< Zacharie 4 >

1 L'ange qui parlait avec moi revint et me réveilla, comme un homme qu'on réveille de son sommeil.
Awo malayika eyali ayogera nange n’akomawo, n’anzuukusa ng’omuntu bw’azuukusibwa mu tulo.
2 Il me dit: « Que vois-tu? » J'ai dit: « J'ai vu, et voici un chandelier tout d'or, avec sa coupe au sommet, et ses sept lampes dessus; il y a sept tuyaux à chacune des lampes qui sont au sommet;
N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo.
3 et deux oliviers près de lui, l'un à droite de la coupe, et l'autre à gauche. »
Era waliwo emiti emizeeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw’akabakuli, n’omulala ku mukono ogwa kkono.”
4 J'ai répondu et j'ai parlé à l'ange qui m'a parlé, en disant: « Qu'est-ce que c'est, mon seigneur? »
Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”
5 Alors l'ange qui parlait avec moi me répondit: « Ne sais-tu pas ce que c'est? » J'ai dit, « Non, mon seigneur. »
Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?” Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”
6 Alors il prit la parole et me dit: « Voici la parole que Yahvé a adressée à Zorobabel: Ce n'est ni par la force, ni par la puissance, mais par mon Esprit, dit Yahvé des armées.
Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 Qui es-tu, grande montagne? Devant Zorobabel, tu n'es qu'une plaine, et il fera sortir la pierre de faîte aux cris de « Grâce, grâce, à elle! ».
“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’”
8 La parole de Yahvé me fut adressée, en ces termes:
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,
9 Les mains de Zorobabel ont posé les fondements de cette maison. Ses mains l'achèveront aussi, et vous saurez que l'Éternel des armées m'a envoyé vers vous.
“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.
10 En effet, qui méprise le jour des petites choses? Car ces sept-là se réjouiront, et ils verront le fil à plomb dans la main de Zorobabel. Ce sont les yeux de Yahvé, qui parcourent de long en large toute la terre. »
“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”
11 Et je lui demandai: « Que sont ces deux oliviers à droite du chandelier et à gauche de celui-ci? ».
Ne ndyoka mubuuza nti, “Emizeeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono ogw’ekikondo ky’ettabaaza, gitegeeza ki?”
12 Je lui demandai une seconde fois: « Que sont ces deux branches d'olivier, qui sont à côté des deux becs d'or qui versent l'huile d'or d'eux-mêmes? »
Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri ag’emizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”
13 Il m'a répondu: « Tu ne sais pas ce que c'est? » J'ai dit, « Non, mon seigneur. »
N’anziramu nti, “Tobimanyi?” Ne njogera nti, “Nedda, mukama wange.”
14 Puis il dit: « Ce sont les deux oints qui se tiennent auprès du Seigneur de toute la terre. »
Awo n’addamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama ow’ensi yonna.”

< Zacharie 4 >