< Zacharie 3 >
1 Il me montra Josué, le grand prêtre, debout devant l'ange de Yahvé, et Satan, debout à sa droite, pour être son adversaire.
Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza.
2 Yahvé dit à Satan: « Yahvé te réprime, Satan! Oui, Yahvé, qui a choisi Jérusalem, te réprimande! N'est-ce pas là un bâton brûlant arraché du feu? ".
Mukama n’agamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?”
3 Or Josué était revêtu de vêtements souillés, et il se tenait devant l'ange.
Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ng’ayambadde ebyambalo ebijjudde ekko.
4 L'ange prit la parole et dit à ceux qui se tenaient devant lui: « Enlève-lui les vêtements sales. » Il lui dit: « Voici que je fais disparaître de toi ton iniquité, et je vais te revêtir de riches habits. »
Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.” N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”
5 J'ai dit: « Qu'on lui mette un turban propre sur la tête. » Ils lui mirent un turban propre sur la tête et le vêtirent, et l'ange de Yahvé se tenait là.
Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.
6 L'ange de Yahvé rassura seul Josué en disant:
Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti,
7 « Yahvé des armées dit: Si tu marches dans mes voies et si tu suis mes instructions, toi aussi tu jugeras ma maison, tu garderas mes parvis, et je te donnerai accès parmi ceux qui sont là.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
8 Écoute maintenant, Josué, le grand prêtre, toi et tes compagnons qui sont assis devant toi, car ce sont des hommes qui sont un signe; car voici, je vais faire sortir mon serviteur, le Rameau.
“‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi.
9 Car voici la pierre que j'ai placée devant Josué: sur une pierre, il y a sept yeux; voici, je graverai son inscription, dit Yahvé des armées, et j'effacerai l'iniquité de ce pays en un seul jour.
Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.
10 En ce jour-là, dit Yahvé des armées, vous inviterez chacun votre voisin sous la vigne et sous le figuier. »
“‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”