< 2 Chroniques 15 >

1 Et l’Esprit de Dieu fut sur Azaria, fils d’Oded:
Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Azaliya mutabani wa Obedi,
2 et il sortit au-devant d’Asa, et lui dit: Asa, et tout Juda et Benjamin, écoutez-moi: L’Éternel est avec vous quand vous êtes avec lui; et si vous le cherchez vous le trouverez, et si vous l’abandonnez il vous abandonnera.
n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga.
3 Pendant bien des jours il n’y eut pour Israël ni vrai Dieu, ni sacrificateur pour enseigner, ni loi;
Isirayiri yamala ebbanga ddene nga tegondera Katonda ow’amazima, nga tebalina kabona abayigiriza, wadde okuba n’amateeka.
4 et, dans leur angoisse, ils se retournèrent vers l’Éternel, le Dieu d’Israël, et le cherchèrent, et ils l’ont trouvé.
Naye wakati mu nnaku yaabwe ne bakyukira Mukama Katonda wa Isirayiri, ne bamunoonya, era ne bamulaba.
5 Et, en ces temps-là, il n’y avait point de paix pour ceux qui sortaient et qui entraient, car il y avait beaucoup de troubles parmi tous les habitants du pays,
Mu biro ebyo tewaali mirembe abantu okutambula nga bwe baayagalanga, kubanga baali mu kweraliikirira kungi nnyo.
6 et nation se brisait contre nation, et ville contre ville, car Dieu les troublait par toutes sortes d’angoisses.
Amawanga n’amawanga gaalwanagananga, n’ebibuga ne birumbagananga kubanga Katonda yabaleetako ebizibu bingi nnyo.
7 Vous donc, fortifiez-vous, et que vos mains ne soient point lâches; car il y a une récompense pour ce que vous ferez.
Naye mmwe mugume omwoyo! Temuganya mikono gyammwe kunafuwa kubanga omulimu gwammwe guliko empeera.”
8 Et quand Asa eut entendu ces paroles et la prophétie d’Oded, le prophète, il se fortifia, et fit disparaître les choses abominables de tout le pays de Juda et de Benjamin, et des villes qu’il avait prises de la montagne d’Éphraïm, et il renouvela l’autel de l’Éternel, qui était devant le portique de l’Éternel.
Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ebyobunnabbi bwa Azaliya mutabani wa Obedi, n’aguma omwoyo, n’aggyawo ebifaananyi ebyole okuva mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini, n’okuva mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g’ekisasi ekya yeekaalu ya Mukama.
9 Et il assembla tout Juda et Benjamin, et les étrangers qui étaient avec eux, d’Éphraïm, et de Manassé, et de Siméon; car beaucoup d’Israélites passèrent à lui quand ils virent que l’Éternel, son Dieu, était avec lui.
N’akuŋŋaanya aba Yuda n’aba Benyamini bonna, n’abantu b’e Efulayimu, n’e Manase, n’e Simyoni abaabeeranga nabo, kubanga bangi basenga gyali okuva mu Isirayiri bwe baalaba nga Mukama Katonda ali wamu naye.
10 Et ils se rassemblèrent à Jérusalem, le troisième mois de la quinzième année du règne d’Asa;
Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Asa.
11 et ils sacrifièrent à l’Éternel, en ce jour-là, du butin qu’ils avaient amené, 700 bœufs et 7 000 moutons.
Ku lunaku olwo ne bawaayo eri Mukama ebimu ku by’omunyago: ente lusanvu, n’endiga n’embuzi zonna kasanvu.
12 Et ils s’engagèrent ensemble à rechercher l’Éternel, le Dieu de leurs pères, de tout leur cœur et de toute leur âme,
Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna.
13 [établissant] que quiconque ne rechercherait pas l’Éternel, le Dieu d’Israël, serait mis à mort, tant petit que grand, tant homme que femme.
Era abo bonna abatanoonyanga Mukama, Katonda wa Isirayiri battibwanga, oba bato oba bakulu, oba bakazi oba basajja.
14 Et ils jurèrent à l’Éternel à haute voix, et à grands cris, et avec des trompettes et des cors.
Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery’omwanguka, wamu n’okufuuwa amakondeere n’eŋŋombe.
15 Et tout Juda se réjouit du serment, car ils avaient juré de tout leur cœur, et ils avaient recherché l’Éternel de toute leur âme, et ils l’avaient trouvé. Et l’Éternel leur donna du repos tout à l’entour.
Yuda yonna ne basanyukira ekirayiro ekyo, kubanga baali balayidde n’omutima gwabwe gwonna, era nga bamunoonyezza n’okwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba. Era Mukama n’abawa emirembe enjuuyi zonna.
16 Et même à Maaca, sa mère, le roi Asa ôta sa position de reine, parce qu’elle avait fait un simulacre pour Ashère; et Asa abattit son simulacre, et le broya, et le brûla dans la vallée du Cédron.
Kabaka Asa n’agoba jjajjaawe Maaka ku bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole ekya Asera. Asa n’akitemaatema n’akimenyaamenya, n’akyokera mu kagga Kidulooni.
17 Mais les hauts lieux ne furent pas ôtés d’Israël; cependant le cœur d’Asa fut parfait tous ses jours.
Newaakubadde nga teyaggyawo bifo ebigulumivu mu Isirayiri, Asa yamalirira mu mutima gwe okunywerera ku Mukama ennaku ze zonna.
18 Et il apporta dans la maison de Dieu les choses saintes de son père et les choses qu’il avait lui-même consacrées, de l’argent, et de l’or, et des ustensiles.
Mu yeekaalu ya Mukama n’aleetamu effeeza ne zaabu, n’ebintu ye ne kitaawe bye baawonga.
19 Et il n’y eut point de guerre jusqu’à la trente-cinquième année du règne d’Asa.
Ne wataba ntalo nate okumala emyaka amakumi asatu mu etaano egy’obufuzi bwa Asa.

< 2 Chroniques 15 >