< Malachie 3 >
1 Voici que j’envoie mon messager, et il préparera le chemin devant moi; et soudain viendra dans son temple le Seigneur que vous cherchez, l’ange de l’alliance que vous désirez. Voici, il vient, dit Yahweh des armées.
“Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
2 Et qui soutiendra le jour de sa venue, et qui restera debout quand il apparaîtra? Car il sera comme le feu du fondeur, comme la potasse des foulons.
“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza.
3 Il s’assoira, fondant et purifiant l’argent; il purifiera les fils de Lévi, et les épurera comme l’or et l’argent; et ils seront pour Yahweh des [ministres] qui lui présenteront l’oblation selon la justice;
Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu.
4 et l’oblation de Juda et de Jérusalem sera agréable à Yahweh comme aux anciens jours, comme dans les années d’autrefois.
Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse Mukama, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita.
5 Je m’approcherai de vous pour le jugement, et je serai un témoin prompt contre les enchanteurs, contre les adultères, contre ceux qui jurent faussement, contre ceux qui extorquent au mercenaire son salaire, qui [oppriment] la veuve et l’orphelin, qui repoussent l’étranger, et qui ne me craignent pas, dit Yahweh des armées.
“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
6 C’est parce que moi, Yahweh, je ne change pas, que vous, les enfants de Jacob, vous n’avez pas été consumés.
“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza.
7 Depuis les jours de vos pères, vous vous êtes écartés de mes ordonnances et vous ne les avez pas observées. Revenez à moi et je reviendrai à vous, dit Yahweh des armées. — Et vous dites: « En quoi reviendrons-nous? » —
Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’
8 Un homme [oserait-il] frauder Dieu, que vous me fraudiez? — Et vous dites: « En quoi t’avons-nous fraudé? » — Dans la dîme et la part à prélever.
“Omuntu alinyaga Katonda? “Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ “Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi.
9 Vous êtes frappés, vous, de la malédiction, et moi, vous me fraudez, vous, toute la nation!
Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze.
10 Apportez toute la dîme au trésor et qu’il y ait des vivres dans ma maison! Et mettez-moi donc à l’épreuve en ceci, dit Yahweh des armées: si je n’ouvre pas pour vous les écluses des cieux, et si je ne répands pas sur vous la bénédiction jusqu’à surabondance.
Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.
11 Pour vous, je chasserai l’[insecte] qui dévore; il ne vous détruira plus les fruits du sol, et la vigne ne sera plus stérile pour vous dans la campagne, dit Yahweh des armées.
Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 Toutes les nations vous diront heureux, car vous serez un pays de délices, dit Yahweh des armées.
“Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
13 Vos paroles sont dures contre moi, dit Yahweh. Et vous dites: « Qu’avons-nous dit de toi entre nous? »
“Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera Mukama. “Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’
14 — Vous avez dit: « Inutile de servir Dieu; qu’avons-nous gagné à observer ses préceptes et à marcher avec tristesse devant Yahweh des armées? »
“Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga Mukama ow’Eggye ng’abakungubaga?
15 Et maintenant, nous proclamons heureux les impies; ils prospèrent, ceux qui font le mal; ils tentent Dieu, et [pourtant] ils échappent. »
Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’”
16 Alors ceux qui craignent Yahweh se sont entretenus les uns avec les autres. Et Yahweh a été attentif, il a entendu, et un livre de souvenir a été écrit devant lui, pour ceux qui craignent Yahweh et qui respectent son nom.
Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba.
17 Au jour que je prépare, dit Yahweh des armées, ils seront pour moi un bien particulier, et je serai pour eux plein de tendresse, comme un homme est plein de tendresse, pour son fils qui le sert.
“Kale baliba bange,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange eky’omuwendo; era ndibasonyiwa ng’omuzadde bw’asonyiwa mutabani we amuweereza.
18 Et vous verrez de nouveau la [différence] entre le juste et le méchant, entre celui qui sert Dieu et celui qui ne le sert pas.
Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”