< Joshua 23 >

1 Forsothe whanne myche tyme was passid after that the Lord had youe pees to Israel, for alle naciouns `in cumpas weren suget; and whanne Josue was thanne of long lijf, and `of ful eld age, Josue clepide al Israel,
Bwe waayitawo ekiseera, Mukama Katonda ng’awadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ng’akaddiye ng’awangadde emyaka mingi,
2 and the grettere men in birthe, and the princes, and dukis, and maistris, and seide to hem, Y `wexide elde, and Y am of grettere age;
n’ayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu n’abagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi;
3 and ye seen alle thingis whiche youre Lord God hath do to alle naciouns `bi cumpas, hou he fauyt for you.
mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde.
4 And now for he departide to you bi lot al the lond, fro the eest part of Jordan `til to the grete see, and many naciouns ben left yit,
Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba.
5 youre Lord God `schal distrie hem, and schal take awei fro youre face; and ye schulen welde the lond, as he bihiyte to you.
Mukama Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
6 Oneli be ye coumfortid, and be ye bisy, that ye kepe alle thingis that ben writun in the book of Moises lawe, and bowe not awei fro tho, nether to the riyt side nether to the left side,
“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono.
7 lest aftir that ye han entrid to the hethene men, that schulen be among you, ye swere in the name of `the goddis of hem, and ye serue tho goddis, and worschipe hem.
Temwetabanga n’amawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira.
8 But cleue ye to youre Lord God, which thing ye han do `til in to this dai;
Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero.
9 and thanne the Lord God schal do awei in youre siyt grete folkis, and strongeste; and noon schal mow ayenstonde you.
“Kubanga Mukama Katonda wammwe agobye amawanga amanene ag’amaanyi era n’okutuusa kaakano teri n’omu asobodde kubaziyiza.
10 Oon of you schal pursue a thousynde men of enemyes, for youre Lord God schal fiyte for you, as he bihiyte.
Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza.
11 Be ye war bifore moost diligentli of this thing oneli, that ye loue youre Lord God.
Noolwekyo mwekuume, mwagale Mukama Katonda wammwe,
12 That if ye wolen cleue to the errouris of these folkis that dwellen among you, and wolen medle mariagis with hem, and couple frenschipis,
kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo,
13 wite ye riyt now, that `youre Lord God schal not do awei hem bifor youre face, but thei schulen be to you in to a dich, and a snare, and in to hirtyng of youre side, and in to stakis in youre iyen, til youre Lord God take awei you, and distrie fro this beste loond, which he yaf to you.
mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, n’amaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.
14 Lo! Y entre to dai in to the weye of al erthe; and ye schulen knowe `with al soule, that of al wordis whiche the Lord bihiyte hym silf to yyue to you, not oon passide in veyn.
“Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye.
15 Therfor as he fillide in werk that, that he bihiyte, and alle thingis bifelden `bi prosperite, so he schal brynge on you whateuer thing of yuelis he manaasside, til he take awei you, and distrie fro this beste lond, which he yaf to you.
Naye ng’ebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo Mukama Katonda wammwe bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi gy’abawadde.
16 For ye braken the couenaunt of `youre Lord God, which he made with you, and serueden alien goddis, and worschipeden hem, sone and swiftli the strong veniaunce of the Lord schal rise `on to you; and ye schulen be takun awei fro this beste lond, which he yaf to you.
Bwe munaamenyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa Mukama bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gy’abawadde.”

< Joshua 23 >