< Marc 5 >

1 Et ils arrivèrent à l’autre rive de la mer, dans le pays des Gadaréniens.
Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka emitala w’ennyanja mu nsi y’Abageresene.
2 Et aussitôt, comme il sortait du bateau, un homme possédé d’un esprit immonde,
Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi n’ajja gy’ali ng’ava mu malaalo.
3 [et] qui avait sa demeure dans les sépulcres, sortant des sépulcres, le rencontra; et personne ne pouvait le lier, pas même avec des chaînes;
Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba.
4 car souvent, quand il avait été lié de fers aux pieds et de chaînes, il avait rompu les chaînes et mis les fers en pièces, et personne ne pouvait le dompter.
Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu n’okusiba amagulu ge n’enjegere naye byonna ng’abikutulakutula. Ne wataba na muntu w’amaanyi ayinza kumusiba kumunyweza.
5 Et il était continuellement, de nuit et de jour, dans les sépulcres et dans les montagnes, criant et se meurtrissant avec des pierres.
Naye bulijjo yatambulanga emisana n’ekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bw’akaaba era nga bwe yeesalaasala n’amayinja.
6 Et voyant Jésus de loin, il courut et se prosterna devant lui;
Awo bwe yalengera Yesu ng’akyali walako ku nnyanja n’adduka n’agenda eryato we lyagoba, n’asinza Yesu.
7 et, criant avec une voix forte, il dit: Qu’y a-t-il entre moi et toi, Jésus, Fils du Dieu Très-haut? Je t’adjure par Dieu, ne me tourmente pas.
N’aleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olw’ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.”
8 Car il lui disait: Sors de cet homme, esprit immonde!
Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja.
9 Et il lui demanda: Quel est ton nom? Et il lui dit: J’ai nom Légion, car nous sommes plusieurs.
Awo Yesu n’amubuuza nti, “Erinnya lyo ggw’ani?” N’addamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.”
10 Et il le priait instamment pour qu’il ne les envoie pas hors du pays.
N’amwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo.
11 Et il y avait là, vers la montagne, un grand troupeau de pourceaux qui paissait.
Awo waaliwo eggana ly’embizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya.
12 Et ils le prièrent, disant: Envoie-nous dans les pourceaux, afin que nous entrions en eux.
Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.”
13 Et aussitôt Jésus le leur permit. Et les esprits immondes, sortant, entrèrent dans les pourceaux, et le troupeau se rua du haut de la côte dans la mer; [or ils étaient] environ 2 000; et ils furent étouffés dans la mer.
Yesu n’abakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana ly’embizzi. Awo eggana ly’embizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.
14 Et ceux qui les paissaient s’enfuirent, et portèrent la nouvelle dans la ville et dans les campagnes. Et ils sortirent pour voir ce qui était arrivé;
Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze ab’omu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo.
15 et ils viennent vers Jésus, et voient le démoniaque, assis, vêtu, et dans son bon sens, celui qui avait Légion; et ils eurent peur.
Ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ng’ayambadde bulungi era ng’ategeera bulungi, ne batya nnyo.
16 Et ceux qui avaient vu [ce qui s’était passé], leur racontèrent ce qui était arrivé au démoniaque et ce qui concernait les pourceaux;
Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko ddayimooni n’ebyatuuka ku mbizzi.
17 et ils se mirent à le prier de s’en aller de leur territoire.
Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire!
18 Et comme il montait dans le bateau, celui qui avait été démoniaque le pria [de permettre] qu’il soit avec lui.
Yesu bwe yali ng’alinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko baddayimooni n’amwegayirira bagende bonna.
19 Et il ne le lui permit pas, mais lui dit: Va dans ta maison, vers les tiens, et raconte-leur tout ce que le Seigneur t’a fait, et [comment] il a usé de miséricorde envers toi.
Yesu n’atakkiriza, n’amugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama by’akukoledde era nga bw’akusaasidde.”
20 Et il s’en alla, et se mit à publier en Décapolis tout ce que Jésus lui avait fait; et tous s’en étonnaient.
Awo omusajja oyo n’agenda ng’atambula mu Dekapoli (ebibuga eby’omu kitundu ekyo) ng’abuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.
21 Et Jésus, ayant encore repassé à l’autre rive, dans le bateau, une grande foule se rassembla auprès de lui; et il était au bord de la mer.
Awo Yesu n’awunguka mu lyato nate n’atuuka emitala w’ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w’ali ku lubalama lw’ennyanja.
22 Et un des chefs de synagogue, nommé Jaïrus, vient; et le voyant, il se jette à ses pieds;
Omukulu w’ekkuŋŋaaniro erinnya lye Yayiro n’ajja n’agwa w’ali,
23 et il le suppliait instamment, disant: Ma fille est à l’extrémité; [je te prie] de venir et de lui imposer les mains, afin qu’elle soit sauvée, et qu’elle vive.
n’amwegayirira nnyo ng’agamba nti, “Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye.”
24 Et il s’en alla avec lui; et une grande foule le suivit, et elle le pressait.
Awo Yesu n’agenda naye n’ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera nga bagenda bamunyigiriza.
25 Et une femme qui avait une perte de sang depuis douze ans,
Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri nga mulwadde ekikulukuto ky’omusaayi.
26 et qui avait beaucoup souffert d’un grand nombre de médecins, et avait dépensé tout son bien, et n’en avait retiré aucun profit, mais plutôt allait en empirant,
Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi.
27 ayant entendu parler de Jésus, vint dans la foule par-derrière, et toucha son vêtement;
Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye.
28 car elle disait: Si je touche, ne serait-ce que ses vêtements, je serai guérie.
Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.”
29 Et aussitôt son flux de sang tarit; et elle connut en son corps qu’elle était guérie du fléau.
Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.
30 Et aussitôt Jésus, connaissant en lui-même la puissance qui était sortie de lui, se retournant dans la foule, dit: Qui a touché mes vêtements?
Amangwago Yesu n’awulira ng’amaanyi agamuvuddemu, n’akyukira ekibiina ky’abantu n’abuuza nti, “Ani akutte ku kyambalo kyange?”
31 Et ses disciples lui dirent: Tu vois la foule qui te presse, et tu dis: Qui m’a touché?
Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankutteko?’”
32 Et il regardait tout à l’entour pour voir celle qui avait fait cela.
Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko.
33 Et la femme, effrayée et tremblante, sachant ce qui lui était arrivé, vint et se jeta devant lui, et lui déclara toute la vérité.
Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo n’ajja eri Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana, n’agwa awo mu maaso ga Yesu n’amutegeeza amazima gonna.
34 Et il lui dit: [Ma] fille, ta foi t’a guérie; va en paix, et sois guérie de ton fléau.
Yesu n’agamba omukazi nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala.”
35 Comme il parlait encore, il vient des gens de chez le chef de synagogue, disant: Ta fille est morte; pourquoi tourmentes-tu encore le maître?
Naye yali akyayogera n’omukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka g’omukulu w’ekuŋŋaaniro, ne babikira Yayiro nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.”
36 Et Jésus, ayant entendu la parole qui avait été dite, dit aussitôt au chef de synagogue: Ne crains pas, crois seulement.
Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.”
37 Et il ne permit à personne de le suivre, sinon à Pierre et à Jacques et à Jean le frère de Jacques.
Awo Yesu n’aziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo.
38 Et il vient à la maison du chef de synagogue; et il voit le tumulte, et ceux qui pleuraient et jetaient de grands cris.
Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe.
39 Et étant entré, il leur dit: Pourquoi faites-vous ce tumulte, et pourquoi pleurez-vous? L’enfant n’est pas morte, mais elle dort.
Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, “Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!”
40 Et ils se riaient de lui. Mais les ayant tous mis dehors, il prend le père de l’enfant et la mère, et ceux qui étaient avec lui, et entre là où l’enfant était couchée.
Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali.
41 Et ayant pris la main de l’enfant, il lui dit: Talitha coumi; ce qui, interprété, est: Jeune fille, je te dis, lève-toi.
Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, “Talisa kumi!” amakulu nti, “Omuwala golokoka!”
42 Et aussitôt la jeune fille se leva et marcha, car elle avait douze ans; et ils furent transportés d’une grande admiration.
Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.
43 Et il leur enjoignit fort que personne ne le sache; et il dit qu’on lui donne à manger.
Naye Yesu n’abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n’abalagira bawe omwana ekyokulya.

< Marc 5 >