
34 Et Mosobab, et Jémoloch, et Josias, fils d'Amasias,
Mesobabu, ne Yamulaki, ne Yosa mutabani wa Amonya;
35 Et Johel, et Jéhu, fils d'Asabias, fils de Saraus fils d'Asiel,
ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.
36 Et Elionaï, et Jocaba, et Jasuïe, et Asaïe, et Jediel, et Ismaël, et Bananias,
Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,
37 Et Zuza, fils de Saphaï, fils d'Alon, fils de Jedia, fils de Semri, fils de Samaïe,
ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.
38 Furent ceux qui eurent le nom de chefs en leurs familles, et qui, en leurs maisons paternelles, se multiplièrent jusqu'à la multitude;
Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe. Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo.
39 Et ils partirent, et ils allèrent jusqu'à Gérara, à l'orient d'Haï, chercher des pâturages pour leurs troupeaux.
Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe.
40 Et ils en trouvèrent d'excellents en abondance; et la contrée devant eux était vaste, et le calme et la paix y régnaient; car auparavant quelques fils de Cham seulement s'y étaient établis.
Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.
41 Or, ceux dont les noms sont écrits ci-dessus, entrèrent chez eux au temps d'Ezéchias, roi de Juda; ils ruinèrent leurs demeures, ainsi que les Mineïens qu'ils y avaient trouvés, et ils les détruisirent entièrement, comme on le voit encore, et ils demeurèrent à leur place dans cette contrée, parce qu'il y avait des pâturages pour leur bétail.
Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe.
42 Et cinq cents hommes de ces fils de Siméon avec leurs chefs: Phalaetti, Noadie, Raphia et Oziel, fils de Jési, se transportèrent en la montagne de Seïr.
Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi.
43 Et ils exterminèrent les restes d'Amalec, qui ne s'en sont jamais relevés jusqu'à nos jours.
Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.

< 1 Chroniques 4 >