< Jérémie 23 >

1 Malheur aux pasteurs qui ruinent et dispersent les brebis de mon troupeau!" dit l’Eternel.
“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama.
2 C’Est pourquoi, voici ce que déclare l’Eternel, Dieu d’Israël, à l’encontre des pasteurs qui mènent mon peuple: "C’Est vous qui avez dispersé mes brebis, qui les avez fourvoyées et n’en avez pris nul soin. Eh bien, moi, j’aurai soin de vous châtier pour vos mauvaises actions, dit l’Eternel."
Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama.
3 Moi, je rassemblerai les restes de mon troupeau de toutes les terres où je les ai relégués, je les ramènerai à leur pâturage, pour qu’ils y croissent et s’y multiplient.
“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi.
4 J’Établirai sur eux des pasteurs qui les feront paître, et ils n’auront plus de crainte, ils n’auront plus d’alarme, et il ne s’en perdra plus, dit l’Eternel.
Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.
5 Voici que des jours viennent, dit l’Eternel, où je susciterai à David un rejeton juste, qui régnera en roi, agira avec sagesse et exercera le droit et la justice dans le pays.
“Ennaku zijja, lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu, Kabaka alikulembera n’amagezi akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
6 En ses jours, Juda sera sauf et Israël habitera en pleine sécurité, et voici le nom qu’on lui donnera: "L’Eternel est mon Droit!"
Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa ne Isirayiri alibeera mu mirembe. Lino lye linnya lye balimuyita: Mukama Obutukuvu Bwaffe.
7 En vérité, des jours viendront, dit l’Eternel, où l’on ne dira plus: "Vive l’Eternel qui a fait monter les enfants d’Israël du pays d’Egypte!"
“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama,
8 mais "Vive l’Eternel qui a fait monter, qui a ramené les descendants de la maison d’Israël du pays du Nord et de toutes les contrées où je les avais relégués, pour qu’ils demeurent dans leur patrie!"
naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.
9 Au sujet des prophètes: mon coeur s’est brisé en moi, tous mes membres sont frémissants, je suis comme un homme ivre, comme quelqu’un maîtrisé par le vin, à cause de l’Eternel et de ses saintes paroles.
Ebikwata ku bannabbi: omutima gwange gwennyise mu nda yange amagumba gange gonna gakankana, nninga omusajja omutamiivu, ng’omusajja afugiddwa omwenge, ku lwa Mukama n’ebigambo bye ebitukuvu.
10 Car le pays est rempli de gens adultères; car par suite des parjures, le pays est en deuil, les pâturages de la campagne sont desséchés; ils se précipitent vers le mal et usent leur force pour le mensonge.
Ensi ejjudde abenzi; olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu era n’amalundiro g’omu ddungu meereere. Bannabbi bagoberera amakubo amabi era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.
11 Oui, même le prophète, même le prêtre sont infâmes; jusque dans ma maison, je constate leur perversité, dit l’Eternel.
“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda, ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,” bw’ayogera Mukama.
12 C’Est pourquoi la voie qu’ils suivent deviendra pour eux comme un terrain glissant en pleines ténèbres; ils seront bousculés et y tomberont, quand je ferai arriver sur eux la catastrophe, l’année de leur châtiment, dit l’Eternel.
“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera era bajja kusuulibwa mu kizikiza era eyo gye baligwira. Ndibaleetako okuzikirira mu mwaka gwe balibonerezebwamu,” bw’ayogera Mukama.
13 Aussi chez les prophètes de Samarie, j’avais vu des choses écoeurantes; ils prophétisaient au nom de Baal et égaraient mon peuple Israël.
“Mu bannabbi b’e Samaliya nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa. Balagulira wansi wa Baali ne babuza abantu bange Isirayiri.
14 Mais chez les prophètes de Jérusalem j’ai remarqué des abominations: ils pratiquent l’adultère, vivent dans le mensonge, prêtent main-forte aux malfaiteurs, de façon que personne ne revienne de sa perversité. Tous, ils sont devenus à mes yeux comme gens de Sodome, et les habitants de Jérusalem comme gens de Gomorrhe.
Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi ndabye ekintu ekibi ennyo. Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba. Bagumya abo abakozi b’ebibi ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe. Bonna bali nga Sodomu gye ndi; abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”
15 C’Est pourquoi, ainsi parle l’Eternel-Cebaot au sujet des prophètes: Voici, je vais leur donner des plantes vénéneuses à manger et des eaux empoisonnées à boire, car c’est des prophètes de Jérusalem que la corruption s’est propagée dans tout le pays.
Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti, “Nzija kubaliisa emmere ekaawa banywe amazzi ag’obutwa, kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi, obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”
16 Voici ce que dit l’Eternel-Cebaot: N’Écoutez point les discours des prophètes qui vous adressent des prophéties; ils vous bercent de chimères, ils vous débitent des visions de leur invention, que l’Eternel n’a point inspirées.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, “Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza: babajjuza essuubi ekyamu. Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe, so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
17 Ils ne cessent de répéter à mes détracteurs: "L’Eternel a parlé; vous aurez la paix." Tous ceux qui suivent les penchants de leur coeur, ils leur disent: "Aucun malheur ne vous atteindra."
Bagamba abo abannyooma nti, ‘Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’ Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
18 Qui donc parmi eux a assisté au conseil de l’Eternel, de manière à voir, de manière à entendre sa parole? Qui a pu tendre l’oreille à ses discours et les recueillir?
Naye ani ku bo eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba oba okuwulira ekigambo kye?
19 Voici, la tempête de l’Eternel éclate avec fureur, un ouragan se déchaîne, qui s’abattra sur la tête des coupables.
Laba, omuyaga gwa Mukama gujja kubwatuka n’ekiruyi, empewo ey’akazimu eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
20 La colère de l’Eternel ne cessera de sévir que quand il aura exécuté, accompli les desseins de son coeur; plus tard, vous en comprendrez le sens.
Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma okutuusa ng’amaze okutuukiriza ekigendererwa ky’omutima gwe. Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi.
21 Je n’avais point donné de mission à ces prophètes, et ils se sont mis à courir! Je ne leur avait point adressé la parole, et ils ont prophétisé!
Situmanga bannabbi bano, songa bagenda badduka n’obubaka buno, era sogeranga nabo, songa bategeeza obunnabbi.
22 S’Ils avaient assisté à mon conseil, mais alors ils auraient fait entendre mes paroles à mon peuple, ils l’auraient détourné de sa mauvaise voie et de ses mauvaises actions.
Naye singa bayimirira mu maaso gange, bandibuulidde abantu bange ebigambo byange, era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi era ne mu bikolwa byabwe ebibi.
23 Suis-je donc Dieu de près, dit l’Eternel, et non pas Dieu de loin?
“Ndi Katonda abeera okumpi wokka, so si abeera ewala?” bw’ayogera Mukama.
24 Quelqu’un peut-il se cacher dans un lieu occulte, sans que je le voie? dit l’Eternel. Est-ce que je ne remplis pas le ciel et la terre? dit l’Eternel.
“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama ne sisobola kumulaba?” bw’ayogera Mukama. “Sijjuza eggulu n’ensi?” bw’ayogera Mukama.
25 J’Entends bien ce que disent les prophètes qui prophétisent faussement en mon nom, à savoir: "J’Ai eu un songe, j’ai eu un songe!"
“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’
26 Jusques à quand en sera-t-il ainsi? Entre-t-il donc dans la pensée des prophètes, prophètes de mensonge, qui débitent les perfides inventions de leur coeur,
Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe?
27 entre-t-il dans leurs calculs de faire oublier mon nom à mon peuple, grâce à leurs songes qu’ils se content mutuellement, de même que leurs ancêtres ont oublié mon nom pour Baal?
Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali.
28 Que le prophète qui se targue d’un songe raconte ce songe! Mais que celui qui est favorisé de ma parole annonce fidèlement ma parole: que vient faire la paille avec le grain? dit l’Eternel.
Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama.
29 Est-ce que ma parole ne ressemble pas au feu, dit l’Eternel, et au marteau qui fait voler en éclats le rocher?
“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.
30 Aussi vais-je prendre à partie, dit l’Eternel, les prophètes qui se dérobent les uns aux autres mes révélations.
“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
31 Je vais prendre à partie, dit l’Eternel, les prophètes qui font marcher leur langue et prononcent des oracles.
“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’
32 Je vais prendre à partie, dit l’Eternel, les diseurs de songes trompeurs, qui les divulguent pour égarer mon peuple par leurs mensonges et leur verbiage frivole, alors que je ne leur ai donné ni mission ni ordre, et qu’ils ne peuvent rendre aucun service à ce peuple, dit l’Eternel.
Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.
33 Que si ce, peuple, si prophètes ou prêtres t’interrogent en ces termes: "Quel est l’oracle de l’Eternel?" tu leur répondras ce qu’est l’oracle: "Je vais vous rejeter!" dit l’Eternel.
“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’
34 Quant au prophète, au prêtre, à l’homme du peuple qui dira: "Oracle de l’Eternel", je le châtierai, cet individu, ainsi que sa maison.
Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge.
35 Voici comme vous vous exprimerez en parlant entre vous: "Quelle réponse a faite l’Eternel? Quelle est la parole prononcée par l’Eternel?"
Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’
36 Mais le mot "oracle" de l’Eternel (Massa), vous n’en ferez plus mention; car la parole de l’Eternel communiquée à l’homme est bien un oracle (Massa), mais vous dénaturez les paroles du Dieu vivant, de l’Eternel-Cebaot, notre Dieu.
Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe.
37 Voici donc ce que vous pourrez dire au prophète: "Quelle réponse t’a faite l’Eternel? Quelle est la parole prononcée par l’Eternel?"
Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’
38 Mais si vous parlez de Massa de l’Eternel, assurément alors l’Eternel dira: "Puisque vous employez cette expression de Massa de l’Eternel, malgré cette défense que je vous ai fait adresser: Ne dites pas Massa de l’Eternel,
Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’
39 voici, je vais vous repousser complètement, vous rejeter, vous et la ville que j’ai donnée à vous et à vos ancêtres, de devant ma face,
kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe.
40 et je ferai peser sur vous un éternel déshonneur, un opprobre permanent et inoubliable.
Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”

< Jérémie 23 >