< 3 Jean 1 >

1 L’Ancien, à Gaïus, le bien-aimé que j’aime en vérité.
Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2 Bien-aimé, sur toutes choses je souhaite [que l’état de] tes affaires et de ta santé soit aussi prospère [que celui] de ton âme.
Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo.
3 J’ai eu bien de la joie, lorsque des frères sont arrivés et ont rendu témoignage de ta vérité, [je veux dire] de la manière dont tu marches dans la vérité.
Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira.
4 Je n’ai pas de plus grande joie que d’apprendre [que] mes enfants marchent dans la vérité.
Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.
5 Bien-aimé, tu agis fidèlement dans tout ce que tu fais pour les frères, et particulièrement pour des [frères] étrangers;
Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi.
6 aussi ont-ils rendu témoignage de ta charité en présence de l’Église. Tu feras bien de pourvoir à leur voyage d’une manière digne de Dieu;
Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde.
7 car [c’est] pour le nom qu’ils sont partis, sans rien recevoir des païens.
Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga.
8 Nous devons soutenir de tels [hommes], afin de travailler avec eux pour la vérité.
Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.
9 J’ai écrit à l’Église; mais Diotréphès, qui aime être le premier parmi eux, ne nous reçoit pas.
Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala.
10 C’est pourquoi, si je viens, je lui rappellerai les œuvres qu’il fait, et les méchants propos qu’il tient contre nous. Et non content de cela, il refuse lui-même d’accueillir les frères, et il empêche ceux qui voudraient les recevoir et les chasse de l’Église.
Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.
11 Bien-aimé, n’imite pas le mal, mais [imite] le bien. Celui qui fait le bien est de Dieu; celui qui fait le mal n’a pas vu Dieu.
Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda.
12 Tout le monde, et la vérité elle-même, rendent un bon témoignage à Démétrius; nous le [lui] rendons aussi, et tu sais que notre témoignage est vrai.
Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.
13 J’aurais beaucoup de choses à t’écrire, mais je ne veux pas [le faire] avec l’encre et la plume:
Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa,
14 j’espère te voir bientôt, et nous nous entretiendrons de vive voix. La paix [soit] avec toi! Les amis te saluent. Salue les amis, chacun en particulier.
kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso. Emirembe gibeerenga naawe. Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.

< 3 Jean 1 >