< 1 Chroniques 7 >

1 Des fils d'Issachar: Tola, Puah, Jashub et Shimron, quatre.
Abaana ba Isakaali baali bana: Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni.
2 Fils de Tola: Uzzi, Rephaja, Jeriel, Jahmaï, Ibsam et Shemuel, chefs des maisons de leurs pères, de Tola; hommes vaillants dans leurs générations. Leur nombre, du temps de David, était de vingt-deux mille six cents.
Batabani ba Tola baali Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
3 Fils d'Uzzi: Jizrachia. Fils de Jizrachiah: Micaël, Abdias, Joël et Jischja, au nombre de cinq; tous étaient des chefs.
Uzzi n’azaala Izulakiya. Izulakiya n’azaala Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu.
4 Avec eux, selon leurs générations, selon les maisons de leurs pères, il y avait des troupes pour la guerre, au nombre de trente-six mille; car ils avaient beaucoup de femmes et de fils.
Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.
5 Leurs frères, parmi toutes les familles d'Issacar, hommes vaillants, tous enregistrés selon leur généalogie, étaient quatre-vingt-sept mille.
Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.
6 Fils de Benjamin: Bela, Becher et Jediael, trois.
Benyamini yalina abatabani basatu, Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri.
7 Fils de Béla: Ezbon, Uzzi, Uzziel, Jerimoth et Iri, cinq; chefs de maisons paternelles, vaillants hommes; ils étaient au nombre de vingt-deux mille trente-quatre par généalogie.
Batabani ba Bera baali Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.
8 Fils de Becher: Zemirah, Joas, Eliezer, Eliœnai, Omri, Jeremoth, Abijah, Anathoth et Alemeth. Tous ceux-là étaient les fils de Bécher.
Batabani ba Bekeri baali Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe.
9 Ils furent classés par généalogie, selon leurs générations, chefs des maisons de leurs pères, vaillants hommes, au nombre de vingt mille deux cents.
Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri.
10 Fils de Jediaël: Bilhan. Fils de Bilhan: Jeush, Benjamin, Ehud, Chenaana, Zethan, Tarsis et Ahishahar.
Mutabani wa Yediyayeri, yali Birukani, ate batabani ba Birukani nga be ba Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali.
11 Tous ceux-là étaient fils de Jediaël, selon les chefs de famille de leurs pères, hommes vaillants, au nombre de dix-sept mille deux cents, aptes à aller à l'armée pour la guerre.
Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri.
12 Il en était de même de Shuppim, de Huppim, des fils de Ir, de Hushim et des fils de Aher.
Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri.
13 Fils de Nephtali: Jahziel, Guni, Jezer, Shallum, et les fils de Bilha.
Batabani ba Nafutaali baali Yaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka.
14 Fils de Manassé: Asriel, qu'a porté sa concubine l'Aramitesse. Elle enfanta Makir, père de Galaad.
Bano be baali bazzukulu ba Manase: Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi.
15 Machir prit une femme de Huppim et de Shuppim, dont la sœur s'appelait Maaca. Le nom de la seconde était Zelophehad; et Zelophehad eut des filles.
Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka. Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka.
16 Maaca, femme de Makir, enfanta un fils, qu'elle appela Peresh. Le nom de son frère était Sheresh; ses fils étaient Ulam et Rakem.
Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.
17 Fils d'Ulam: Bedan. Ce sont là les fils de Galaad, fils de Makir, fils de Manassé.
Mutabani wa Ulamu yali Bedani, era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase.
18 Sa sœur Hammolecheth enfanta Ishhod, Abiezer et Mahla.
Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula.
19 Les fils de Shemida furent: Ahian, Sichem, Likhi et Aniam.
Batabani ba Semida baali Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu.
20 Fils d'Ephraïm: Shuthelah, Bered, son fils, Tahath, son fils, Eleada, son fils, Tahath, son fils,
Mutabani wa Efulayimu yali Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi, mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda, mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi,
21 Zabad, son fils, Shuthelah, son fils, Ezer et Elead, que les hommes de Gath, nés dans le pays, tuèrent, parce qu'ils étaient descendus pour prendre leurs troupeaux.
mutabani wa Takasi nga ye Zabadi, ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera. Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente.
22 Ephraïm, leur père, fut longtemps dans le deuil, et ses frères vinrent le consoler.
Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako.
23 Il alla vers sa femme; elle conçut et enfanta un fils, qu'il appela Beriah, parce qu'il y avait du trouble dans sa maison.
Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana.
24 Sa fille était Schéérah, qui bâtit Beth Horon le bas et le haut, et Uzzen Schéérah.
Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera.
25 Il eut pour fils Repha, pour fils Resheph, pour fils Telah, pour fils Tahan, pour fils
Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu, Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani,
26 Ladan, pour fils Ammihud, pour fils Elishama, pour fils
Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi, Ladani n’azaala Erisaama,
27 Nun, pour fils et Josué, pour fils.
Erisaama n’azaala Nuuni, Nuuni n’azaala Yoswa.
28 Leurs possessions et leurs établissements étaient Béthel et ses villes, à l'orient Naaran, à l'occident Guézer et ses villes, Sichem et ses villes, jusqu'à Azza et ses villes,
Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde.
29 et, sur le territoire des fils de Manassé, Beth-Shean et ses villes, Taanac et ses villes, Meguiddo et ses villes, Dor et ses villes. Les enfants de Joseph, fils d'Israël, habitèrent dans ces localités.
Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye.
30 Fils d'Asher: Imnah, Ishvah, Ishvi et Beriah. Sérah était leur sœur.
Abaana ba Aseri baali Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe.
31 Fils de Beria: Héber et Malkiel, qui fut le père de Birzaith.
Batabani ba Beriya baali Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi.
32 Héber engendra Japhlet, Shomer, Hotham et Shua, leur sœur.
Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa.
33 Fils de Japhlet: Pasach, Bimhal et Ashvath. Ce sont les fils de Japhlet.
Batabani ba Yafuleti baali Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi.
34 Fils de Shemer: Ahi, Rohga, Jehubba et Aram.
Batabani ba Semeri baali Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu.
35 Fils de Helem, son frère: Zopha, Imna, Shelesh et Amal.
Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali.
36 Fils de Zopha: Sua, Harnépher, Schual, Beri, Imrah,
Batabani ba Zofa baali Suwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula,
37 Bezer, Hod, Shamma, Schilsha, Ithran et Beera.
ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera.
38 Fils de Jéther: Jephunné, Pispa et Ara.
Batabani ba Yeseri baali Yefune, ne Pisupa ne Ala.
39 Fils d'Ulla: Arach, Hanniel et Rizia.
Batabani ba Ulla baali Ala, ne Kanieri ne Liziya.
40 Tous ceux-là étaient les fils d'Aser, chefs des maisons paternelles, hommes de choix et vaillants, chefs des princes. Le nombre de ceux qui étaient inscrits sur les listes généalogiques pour servir à la guerre était de vingt-six mille hommes.
Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.

< 1 Chroniques 7 >