< 2 Corinthians 4 >

1 Therefore having received this ministry, as we have obtained mercy, we are not disheartened:
Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira.
2 but have rejected shameful disguises, not walking in craftiness, nor handling the word of God deceitfully; but by the manifestation of the truth, recommending ourselves to every man's conscience, in the sight of God.
Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda.
3 And if our gospel also be veiled, it is to those that perish;
Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula.
4 among whom the god of this world hath blinded the minds of the unbelieving, so that the light of the glorious gospel of Christ, who is the image of God, doth not shine unto them: (aiōn g165)
Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. (aiōn g165)
5 for we preach not ourselves, but Christ Jesus the Lord, and ourselves your servants for the sake of Jesus.
Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu.
6 For God, who commanded light to shine out of darkness, hath shined into our hearts, to reflect the light of the knowledge of the glory of God in the face of Jesus Christ.
Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
7 But we have this treasure in earthen vessels, that the excellence of the power might be evidently of God, and not of us:
Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe.
8 being afflicted on every side, but not oppressed; perplexed, but not in despair;
Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika.
9 persecuted, but not forsaken;
Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka,
10 cast down, but not destroyed; always bearing about in the body the dying of the Lord Jesus, that the life also of Jesus might be manifested in our body.
nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe.
11 For we, who are yet living, are always exposed to death for the sake of Jesus, that the life also of Jesus may be manifested in our mortal flesh.
Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe.
12 So that death is wrought in us, but life in you.
Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.
13 But having the same Spirit of faith, according to what is written, "I believed, and therefore have I spoken," we also believe, and therefore speak:
Bwe tuba n’omwoyo omu ow’okukkiriza, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera.
14 knowing that He, who raised up the Lord Jesus, will raise up us also by Jesus, and present us with you.
Tumanyi ng’oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.
15 For all these things are for your sakes, that the abundant grace might through the gratitude of many redound to the glory of God.
Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, n’okwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda n’agulumizibwa.
16 For which cause we are not disheartened: but though our outward man decayeth, yet the inward man is renewed daily.
Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.
17 For our short and light affliction is working out for us an infinite and eternal weight of glory, as we aim not at the things which are visible, but invisible: (aiōnios g166)
Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. (aiōnios g166)
18 for those, which are visible, are temporary, but the invisible are eternal. (aiōnios g166)
Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe. (aiōnios g166)

< 2 Corinthians 4 >