< Isaïe 39 >

1 En ce temps-là, Mérodac-Baladan, fils de Baladan, roi de Babylone, envoya des lettres et un présent à Ézéchias, car il avait appris qu'il avait été malade et qu'il était guéri.
Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye.
2 Ézéchias en fut satisfait, et il leur montra la maison de ses objets précieux, l'argent, l'or, les aromates et l'huile précieuse, toute la maison de ses armures, et tout ce qui se trouvait dans ses trésors. Il n'y avait rien dans sa maison, ni dans toute sa domination, qu'Ézéchias ne leur ait montré.
Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
3 Alors Ésaïe, le prophète, vint auprès du roi Ézéchias et lui demanda: « Qu'ont dit ces hommes? D'où sont-ils venus vers toi? » Ézéchias dit: « Ils sont venus d'un pays éloigné de moi, même de Babylone. »
Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?” Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”
4 Puis il demanda: « Qu'ont-ils vu dans ta maison? » Ézéchias répondit: « Ils ont vu tout ce qui est dans ma maison. Il n'y a rien parmi mes trésors que je ne leur aie montré. »
N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
5 Alors Ésaïe dit à Ézéchias: « Écoute la parole de Yahvé des armées:
Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba:
6 Voici que les jours viennent où tout ce qui est dans ta maison, et ce que tes pères ont amassé jusqu'à ce jour, sera emporté à Babylone. Il ne restera rien, dit Yahvé.
Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama.
7 Ils prendront tes fils issus de toi, que tu auras engendrés, et ils seront eunuques dans le palais du roi de Babylone. »
N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”
8 Alors Ézéchias dit à Ésaïe: « La parole de Yahvé que tu as prononcée est bonne ». Il dit encore: « Car il y aura la paix et la vérité de mon temps. »
Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”

< Isaïe 39 >