< Genèse 23 >
1 Et la vie de Sara fut de 127 ans: [ce sont là] les années de la vie de Sara.
Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu.
2 Et Sara mourut à Kiriath-Arba, qui est Hébron, dans le pays de Canaan; et Abraham vint pour mener deuil sur Sara, et pour la pleurer.
N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira.
3 Et Abraham se leva de devant son mort; et il parla aux fils de Heth, disant:
Oluvannyuma Ibulayimu n’ava awali omulambo gwe n’agenda eri Abakiiti n’abagamba nti,
4 Je suis étranger, habitant parmi vous; donnez-moi la possession d’un sépulcre parmi vous, et j’enterrerai mon mort de devant moi.
“Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.”
5 Et les fils de Heth répondirent à Abraham, lui disant:
Abakiiti ne baddamu Ibulayimu nti,
6 Écoute-nous, mon seigneur: Tu es un prince de Dieu au milieu de nous; enterre ton mort dans le meilleur de nos sépulcres; aucun de nous ne te refusera son sépulcre pour y enterrer ton mort.
“Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.”
7 Et Abraham se leva, et se prosterna devant le peuple du pays, devant les fils de Heth;
Ibulayimu n’agolokoka n’avuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi.
8 et il leur parla, disant: Si c’est votre volonté que j’enterre mon mort de devant moi, écoutez-moi, et intercédez pour moi auprès d’Éphron, fils de Tsokhar,
N’abagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali,
9 afin qu’il me donne la caverne de Macpéla, qui est à lui, qui est au bout de son champ; qu’il me la donne au milieu de vous pour sa pleine valeur, afin que je la possède comme sépulcre.
anguze empuku ey’e Makupeera, gy’alina, eri ku nkomerero y’ennimiro ye. Agingulize mu maaso gammwe, mmusasule omuwendo gwayo gwonna, efuuke ekifo kyange eky’okuziikangamu mu mmwe.”
10 Or Éphron habitait parmi les fils de Heth. Et Éphron, le Héthien, répondit à Abraham, aux oreilles des fils de Heth, devant tous ceux qui entraient par la porte de sa ville, disant:
Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti,
11 Non, mon seigneur, écoute-moi: Je te donne le champ; et la caverne qui s’y trouve, je te la donne; je te la donne aux yeux des fils de mon peuple: enterre ton mort.
“Nedda mukama wange. Mpuliriza. Nkuwadde ennimiro n’empuku erimu, ng’abantu bange balaba, ziika omuntu wo.”
12 Et Abraham se prosterna devant le peuple du pays;
Awo Ibulayimu n’avuunama mu maaso gaabwe bonna.
13 et il parla à Éphron, aux oreilles du peuple du pays, disant: Si pourtant tu voulais bien m’écouter. Je donne l’argent du champ, prends-le de moi, et j’y enterrerai mon mort.
N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.”
14 Et Éphron répondit à Abraham, lui disant:
Efulooni n’addamu Ibulayimu nti,
15 Mon seigneur, écoute-moi: Une terre de 400 sicles d’argent, qu’est-ce que cela entre moi et toi? Enterre donc ton mort.
“Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”
16 Et Abraham écouta Éphron, et Abraham pesa à Éphron l’argent dont il avait parlé en présence des fils de Heth, 400 sicles d’argent ayant cours entre les marchands.
Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.
17 Et le champ d’Éphron, qui était à Macpéla, devant Mamré, le champ et la caverne qui y était, et tous les arbres qui étaient dans le champ, dans toutes ses limites tout à l’entour,
Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya
18 furent assurés en propriété à Abraham, aux yeux des fils de Heth, devant tous ceux qui entraient par la porte de la ville.
Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gw’ekibuga balaba.
19 Et, après cela, Abraham enterra Sara, sa femme, dans la caverne du champ de Macpéla, en face de Mamré, qui est Hébron, dans le pays de Canaan.
Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani.
20 Et le champ et la caverne qui s’y trouve furent assurés à Abraham pour les posséder comme sépulcre, de la part des fils de Heth.
Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.