< 1 Samuel 22 >

1 David partit donc de là et se réfugia dans la caverne d'Adullam. Ses frères et toute la maison de son père l'apprirent, et ils descendirent auprès de lui.
Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana.
2 Tous ceux qui étaient dans la détresse, tous ceux qui avaient des dettes et tous ceux qui étaient mécontents se rassemblèrent auprès de lui, et il devint leur chef. Il y avait avec lui environ quatre cents hommes.
N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye.
3 David se rendit de là à Mitspé de Moab, et il dit au roi de Moab: « Laisse sortir vers toi mon père et ma mère, jusqu'à ce que je sache ce que Dieu fera pour moi. »
Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.”
4 Il les amena devant le roi de Moab, et ils habitèrent avec lui tout le temps que David fut dans la forteresse.
N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo.
5 Le prophète Gad dit à David: « Ne reste pas dans la forteresse. Pars, et va dans le pays de Juda. » David partit, et arriva dans la forêt de Hereth.
Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi.
6 Saül apprit que David avait été découvert, avec les hommes qui étaient avec lui. Saül était assis à Guibea, sous le tamaris de Rama, sa lance à la main, et tous ses serviteurs se tenaient autour de lui.
Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola.
7 Saül dit à ses serviteurs qui se tenaient autour de lui: « Écoutez, Benjamites! Le fils de Jessé donnera-t-il à chacun de vous des champs et des vignes? Vous établira-t-il tous chefs de milliers et chefs de centaines?
Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi?
8 Est-ce pour cela que vous avez tous conspiré contre moi, et qu'il n'y a personne qui me dise que mon fils a conclu un traité avec le fils d'Isaï, et qu'il n'y a aucun d'entre vous qui ait pitié de moi, ou qui me dise que mon fils a excité mon serviteur contre moi, pour le mettre à l'affût, comme c'est le cas aujourd'hui? »
Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”
9 Alors Doëg, l'Edomite, qui se tenait près des serviteurs de Saül, prit la parole et dit: « J'ai vu le fils d'Isaï venir à Nob, chez Ahimélec, fils d'Ahitub.
Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu.
10 Il a consulté Yahvé à son sujet, lui a donné à manger et lui a remis l'épée de Goliath le Philistin. »
Akimereki yamubuuliza eri Mukama, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”
11 Alors le roi envoya appeler le prêtre Achimélec, fils d'Achitub, et toute la maison de son père, les prêtres qui étaient à Nob; et ils vinrent tous auprès du roi.
Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka.
12 Saül dit: « Écoute maintenant, fils d'Achitub. » Il a répondu: « Me voici, mon seigneur. »
Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.” N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.”
13 Saül lui dit: « Pourquoi avez-vous conspiré contre moi, vous et le fils d'Isaï, en lui donnant du pain et une épée, et en demandant à Dieu pour lui, afin qu'il se lève contre moi, pour me guetter, comme il le fait aujourd'hui? »
Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?”
14 Achimélec prit la parole devant le roi et dit: « Qui, parmi tous tes serviteurs, est aussi fidèle que David, gendre du roi, chef de ta garde et honoré dans ta maison?
Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo?
15 Ai-je aujourd'hui commencé à demander à Dieu de le faire? Que cela soit loin de moi! Que le roi n'impute rien à son serviteur, ni à toute la maison de mon père, car ton serviteur n'a rien su de tout cela, ni en moins ni en plus. »
Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.”
16 Le roi dit: « Tu mourras, Achimélec, toi et toute la maison de ton père. »
Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.”
17 Le roi dit aux gardes qui se tenaient autour de lui: « Tournez et tuez les prêtres de l'Éternel, car leur main est aussi avec David, et parce qu'ils savaient qu'il s'était enfui et ne me l'ont pas révélé. » Mais les serviteurs du roi ne voulurent pas étendre leur main pour tomber sur les prêtres de Yahvé.
Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.” Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.
18 Le roi dit à Dœg: « Retourne-toi et attaque les prêtres! » Dœg, l'Edomite, se retourna et attaqua les prêtres, et il tua en ce jour quatre-vingt-cinq personnes qui portaient un éphod de lin.
Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta.
19 Il frappa Nob, la ville des prêtres, du tranchant de l'épée: hommes et femmes, enfants et nourrissons, bétail, ânes et moutons, du tranchant de l'épée.
N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.
20 L'un des fils d'Ahimélec, fils d'Ahitub, nommé Abiathar, s'échappa et s'enfuit après David.
Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi.
21 Abiathar raconta à David que Saül avait tué les prêtres de l'Éternel.
Abiyasaali n’ategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba Mukama.
22 David dit à Abiathar: « Je savais que ce jour-là, lorsque Dœg l'Édomite était là, il ne manquerait pas de dire à Saül. Je suis responsable de la mort de toutes les personnes de la maison de ton père.
Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa.
23 Reste avec moi. N'aie pas peur, car celui qui cherche ma vie cherche ta vie. Tu seras en sécurité avec moi. »
Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.”

< 1 Samuel 22 >