< 1 Corinthians 15 >

1 `Sotheli, britheren, Y make the gospel knowun to you, which Y haue prechid to you, the which also ye han takun, in which ye stonden,
Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu.
2 also bi which ye schulen be sauyd; `bi which resoun Y haue prechid to you, if ye holden, `if ye han not bileuyd ideli.
Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere.
3 For Y bitook to you at the bigynnyng that thing which also Y haue resseyued; that Crist was deed for oure synnes, bi the scripturis;
Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba,
4 and that he was biried, and that he roos ayen in the thridde dai, after scripturis;
era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba,
5 and that he was seyn to Cephas, and aftir these thingis to enleuene;
era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri.
6 aftirward he was seyn to mo than fyue hundrid britheren togidere, of whiche manye lyuen yit, but summe ben deed; aftirward he was seyn to James,
Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa.
7 and aftirward to alle the apostlis.
Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna.
8 And last of alle he was seyn also to me, as to a deed borun child.
Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole.
9 For Y am the leste of apostlis, that am not worthi to be clepid apostle, for Y pursuede the chirche of God.
Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda.
10 But bi the grace of God Y am that thing that Y am; and his grace was not voide in me. For Y trauelide more plenteuously than alle thei; but not Y, but the grace of God with me.
Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola.
11 But whether Y, or thei, so we han prechid, and so ye han bileuyd.
Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.
12 And if Crist is prechid, that he roos ayen fro deeth, hou seien summen among you, that the ayenrisyng of deed men is not?
Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu?
13 And if the ayenrisyng of deed men is not, nethir Crist roos ayen fro deeth.
Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa.
14 And if Crist roos not, oure preching is veyn, oure feith is veyn.
Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa.
15 And we ben foundun false witnessis of God, for we han seid witnessyng ayens God, that he reiside Crist, whom he reiside not, if deed men risen not ayen.
Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa.
16 Forwhi if deed men risen not ayen, nether Crist roos ayen;
Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa.
17 and if Crist roos not ayen, oure feith is veyn; and yit ye ben in youre synnes.
Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe.
18 And thanne thei that han diede in Crist, han perischid.
Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira.
19 If in this life oneli we ben hoping in Crist, we ben more wretchis than alle men.
Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.
20 But now Crist roos ayen fro deth, the firste fruit of deed men;
Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa.
21 for deeth was bi a man, and bi a man is ayenrisyng fro deth.
Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu.
22 And as in Adam alle men dien, so in Crist alle men schulen be quykenyd.
Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo.
23 But ech man in his ordre; the firste fruit, Crist, afterward thei that ben of Crist, that bileueden in the comyng of Crist;
Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako,
24 aftirward an ende, whanne he schal bitake the kyngdom to God and to the fadir, whanne he schal auoide al princehod, and power, and vertu.
olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna.
25 But it bihoueth hym to regne, til he putte alle hise enemyes vndur hise feet.
Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye.
26 And at the laste, deth the enemye schal be distried; for he hath maad suget alle thingis vndur hise feet.
Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa.
27 And whanne he seith, alle thingis ben suget to hym, with outen doubt outakun hym that sugetide alle thingis to hym.
Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna.
28 And whanne alle thingis ben suget to hym, thanne the sone hym silf schal be suget to hym, that made `alle thingis suget to hym, that God be alle thingis in alle thingis.
Katonda bw’alimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, n’alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n’alyoka afugira ddala byonna.
29 Ellis what schulen thei do, that ben baptisid for deed men, if in no wise deed men risen ayen? wherto ben thei baptisid for hem?
Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lw’abafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe?
30 And wherto ben we in perel euery our?
Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera?
31 Ech dai Y die for youre glorie, britheren, which glorie Y haue in Crist Jhesu oure Lord.
Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku.
32 If aftir man Y haue fouyten to beestis at Efesi, what profitith it to me, if deed men risen not ayen? Ete we, and drynke we, for we schulen die to morewe.
Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa, “Kale tulye tunywe kubanga enkya tuli ba kufa.”
33 Nyle ye be disseyued; for yuel spechis distrien good thewis.
Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”
34 Awake ye, iuste men, and nyle ye do synne; for summen han ignoraunce of God, but to reuerence Y speke to you.
Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.
35 But summan seith, Hou schulen deed men rise ayen, or in what maner bodi schulen thei come?
Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo?
36 Vnwise man, that thing that thou sowist, is not quykened, but it die first;
Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa.
37 and that thing that thou sowist, `thou sowist not the bodi that is to come, but a nakid corn, as of whete, or of summe othere seedis;
Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala.
38 and God yyueth to it a bodi, as he wole, and to ech of seedis a propir bodi.
Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo.
39 Not ech fleisch is the same fleisch, but oon is of men, another is of beestis, another is of briddis, an othere of fischis.
Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogw’abantu, waliwo ogw’ensolo, waliwo ogw’ennyonyi, era waliwo n’ogw’ebyennyanja.
40 And `heuenli bodies ben, and `ertheli bodies ben; but oon glorie is of heuenely bodies, and anothir is of ertheli.
Noolwekyo waliwo emibiri egy’omu ggulu, n’emibiri egy’omu nsi. Naye ekitiibwa ky’emibiri egy’omu ggulu kirala, era n’eky’egy’omu nsi kirala.
41 An othere clerenesse is of the sunne, anothere clerenesse is of the moone, and anothere clerenesse is of sterris; and a sterre dyuersith fro a sterre in clerenesse.
Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.
42 And so the ayenrisyng of deed men. It is sowun in corrupcioun, it schal rise in vncorrupcioun;
Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda.
43 it is sowun in vnnoblei, it schal rise in glorie; it is sowun in infirmyte, it schal rise in vertu;
Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi.
44 it is sowun a beestly bodi, it schal rise a spiritual bodi. If ther is a beestli bodi, ther is also a spiritual bodi;
Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo. Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo,
45 as it is writun, The firste man Adam was maad in to a soule lyuynge, the laste Adam in to a spirit quykenynge.
kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu.
46 But the firste is not that that is spiritual, but that that is beestlich, aftirward that that is spiritual.
Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja.
47 The firste man of erthe is ertheli; the secounde man of heuene is heuenelich.
Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu.
48 Such as the ertheli man is, such ben the ertheli men; and such as the heueneli man is, suche ben also the heueneli men.
Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali.
49 Therfor as we han bore the ymage of the ertheli man, bere we also the ymage of the heuenli.
Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.
50 Britheren, Y seie this thing, that fleisch and bloud moun not welde the kyngdom of God, nethir corrupcioun schal welde vncorrupcioun.
Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera.
51 Lo! Y seie to you priuyte of hooli thingis. And alle we schulen rise ayen, but not alle we schulen be chaungid;
Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa
52 in a moment, in the twynklyng of an iye, in the laste trumpe; for the trumpe schal sowne, and deed men schulen rise ayen, with oute corrupcioun, and we schulen be chaungid.
mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa.
53 For it byhoueth this corruptible thing to clothe vncorrupcioun, and this deedli thing to putte awei vndeedlinesse.
Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa.
54 But whanne this deedli thing schal clothe vndeedlynesse, thanne schal the word be doon, that is writun, Deth is sopun vp in victorie.
Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”
55 Deth, where is thi victorie? Deth, where is thi pricke? (Hadēs g86)
“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?” (Hadēs g86)
56 But the pricke of deth is synne; and the vertu of synne is the lawe.
Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka.
57 But do we thankyngis to God, that yaf to vs victorie bi oure Lord Jhesu Crist.
Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58 Therfore, my dereworthe britheren, be ye stidefast, and vnmouable, beynge plenteuouse in werk of the Lord, euere more witynge that youre trauel is not idel in the Lord.
Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

< 1 Corinthians 15 >