< Ézéchiel 7 >

1 La parole de Yahweh me fut adressée en ces termes:
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,
2 Et toi, fils de l'homme, ainsi parle le Seigneur Yahweh au pays d'Israël: La fin! La fin vient sur les quatre coins de la terre!
“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti: “‘Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ez’ensi.
3 Maintenant la fin vient sur toi; je vais donner cours à ma colère contre toi; je te jugerai d'après tes œuvres; je ferai retomber sur toi toutes tes abominations.
Enkomerero ebatuuseeko era ndibasumulurira obusungu bwange, ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.
4 Mon œil ne t'épargnera pas, et je serai sans pitié; car je ferai retomber sur toi tes œuvres, et tes abominations seront au milieu de toi; et vous saurez que je suis Yahweh.
Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa; naye ndibasasula ng’engeri zammwe, n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’
5 Ainsi parle le Seigneur Yahweh: Un malheur unique! Un malheur! Voici qu'il arrive!
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: “‘Okuzikirizibwa okutali kumu laba kujja.
6 Une fin vient! La fin arrive! Elle s'éveille contre toi; voici qu'elle arrive!
Enkomerero etuuse, enkomerero etuuse! Ebagolokokeddeko era ejja.
7 Ton sort est venu, habitant du pays; le temps vient, le jour est proche! Du tumulte!... et non le cri de joie sur les montagnes.
Akabi kabajjidde, mmwe abatuuze. Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi, olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.
8 Maintenant, je vais sans tarder répandre mon courroux sur toi; j'assouvirai sur toi ma colère, je te jugerai selon tes voies, et je ferai retomber sur toi toutes tes abominations.
Nnaatera okubalaga obusungu bwange, n’ekiruyi kyange. Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri, ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.
9 Mon œil n'épargnera pas, et je serai sans pitié; je ferai retomber sur toi tes œuvres, tes abominations seront au milieu de toi; et vous saurez que c'est moi, Yahweh, qui frappe!
Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa. Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.
10 Voici le jour; voici qu'il vient; ton sort est arrivé; la verge fleurit, l'orgueil éclôt.
“‘Olunaku luuluno lutuuse. Akabi kabajjidde, obutali bwenkanya bumeze, n’amalala gamulisizza.
11 La violence s'élève, pour être la verge de l'impiété. Il ne restera rien d'eux, ni de leur multitude, ni de leur tumulte, et ils n'auront plus d'éclat.
Obusungu bweyongedde ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu; tewaliba n’omu alisigalawo; tewaliba n’omu ku kibiina newaakubadde ku byobugagga byabwe, newaakubadde eky’omuwendo.
12 Le temps vient, le jour approche! Que l'acheteur ne se réjouisse pas, et que le vendeur ne s'afflige point; car la colère va éclater sur toute leur multitude.
Ekiseera kituuse, n’olunaku lutuuse. Agula aleme okusanyukirira, n’oyo atunda aleme okunakuwala, kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
13 Le vendeur ne rentrera pas en possession de ce qu'il aura vendu, fût-il encore parmi les vivants; car la vision contre toute leur multitude ne sera point révoquée, et nul par son péché n'assurera sa vie.
Atunda taliddizibwa kintu kye yatunda, bombi bwe banaaba nga bakyali balamu. Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna so tekukyajulukuka. Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu aliwonya obulamu bwe.
14 On sonne la trompette, et tout est prêt; mais personne ne marche au combat, car ma colère est contre toute leur multitude.
“‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, tewaliba n’omu aligenda mu lutalo, kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
15 Au dehors, l'épée; au dedans, la peste et la famine; celui qui est aux champs mourra par l'épée, et celui qui est dans la ville, la famine et la peste le dévoreront.
Ebweru waliyo ekitala ne munda waliyo kawumpuli n’enjala. Abali ku ttale balifa kitala, abali mu kibuga balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
16 Si des fugitifs parmi eux s'enfuient, ils erreront sur les montagnes comme les colombes des vallées, tous gémissant, chacun pour son péché.
N’abo abaliwonawo baliddukira mu nsozi, nga bakaaba nga bukaamukuukulu obw’omu biwonvu, buli omu olw’ebibi bye.
17 Toutes les mains sont défaillantes, et tous les genoux se fondent en eau.
Emikono gyonna giriremala, n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.
18 Ils se revêtent de sacs, et la terreur les enveloppe; la confusion est sur tous les visages, et toutes les têtes sont rasées.
Balyambala ebibukutu, ne bakwatibwa ensisi; baliswala, n’emitwe gyabwe girimwebwa.
19 Ils jetteront leur argent dans les rues, et leur or sera pour eux de l'ordure; leur argent et leur or ne pourront les délivrer, au jour de la colère de Yahweh; ils n'en rassasieront pas leur âme, et n'en rempliront pas leurs entrailles; car c'est là ce qui les a fait tomber dans l'iniquité.
“‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubalokola ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe. Era tebalikkuta newaakubadde okukkusibwa. Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
20 Des joyaux dont ils se paraient, ils faisaient leur orgueil; ils en fabriquaient leurs abominations, leurs idoles. C'est pourquoi je changerai tout cela en ordure,
Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala, era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo n’ebintu ebirala eby’ekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.
21 et je le livrerai en pillage aux mains des étrangers, en proie aux impies de la terre, — et ils le souilleront.
Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago era balibyonoona.
22 Je détournerai d'eux mon visage, et on souillera mon trésor; des hommes de violence y entreront et le souilleront.
Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira, era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo; n’abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
23 Prépare les chaînes; car le pays est rempli d'attentats, et la ville de violences.
“‘Muteeketeeke enjegere kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde effujjo.
24 Et je ferai venir les plus méchants d'entre les peuples, et ils s'empareront de leurs maisons, et ils mettront fin à l'orgueil des puissants; et leurs lieux saints seront profanés.
Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi, ne batwala ennyumba zaabwe, era ndikomya amalala gaabwe n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25 La ruine vient; ils chercheront la paix, et il n'y en aura point.
Entiisa bw’erijja, balinoonya emirembe naye tebaligifuna.
26 Il arrivera malheur sur malheur, et nouvelle sur nouvelle; et ils chercheront des visions auprès des prophètes, et la loi fera défaut au prêtre, et le conseil aux anciens.
Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ne zeeyongera; balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi, naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
27 Le roi sera dans le deuil, le prince se vêtira de tristesse, et les mains du peuple du pays trembleront. Je les traiterai d'après leurs œuvres, je les jugerai selon leurs mérites; et ils sauront que je suis Yahweh.
Kabaka alikaaba, n’omulangira alijjula obuyinike, n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa. Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri, era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri. Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’”

< Ézéchiel 7 >