< Josué 18 >

1 Toute la congrégation des enfants d'Israël s'assembla à Silo, et ils y établirent la tente de la Rencontre. Le pays fut soumis devant eux.
Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe,
2 Il restait sept tribus parmi les enfants d'Israël, qui n'avaient pas encore partagé leur héritage.
wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo.
3 Josué dit aux enfants d'Israël: « Jusques à quand négligerez-vous d'entrer en possession du pays que Yahvé, le Dieu de vos pères, vous a donné?
Yoswa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo Mukama Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa?
4 Désignez pour vous trois hommes de chaque tribu. Je les enverrai. Ils se lèveront, parcourront le pays et le décriront selon leur héritage, puis ils viendront me voir.
Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ng’emigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ng’emigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze.
5 Ils le diviseront en sept parts. Juda habitera dans son territoire au sud, et la maison de Joseph habitera dans son territoire au nord.
Baligigabanyaamu ebitundu musanvu Yuda esigale mu bitundu byayo mu bukiikaddyo n’ennyumba ya Yusufu mu bitundu byayo mu bukiikakkono.
6 Vous arpenterez le pays en sept parties, vous m'en apporterez la description ici, et je tirerai au sort pour vous ici, devant Yahvé notre Dieu.
Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga Mukama Katonda waffe.
7 Toutefois, les Lévites n'auront aucune part parmi vous, car le sacerdoce de l'Éternel est leur héritage. Gad, Ruben et la demi-tribu de Manassé ont reçu leur héritage à l'est du Jourdain, que Moïse, serviteur de Yahvé, leur a donné. »
Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa Mukama gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama gwe yabawa.”
8 Les hommes se levèrent et partirent. Josué ordonna à ceux qui étaient partis d'arpenter le pays, en disant: « Parcourez le pays, arpentez-le, et revenez me voir. Je vous tirerai au sort ici, devant Yahvé, à Silo. »
Abantu ne bagenda okulaba ensi bw’efaanana, Yoswa n’alagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bw’efaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siiro.”
9 Ces hommes parcoururent le pays et en firent le relevé par villes, en sept portions, dans un livre. Ils arrivèrent auprès de Josué, au camp de Silo.
Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro.
10 Josué les tira au sort à Silo, devant Yahvé. Là, Josué partagea le pays entre les enfants d'Israël, selon leurs divisions.
Awo Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama n’agabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ng’ebitundu byabwe bwe byali.
11 Le sort de la tribu des fils de Benjamin fut établi selon leurs familles. La limite de leur lot s'étendait entre les fils de Juda et les fils de Joseph.
Awo akalulu k’ekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati g’abaana ba Yuda n’abaana ba Yusufu.
12 Leur limite au nord partait du Jourdain. La frontière montait au nord, du côté de Jéricho, et s'élevait à l'ouest, à travers la montagne. Elle se terminait au désert de Beth Aven.
Ku luuyi olw’obukiikakkono ensalo yaabwe ne tandikira ku Yoludaani ne yeeyongera ku njegoyego z’obukiikakkono bwa Yeriko n’eyambuka mu nsi ey’ensozi ebugwanjuba n’ekomekkereza mu ddungu ly’e Besaveni.
13 De là, la frontière passait à Luz, du côté de Luz (appelé aussi Béthel), vers le sud. La frontière descendait jusqu'à Ataroth Addar, près de la montagne qui se trouve au sud de Beth Horon la basse.
Ensalo n’esala okuva mu bukiikaddyo n’etuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni.
14 La limite s'étendait et tournait sur le quart occidental, vers le sud, depuis la montagne qui est en face de Beth Horon, vers le sud, et se terminait à Kiriath Baal (appelée aussi Kiriath Jearim), ville des fils de Juda. C'était le quart occidental.
Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni n’eraga ku bukiikaddyo n’edda ebuvanjuba n’etuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga ky’abaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olw’ebugwanjuba.
15 Le quart sud partait de l'extrémité de Kiriath Jearim. La limite s'étendait à l'ouest, jusqu'à la source des eaux de Nephtoa.
Oluuyi olw’obukiikaddyo lwatandikira ku njegoyego za Kiriyasuyalimu gye kikoma n’edda ebuvanjuba, ensalo ne yeeyongerayo ku nsulo ez’amazzi aga Nefutoa.
16 La limite descendait jusqu'à l'extrémité de la montagne qui se trouve devant la vallée du fils de Hinnom, dans la vallée des Rephaïm, au nord. Elle descendait vers la vallée de Hinnom, du côté du Jébusien, vers le sud, et descendait jusqu'à En Rogel.
Ate era ensalo n’ekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lw’ekiwonvu kya Lefa, n’ekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Yebusi, n’ekka ku Enerogeri.
17 Elle s'étendait vers le nord, sortait à En Shemesh, et s'en allait vers Geliloth, qui est en face de la montée d'Adummim. Elle descendait jusqu'à la pierre de Bohan, fils de Ruben.
N’eryoka yeebungulula ng’eva mu bukiikakkono n’etuuka ku Ensomesi ne yeeyongerayo e Gerirosi ekitunuulidde ekkubo eryambuka okugenda Adummiru n’eyita n’etuuka ku jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni,
18 Elle passait au nord du côté opposé à la plaine, et descendait vers la plaine.
ne yeeyongerayo mu bukiikakkono ku luuyi lwa Besi Alaba okutuuka ku Alaba,
19 Elle passait au nord du côté de Beth Hogla, et se terminait à la baie septentrionale de la mer Salée, à l'extrémité méridionale du Jourdain. C'était la frontière sud.
ne yeeyongerayo mu bukiikakkono obwa Besukogula bw’etyo ensalo n’ekoma ku bukiikakkono bw’Ennyanja ey’Omunnyo mu bukiikaddyo bw’omugga Yoludaani. Eyo y’ensalo ey’oku bukiikaddyo.
20 Le Jourdain était sa limite sur le quart oriental. Tel fut l'héritage des fils de Benjamin, selon les limites qui l'entouraient, selon leurs familles.
Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gw’ekika kya Benyamini ng’enju bwe zaali, ng’ensalo bwe zaali era ng’enju zaabwe bwe zaali.
21 Les villes de la tribu des fils de Benjamin, selon leurs familles, étaient Jéricho, Beth Hogla, Emek Keziz,
Kale nno ebibuga by’ekika ky’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali byali: Yeriko ne Besukogula ne Emekkezizi,
22 Beth Araba, Zemaraïm, Béthel,
ne Besualaba ne Zemalayimu ne Beseri,
23 Avvim, Para, Ophra,
ne Avvimu ne Pala ne Ofula,
24 Chephar Ammoni, Ophni et Guéba; douze villes et leurs villages.
ne Kefalamoni ne Ofuni ne Geba ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo.
25 Gabeon, Rama, Beéroth,
Gibyoni ne Laama ne Beerosi,
26 Mitspé, Chephira, Mozah,
ne Mizupe ne Kefira ne Moza,
27 Rékem, Irpeel, Tarala,
ne Lekemu ne Irupeeri ne Talala,
28 Zéla, Éleph, Jébusite (appelée aussi Jérusalem), Gibeath et Kiriath; quatorze villes et leurs villages. Tel est l'héritage des fils de Benjamin, selon leurs familles.
ne Zeera, Erefu n’Omuyebusi, ye Yerusaalemi, ne Gibeasi ne Kiriasi ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo. Ogwo gwe gwali omugabo ogw’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali.

< Josué 18 >