< Michée 3 >
1 Et je dis: Écoutez, je vous prie, chefs de Jacob, et vous, princes de la maison d’Israël: N’est-ce pas à vous de connaître ce qui est juste?
Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo, mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri. Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
2 Vous qui haïssez le bien et qui aimez le mal, qui arrachez leur peau de dessus eux, et leur chair de dessus leurs os,
mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi; mmwe ababaagako abantu bange eddiba ne mubaggyako ennyama ku magumba?
3 qui mangez la chair de mon peuple et ôtez leur peau de dessus eux, et qui brisez leurs os, et les mettez en morceaux comme dans une chaudière, et comme de la chair au milieu d’une marmite.
Mulya ennyama yaabwe, ne mubabaagako eddiba, amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya, era ne mubasalaasala ng’ennyama eneefumbibwa mu nsaka.”
4 Alors ils crieront à l’Éternel, et il ne leur répondra pas, et il leur cachera sa face en ce temps-là, selon qu’ils ont agi méchamment.
Balikoowoola Mukama, naye talibaanukula. Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge olw’ebibi bye bakoze.
5 Ainsi dit l’Éternel touchant les prophètes qui font errer mon peuple; qui mordent avec leurs dents, et crient: Paix! et si quelqu’un ne met rien dans leur bouche, ils préparent la guerre contre lui.
Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Bannabbi ababuzaabuza abantu balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa, naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
6 C’est pourquoi vous aurez la nuit, sans vision, et vous aurez les ténèbres, sans divination; et le soleil se couchera sur les prophètes, et le jour s’obscurcira sur eux.
Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa. Enjuba erigwa nga bannabbi balaba, n’obudde bubazibirire.
7 Et les voyants seront honteux, et les devins seront confondus, et ils se couvriront tous la barbe, parce qu’ il n’y a pas de réponse de Dieu.
Abalabi baliswazibwa n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi. Bonna balibikka amaaso gaabwe kubanga Katonda tabaanukula.”
8 Mais moi, je suis plein de puissance par l’esprit de l’Éternel, et de jugement et de force pour déclarer à Jacob sa transgression et à Israël son péché.
Naye nze, nzijjudde amaanyi n’Omwoyo wa Mukama, okwekaliriza ensonga n’obuvumu, njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola, olw’ekibi kya Isirayiri.
9 Écoutez ceci, je vous prie, chefs de la maison de Jacob, et vous, princes de la maison d’Israël, qui abhorrez le jugement et pervertissez toute droiture,
Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo, Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri, Mmwe abanyooma obwenkanya Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
10 bâtissant Sion avec du sang, et Jérusalem avec l’iniquité.
mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi, Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
11 Ses chefs jugent pour des présents, et ses sacrificateurs enseignent pour un salaire, et ses prophètes devinent pour de l’argent et s’appuient sur l’Éternel, disant: L’Éternel n’est-il pas au milieu de nous? Il ne viendra point de mal sur nous!
Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti, “Mukama tali naffe? Tewali kinaatutuukako.”
12 C’est pourquoi, à cause de vous, Sion sera labourée comme un champ, et Jérusalem sera des monceaux de pierres, et la montagne de la maison, les lieux hauts d’une forêt.
Noolwekyo ku lwammwe, Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro, ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu, n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.