< Actes 3 >

1 Pierre et Jean montaient (ensemble) au temple pour la prière de la neuvième heure.
Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda,
2 Or, il y avait un homme, boiteux de naissance, qui se faisait transporter. On le posait chaque jour près de la porte du temple, appelée la Belle-Porte, pour qu’il pût demander l’aumône à ceux qui entraient dans le temple.
ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza.
3 Cet homme, ayant vu Pierre et Jean qui allaient y entrer, leur demande l’aumône.
Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi.
4 Pierre, ainsi que Jean, fixa les yeux sur lui et dit: « Regarde-nous. »
Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!”
5 Il les regarda attentivement, s’attendant à recevoir d’eux quelque chose.
N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.
6 Mais Pierre lui dit: « Je n’ai ni or ni argent; mais ce que j’ai, je te le donne: au nom de Jésus-Christ de Nazareth, lève-toi et marche. »
Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!”
7 Et le prenant par la main, il l’aida à se lever. Au même instant, ses jambes et ses pieds devinrent fermes;
Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi,
8 d’un bond il fut debout, et il se mit à marcher. Puis il entra avec eux dans le temple, marchant, sautant et louant Dieu.
n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda.
9 Tout le peuple le vit marcher et louer Dieu.
Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda,
10 Et reconnaissant que c’était celui-là même qui se tenait assis à la Belle-Porte du temple pour demander l’aumône, ils furent stupéfaits et hors d’eux-mêmes de ce qui lui était arrivé.
ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.
11 Comme il ne quittait pas Pierre et Jean, tout le peuple étonné accourut vers eux, au portique dit de Salomon.
Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde.
12 Voyant cela, Pierre dit au peuple: « Enfants d’Israël, pourquoi vous étonnez-vous de cela? Et pourquoi tenez-vous les yeux fixés sur nous, comme si c’était par notre propre puissance ou par notre piété que nous eussions fait marcher cet homme?
Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono?
13 Le Dieu d’Abraham, d’Isaac et de Jacob, le Dieu de vos pères a glorifié son serviteur Jésus, que vous avez livré, et renié devant Pilate alors qu’il était d’avis qu’on le relâchât.
Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula,
14 Vous, vous avez renié le Saint et le Juste, et vous avez sollicité la grâce d’un meurtrier.
naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu.
15 Vous avez fait mourir l’Auteur de la vie, que Dieu a ressuscité des morts; nous en sommes tous témoins.
Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa.
16 C’est à cause de la foi reçue de lui que son nom a raffermi l’homme que vous voyez et connaissez; c’est la foi qui vient de lui qui a opéré devant vous tous cette parfaite guérison.
Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.
17 Je sais bien, frères, que vous avez agi par ignorance, ainsi que vos magistrats.
“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo.
18 Mais Dieu a accompli de la sorte ce qu’il avait prédit par la bouche de tous les prophètes, que son Christ devait souffrir.
Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo.
19 Repentez-vous donc et convertissez-vous, pour que vos péchés soient effacés,
Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,
20 afin que des temps de rafraîchissement viennent de la part du Seigneur, et qu’il envoie celui qui vous a été destiné, Jésus-Christ,
mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda,
21 que le ciel doit recevoir jusqu’aux jours du rétablissement de toutes choses, jours dont Dieu a parlé anciennement par la bouche de ses saints prophètes. (aiōn g165)
eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. (aiōn g165)
22 Moïse a dit: « Le Seigneur votre Dieu vous suscitera d’entre vos frères un prophète semblable à moi; vous l’écouterez dans tout ce qu’il vous dira.
Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba.
23 Et quiconque n’écoutera pas ce prophète, sera exterminé du milieu du peuple.
Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’
24 Tous les prophètes qui ont successivement parlé depuis Samuel ont aussi annoncé ces jours-là.
“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno.
25 Vous êtes, vous, les fils des prophètes et de l’alliance que Dieu a faite avec vos pères, lorsqu’il a dit à Abraham: « En ta postérité seront bénies toutes les nations de la terre. »
Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’
26 C’est à vous premièrement que Dieu, ayant suscité son Fils, l’a envoyé pour vous bénir, lorsque chacun de vous se détournera de ses iniquités.
Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”

< Actes 3 >