< 1 Chroniques 11 >
1 Ensuite, tout Israël, alla trouver David à Hébron, disant: Vois, nous sommes tes os et ta chair.
Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo.
2 Précédemment, quand Saül régnait encore, c'est toi qui conduisais et ramenais Israël, et le Seigneur notre Dieu avait dit: Tu seras le pasteur d'Israël, tu seras le chef de mon peuple.
Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’”
3 Et tous les anciens d'Israël allèrent en Hébron auprès du roi, et David fit alliance avec eux devant le Seigneur, en Hébron, et ils le sacrèrent roi d'Israël, selon la parole du Seigneur transmise par Samuel.
Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.
4 Et le roi et ses hommes partirent pour Jérusalem, la même que Jébus; les Jébuséens habitaient cette terre.
Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu.
5 Et ils dirent à David: Tu n'entreras pas ici. Et il prit la forteresse de Sion, la même que la ville de David.
Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
6 Or, David avait dit: Celui qui, le premier, frappera le Jébuséen, sera général de mon armée; et Joab, fils de Sarvia, monta le premier à l'assaut, et il fut nommé général.
Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo.
7 Et David s'établit dans la forteresse. A cause de cela, il l'appela Ville de David.
Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi.
8 Et il bâtit la ville alentour.
N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga.
9 David alla ainsi grandissant, et le Seigneur tout-puissant était avec lui.
Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye.
10 Voici les chefs des vaillants qui étaient avec David, et qui l'aidèrent à affermir son pouvoir sur tout Israël, selon la parole du Seigneur.
Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali;
11 Voici les noms des vaillants de David: Jésebada, fils d'Achaman, le premier des trente. Ce fut lui qui tira l'épée seul contre trois cents, et les tua tous en une fois.
Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu.
12 Après lui, Eléazar (Eléanan), fils de Dudi l'Ahonite; celui-ci était de la première triade.
Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu.
13 Il était avec David à Phasodamin, et les Philistins s'y réunirent pour livrer bataille. Or, il y avait un champ en partie couvert d'orge, et le peuple s'enfuit devant les Philistins.
Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti.
14 Pour lui, il s'arrêta au milieu du champ, et il le sauva; il tailla en pièces les Philistins, et le Seigneur opéra une grande délivrance.
Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.
15 Et trois, des trente chefs, se rendirent auprès de David, en la caverne d'Odollam, quand les Philistins étaient campés dans le val des Géants.
Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
16 David se tenait dans sa forteresse, et les Philistins avaient un poste à Bethléem.
Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu.
17 Et David eut un désir, et il dit: Qui m'apportera à boire de l'eau de la citerne qui est sous la porte de Bethléem?
Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.”
18 Et les trois vaillants s'ouvrirent un passage à travers le camp des Philistins, et ils puisèrent de l'eau dans la citerne sous la porte de Bethléem, et ils l'emportèrent, et ils la présentèrent à David; mais il ne voulut pas la boire, et il en fit une libation au Seigneur.
Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama.
19 Et il dit: Dieu me protège, je n'en ferai rien; je croirais boire le sang des hommes qui ont exposé leur vie. Et il ne voulut point boire; voilà ce qu'avaient fait les trois vaillants.
N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa. Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo.
20 Il y avait encore Abisaï (Abessa), frère de Joab; celui-ci était chef d'une seconde triade; il avait tiré l'épée contre trois cents qu'il avait tués tous en une fois, et il s'était fait un nom parmi les trois.
Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu.
21 Et, dans sa triade, il fut illustre, et il en devint le chef; mais il n'alla pas aussi loin que ceux de la première triade.
Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.
22 Il y avait aussi Banaïas, fils d'un homme vaillant, fils de Joad; il avait fait beaucoup de belles actions en faveur de Cabséel; ce fut lui qui tua deux Ariel de Moab, et qui descendit dans une citerne, un jour de neige, et qui y tua un lion.
Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma.
23 Il tua encore un Égyptien, homme prodigieux, haut de cinq coudées, qui tenait dans sa main une javeline semblable au mât d'un tisserand; il l'attaqua, n'ayant qu'un bâton, il lui arracha des mains sa javeline, et il le tua avec cette javeline.
Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa.
24 Voilà ce que fit Banaïas, fils de Joad, et son nom figurait dans la seconde triade.
Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi.
25 Et il fut plus illustre que les trente; mais il n'alla pas si loin que la première triade, et David le mit à la tête de sa maison.
Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.
26 Et les vaillants de l'armée étaient: Asaël, frère de Joab; Eléanan, fils de Dudi de Bethléem.
Abasajja abazira ab’eggye baali: Asakeri muganda wa Yowaabu, ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
27 Samoth d'Arori, Hellès de Pheloni,
ne Sammosi Omukalooli, ne Kerezi Omuperoni;
28 Ora, fils d'Eccis de Thécoé; Abiézer d'Anathoth,
ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, ne Abiyezeeri Omwanasosi,
29 Soboch d'Usathi, Héli d'Achoni,
ne Sibbekayi Omukusasi, ne Irayi Omwakowa,
30 Maraï de Netophath; Thaod, fils de Nooza de Netophath;
ne Makalayi Omunetofa, ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa,
31 Aïri, fils de Rebié de la montagne de Benjamin; Banaïas de Pharathon;
ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini, ne Benaya Omupirasoni,
32 Uri de Nachali-Gaas, Abiel de Garabeth,
ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi, ne Abiyeeri Omwalubasi,
33 Azbon de Baromi, Eliaba de Salaboni,
ne Azumavesi Omubakalumi, ne Eriyaba Omusaaluboni,
34 Fils d'Aasam le Gizonéen; Jonathas, fils de Sola d'Arari;
batabani ba Kasamu Omugizoni, ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;
35 Achim, fils d'Achar d'Arari; Elphat, fils de Thyrophar,
ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, ne Erifali mutabani wa Uli,
36 De Mechorathri; Achias de Pheloni,
ne Keferi Omumekera, ne Akiya Omuperoni,
37 Eseré de Chadmadaïm; Naaré, fils d'Azobé;
ne Kezulo Omukalumeeri, ne Naalayi mutabani wa Ezubayi,
38 Johel, fils de Nathan; Mebaal, fils d'Agari;
ne Yoweeri muganda wa Nasani, ne Mibukali mutabani wa Kaguli;
39 Selé, fils de l'Ammonite; Nachor de Beroth, qui portait les armes du fils de Sarvia.
ne Zereki Omwamoni, ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
40 Iras de Jéther, Gaber de Jéther,
ne Ira Omuyisuli, ne Galebu Omuyisuli,
41 Urie l'Hettéen; Zabet, fils d'Achaïas;
ne Uliya Omukiiti, ne Zabadi mutabani wa Akulayi,
42 Adina, fils de Saiza, l'un des chefs de Ruben; et il y en avait trente avec lui.
ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye,
43 Anan, fils de Moocha; Josaphat le Matthanéen,
ne Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafaati Omumisuni,
44 Ozias d'Astaroth; Samatha et Jehiel, fils de Hothan d'Arari;
ne Uzziya Omwasutaloosi, ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri,
45 Jediel, fils de Sameri; et Jozaé son frère le Thosaïte,
ne Yediyayeri mutabani wa Simuli, ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi,
46 Elihel le Mahoïte, et Jaribi, et Josias son fils, et Jethama le Moabite,
ne Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu,
47 Daliel, et Obeth, et Jersiel le Mesobéen.
ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.