< 2 Rois 9 >

1 Le prophète Élisée appela l'un des fils des prophètes, et lui dit: « Mets ta ceinture à ta taille, prends cette fiole d'huile dans ta main, et va à Ramoth Galaad.
Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi.
2 Quand tu y seras arrivé, tu trouveras Jéhu, fils de Josaphat, fils de Nimshi, et tu iras le faire lever du milieu de ses frères, et tu le conduiras dans une chambre intérieure.
Bw’otuuka eyo, onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge eky’omunda.
3 Puis tu prendras la fiole d'huile, tu la verseras sur sa tête, et tu diras: « Yahvé dit: Je t'ai oint comme roi d'Israël. » Puis ouvre la porte, fuis et n'attends pas. »
Oddire eccupa ey’amafuta, ogafuke ku mutwe gwe, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ Oluvannyuma oggulewo oluggi odduke, so tolwawo n’akatono.”
4 Et le jeune homme, le jeune prophète, se rendit à Ramoth de Galaad.
Awo omuvubuka nnabbi n’agenda e Lamosugireyaadi.
5 Quand il arriva, voici, les chefs de l'armée étaient assis. Et il dit: « J'ai un message pour toi, capitaine. » Jehu a dit: « Auquel d'entre nous? » Il répondit: « A toi, ô capitaine. »
Bwe yatuuka, n’asanga ng’abaserikale abakulu ab’omu ggye bakuŋŋaanye n’ayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku n’amubuuza nti, “Bw’ani ku ffe ffenna?” N’amuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.”
6 Il se leva, et entra dans la maison. Il versa l'huile sur sa tête, et lui dit: « L'Éternel, le Dieu d'Israël, dit: Je t'ai oint comme roi sur le peuple de l'Éternel, sur Israël.
Yeeku n’asituka n’ayingira mu nnyumba, nnabbi n’amufukako amafuta, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka w’abantu ba Mukama, Abayisirayiri.
7 Tu dois frapper la maison de ton maître Achab, afin que je venge le sang de mes serviteurs les prophètes, et le sang de tous les serviteurs de l'Éternel, de la main de Jézabel.
Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa.
8 Car toute la maison d'Achab périra. J'exterminerai d'Achab tous ceux qui urinent contre un mur, ceux qui sont enfermés et ceux qui sont en liberté en Israël.
Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri.
9 Je rendrai la maison d'Achab semblable à la maison de Jéroboam, fils de Nebat, et à la maison de Baescha, fils d'Achija.
Ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng’ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, era n’okufaanana ng’ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya.
10 Les chiens mangeront Jézabel sur le terrain de Jizreel, et il n'y aura personne pour l'enterrer.'" Puis il ouvrit la porte et s'enfuit.
N’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka.
11 Lorsque Jéhu sortit vers les serviteurs de son seigneur, l'un d'eux lui dit: « Tout va bien? Pourquoi ce fou est-il venu te voir? » Il leur dit: « Vous connaissez l'homme et sa façon de parler. »
Yeeku bwe yafuluma okugenda eri bakungu banne, omu ku bo n’amubuuza nti, “Kiri bulungi? Omulalu oyo abadde akunoonyeza ki?” Yeeku n’addamu nti, “Omusajja mumumanyi n’enjogera ye mugimanyi.”
12 Ils dirent: « C'est un mensonge. Dis-le-nous maintenant. » Il a dit: « Il m'a dit: 'Yahvé dit: je t'ai oint comme roi d'Israël'. »
Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku n’ayogera nti, “Bw’ati bw’aŋŋambye nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’”
13 Alors ils se précipitèrent, et chacun prit son manteau, le mit sous lui en haut de l'escalier, et sonna de la trompette en disant: « Jéhu est roi. »
Ne banguwa okuggyako eminagiro gyabwe, ne bagyaliira wansi ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere, nga bwe baleekaana nti, “Yeeku ye kabaka.”
14 Et Jéhu, fils de Josaphat, fils de Nimshi, conspira contre Joram. (Or Joram défendait Ramoth Galaad, lui et tout Israël, à cause de Hazaël, roi de Syrie;
Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba.
15 mais le roi Joram était revenu se faire guérir à Jizreel des blessures que les Syriens lui avaient faites lorsqu'il avait combattu avec Hazaël, roi de Syrie). Jéhu dit: « Si telle est votre pensée, que personne ne s'échappe et ne sorte de la ville pour aller le raconter à Jizreel. »
Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Yeeku n’ayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.”
16 Jéhu monta donc sur un char et se rendit à Jizreel, car Joram y était couché. Achazia, roi de Juda, était descendu pour voir Joram.
N’alinnya mu ggaali lye, n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.
17 Or la sentinelle se tenait sur la tour de Jizreel, et elle aperçut la troupe de Jéhu à son arrivée, et elle dit: « Je vois une troupe. » Joram dit: « Prends un cavalier, envoie à leur rencontre, et qu'il dise: « Est-ce la paix? »".
Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.” Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’”
18 On alla à cheval à sa rencontre et on dit: « Le roi dit: « Est-ce la paix? »" Jéhu dit: « Qu'est-ce que tu as à faire avec la paix? Mets-toi derrière moi! » La sentinelle dit: « Le messager est allé vers eux, mais il ne revient pas. »
Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”
19 Alors il envoya un second à cheval, qui vint vers eux et dit: « Le roi dit: « Est-ce la paix? »". Jéhu répondit: « Qu'est-ce que tu as à faire avec la paix? Mets-toi derrière moi! »
Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”
20 La sentinelle dit: « Il est venu vers eux, et ne revient pas. La conduite est semblable à celle de Jéhu, fils de Nimshi, car il conduit avec fureur. »
Omukuumi n’addamu n’ayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. N’enneebagala y’embalaasi efaanana ng’enneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”
21 Joram dit: « Préparez-vous! » Ils préparèrent son char. Alors Joram, roi d'Israël, et Achazia, roi de Juda, sortirent, chacun dans son char; ils allèrent à la rencontre de Jéhu, et le trouvèrent sur le terrain de Naboth, le Jizreélite.
Yolaamu n’ayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ng’ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri.
22 Lorsque Joram vit Jéhu, il dit: « Est-ce la paix, Jéhu? » Il répondit: « Quelle paix, tant que la prostitution de ta mère Jézabel et sa sorcellerie abondent? »
Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, n’amubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku n’amuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi n’obulogo bwa nnyoko Yezeberi?”
23 Joram tourna les mains et s'enfuit, et il dit à Achazia: « C'est de la trahison, Achazia! »
Amangwago Yolaamu n’akyusa n’adduka, ng’akoowoola Akaziya ng’agamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”
24 Jéhu tira son arc de toute sa force, et frappa Joram entre les bras; la flèche sortit au cœur, et il s'affaissa dans son char.
Awo Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’obusaale bwe, n’amaanyi ge gonna n’anaanuula omutego n’alasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, n’agwa mu ggaali lye.
25 Alors Jéhu dit à Bidkar, son capitaine: « Prends-le et jette-le dans le champ de Naboth, le Jizreélite; car souviens-toi que lorsque toi et moi, nous avons chevauché ensemble après Achab, son père, Yahvé lui a imposé ce fardeau:
Yeeku n’agamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama n’ayogera nti ekintu kino kirimutuukako.
26 Hier, j'ai vu le sang de Naboth et le sang de ses fils, dit Yahvé, et je te le rendrai dans ce champ, dit Yahvé. Maintenant, prends-le et jette-le sur le champ, selon la parole de Yahvé. »
‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”
27 Mais Achazia, roi de Juda, voyant cela, s'enfuit par le chemin de la maison du jardin. Jéhu le suivit, et dit: « Frappez-le aussi dans le char! » Ils le frappèrent à la montée de Gur, qui est près d'Ibleam. Il s'enfuit à Megiddo, où il mourut.
Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, n’addukira mu kkubo ery’omu nnyumba ey’ennimiro. Yeeku n’amugoba, nga bw’ayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ng’addukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ng’ali mu ggaali lye, naye n’asobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira.
28 Ses serviteurs le transportèrent dans un char jusqu'à Jérusalem, et l'enterrèrent dans son tombeau avec ses pères, dans la ville de David.
Abaddu be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi.
29 La onzième année de Joram, fils d'Achab, Achazia commença à régner sur Juda.
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Yolaamu mutabani wa Akabu, Akaziya n’atandika okufuga Yuda.
30 Lorsque Jéhu fut arrivé à Jizreel, Jézabel l'apprit; elle se peignit les yeux, s'orna la tête, et regarda par la fenêtre.
Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa.
31 Comme Jéhu entrait par la porte, elle dit: « Viens-tu en paix, Zimri, meurtrier de ton maître? »
Awo Yeeku bwe yali ng’ayingirira mu wankaaki, Yezeberi n’amubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”
32 Il leva son visage vers la fenêtre, et dit: « Qui est de mon côté? Qui? » Deux ou trois eunuques l'ont regardé.
Yeeku n’ayimusa amaaso ge waggulu, n’akoowoola ng’abuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa.
33 Il a dit: « Jette-la par terre! » Ils la jetèrent à terre, et une partie de son sang fut répandue sur le mur et sur les chevaux. Puis il la foula aux pieds.
N’ayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, n’omusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, n’okumulinyirira ne zimulinnyirira.
34 Quand il fut entré, il mangea et but. Puis il dit: « Occupez-vous maintenant de cette femme maudite, et enterrez-la, car c'est la fille d'un roi. »
Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.”
35 Ils allèrent l`enterrer, mais ils ne trouvèrent d`elle que le crâne, les pieds et les paumes des mains.
Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, n’ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye.
36 Elles revinrent donc, et le lui dirent. Il dit: « C'est ici la parole de Yahvé, qu'il a prononcée par son serviteur Élie, le Tishbite, en disant: « Les chiens mangeront la chair de Jézabel sur le terrain de Jizreel,
Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. N’abagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng’agamba nti, ‘Mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi.
37 et le corps de Jézabel sera comme du fumier à la surface des champs, sur le terrain de Jizreel, afin qu'on ne dise pas: « C'est Jézabel »".
Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’”

< 2 Rois 9 >